NYINI KIGGWA YAKIWEEBUULA
Bya Lilian Nalubega
ne Eria Luyimbazi
PULEZIDENTI Museveni ayingidde mu nsonga z'amasiro ga Ssekabaka Kiweewa e Masanafu n'alagira abagaliko obutaddamu kutunda, okugabako, okwazika oba okukolerako ekintu kyonna eky'obuwangaazi okutuusa ng’emivuyo gigonjoddwa.
Mariam Namayanja eyakiikiridde Museveni yategeezezza abatuuze nti Pulezidenti awandiikidde Kabaka ne Ssaabalangira n'abasaba bayingire mu nsonga z'ettaka lino kubanga ye nga Pulezidenti tasobola kugonjoola butakkaanya ku ttaka ery'ennono ng’abalivunaanyizibwako weebali.
Namayanja bino yabyogeredde mu lukiiko olwatudde ku Masiro e Masanafu. Lwetabiddwaamu abatuuze, , aduumira Poliisi ya Kampalamukadde eyakiikiriddwa OC. Augustine Kasangayiti, aba LC n'abaami ba Kabaka.
Kiddiridde Nnaalinnya w'amasiro gano Rehema Nalumansi okuwandiikira Pulezidenti nga yeemulugunya ku ngeri RDC wa Lubaga Zaina Muwonge, omulangira Isaac Ssimbwa n'omumyuka wa Katikkiro owookubiri e Mmengo, Yusufu Nsambu ku ngeri gye bakuttemu ensonga z'amasiro gano n'okumulemesa emirimu gye.
Published on: Monday, 28th April, 2008
Bino byebimu kubintu ebisinze okukoyesa Abaganda , kuba tulwaana kuzza ttaka lyaffe era twerwanako okweterereza ensonga zaffe nge Ggwanga ate ne tuba nti tukyalina abantu , abakyagenda ebunayira okwekubira enduulu , nga baleseewo wamu nokubuusa amaaso abakulu abateekwa okukola ku nsonga za Buganda. Kabaka tabaawo awatali bwa Kabaka , yalamula Obuganda wayinza okubaawo Nnalinnya awatali Kabaka?
Nnalinnya Nalumansi bwooba nga ettaka tewalitunda vvaayo ogambe Obuganda nti abaliriko besenza bokka nze siritundanga ,bwooba walitunda bulira abantu amazima nti osanga wali olowooza nti Amasiro gago kububwo nosalawo okugalenga, ekitali ekyo vva mu kulengezza obwakabaka bwaffe ngobubuusa amaaso ngogenda okunoonya ebitiibwa ewa Museveni ,Bwebaba nti abakusinze obukulu bakizudde nti emirimu gyo girimu akabuuzo lwaaki totuula nabo nomala ensonga , bwosangibwa nti tokyasobola mirimu kugitukiriza nga batekawo anagisobola .Abaganda babonye bonye ekimala kati tetukyetaaga oli atuula kuweebwa bitiibwa, wabula oyo yekka akolerera Obuganda okubutwaala mu maaso . Kati kye kiseera kya Buganda okuddamu okwezimba tukooye emigozobano