CONNECT UGANDA DISCUSSION BOARD
Welcome, Guest
Please Login or Register.    Lost Password?
Mmengo yandikutte Mpola Olubiri e Mmengo. (1 viewing) (1) Guest
Go to bottom Post Reply Favoured: 0
TOPIC: Mmengo yandikutte Mpola Olubiri e Mmengo.
#8612
omumbejja (User)
Gold Forum Member
Posts: 1820
graph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:ABAGANDA BONNA BEBAVUNANYIZIBWA 9 Months ago  
Naye bwotunulira ebintu bino byonna gyebivudde babadde bagwiira bebagala okutyoboola ebyobuwangwa bwaffe wamu nennono zaffe nga belambika mukuyamba nokunyolwa ennyo olwobwaavu bwebatutusizaamu kyova olaba nti emirangiro tegisirikanga gi nabaddiza obwa Kabaka kyetusigalidde okuwulira nga akatutema nti neeyo ensi Buganda gyemweyagaliramu singa teyali nze alaba ewala nayo temwandigifunye.

Leero tugambye nti ebbula lyenyama telijja kutuliisa biwojjolo bonna abasookawo bagezaako naye Buganda neremerawo.

Omusaayi tuyiye abantu baffe bangi battiddwa tetulina kipya kirala kyetulinda kulaba kyetutannalaba oba kyetutayiseemu emyaaka gino gyonna, ekisa nobwesigwa bwaffe byetukoze netusasulwaamu obukyaayi obwekitujju, Mukama ali kuludda lwaffe bagamba nti gwowonya eggere yalikusambya . Naye ate ne Sserukama mayute , bwebakwata ku lirye ng'awoloma, Songa ate ffenna tukimanyi nti busa bwa mbogo bukala kungulu.Nomuntu owenkwe oba omunnanfuusi agenda ne yewoomya kungulu songa munda ajjudde ekko
 
Report to moderator   Logged Logged  
 
I AIM TO PLEASE SOME TIMES
  The administrator has disabled public write access.
#8809
rambuka (User)
Expert Forum Member
Posts: 659
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:Mmengo yandikutte Mpola Olubiri e Mmengo. 8 Months ago  
Athens mu Greece---bayina ekifo ekya olympics------historical------Amasilo ga ba Sekabakka e Kasubi---banange olubiri e Mengo--kitibwa kya Buganda-------tuludabirizze bu dabilizzi--------ebizimbe ebyo tubikume kubanga bya kitibwa nnyo eri Abaganda,banauganda--ne ensiyonna-------------kubanga ge makula ga Buganda.
 
Report to moderator   Logged Logged  
 
peace
  The administrator has disabled public write access.
#8871
Balyokwabwe (User)
Senior Forum Member
Posts: 245
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:ABAGANDA BONNA BEBAVUNANYIZIBWA 7 Months, 4 Weeks ago  
Sebo Kyonyonyodde ekya Traditional Leader tukitegedde naye M7 bwaba ayogera ku KABAKA waffe

nga amuyita traditional leader akozessa olulimi lujjozi nnyo olujudde okuvoola KABAKA waffe nenono za BAGANDA ! It is not what you say that is important but how you say it !! Twabakowa !
 
Report to moderator   Logged Logged  
  The administrator has disabled public write access.
#8874
Meli (User)
Gold Forum Member
Posts: 1408
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:ABAGANDA BONNA BEBAVUNANYIZIBWA 7 Months, 4 Weeks ago  
Knowledge is for sharing. Ffe tugeezako kuwabula bannaffe. Kubanga bwovoola obwa Kabaka, olina kusookera ddala awasokeerwa, ku bwomuggulu obwa Katonda we Butonda. Naye obwo okubuvvolanga kya kachwano, nga oba olonze omulabe muzibu! Ne Yesu yagamba nti abalina amatu nga bawulira. Ffe ogwaffe tubeera tugukoze.
 
Report to moderator   Logged Logged  
 
Ayiisa Kuba Mwagale
  The administrator has disabled public write access.
#8916
rambuka (User)
Expert Forum Member
Posts: 659
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:Mmengo yandikutte Mpola Olubiri e Mmengo. 7 Months, 3 Weeks ago  
Awangale Ayi sabasajja Kabaka wa Buganda.
 
Report to moderator   Logged Logged  
 
peace
  The administrator has disabled public write access.
#8968
Meli (User)
Gold Forum Member
Posts: 1408
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:Mmengo yandikutte Mpola Olubiri e Mmengo. 7 Months, 3 Weeks ago  
RDC attunse ne nnaalinnya



RDC Muwonge (ku ddyo) ng’awuliriza Nnaalinnya Namikka eyabadde ayogera.



Bya L. Nalubega ne Eria Luyimbazi



BANNAALINNYA beekandazze ne bava mu lukiiko lwa RDC wa Lubaga, Zaina Muwonge lwe yabadde ayise okumanya abatunda n'okugula ettaka ly'amasiro ga Ssekabaka Kiweewa e Masanafu mu Kyaddondo.



Baalangidde Muwonge okweyingiza mu nsonga ezitamukwatako kubanga ekikulu ku masiro gano si ttaka wabula nsonga zaabwe za munda ze balina bbo bennyini okwekolerako.



Nnaalinnya Namikka eyabadde akulembeddemu banne era nga ye Ssentebe wa Bannalinnya bwe yasabye omuzindaalo yavudde ku by'okwogera ku nsonga z'ettaka ezaabadde zitutte RDC n'agamba nti bo ng’Abalangira n'Abambejja abatuufu tebajja kukkiriza muntu Minisita gwe yabasindikidde akulire amasiro nga si walulyo lwabwe okubayisaamu amaaso. RDC Muwonge bwe yagezezzaako okumuggyako omuzindaalo n'agugaanira n'amusaba oba tayagala kuwuliriza bye yabadde ayogera ave mu lukiiko agende.



"Nnaalinnya y'alina obuyinza okulabirira amasiro era omulangira abeera mu masiro gano abeera musiige era ng’aliko n'emikolo emitongole gy'akola nga ali wansi wa Nnaalinnya aba atwala amasiro ago. N’olwekyo omulangira minisita gwe yasindise wano tetujja kumuwuliriza kuba tulina owaawo," bwe yagambye nga n'abatuuze bwe bamukubira emizira.



Omumyuka wa katikkiro era nga ye minisita w’obulambuzi, Nsubuga Nsambu yaweereza omulangira Isaac Ssimbwa okulabirira amasiro gano.



Bino byonna okubeerawo kyaddiridde RDC okutegeeza nti yazze kugonjoola nsonga za ttaka kuba yatuukiriddwa omulangira Ssimbwa ng’ayagala amuyambe ayimirize abazimba wamu n'okutunda ettaka ly'amasiro ga Jjajjawe.



"Nzize kuzuula mazima mmanye mwenna abatuuze abali ku ttaka lino eyabaguza n'engeri gye mwasengako ng’abakulira ekifo kino tebamanyi. Kino bwe kinaakolebwa obuzibu bwonna bujja kuba buweddewo," Muwonge bwe yagambye n'ategeeza nti waakulonda olukiiko olugenda okuwandiika abali ku ttaka lino bonna, abaabaguza, ensimbi ze baagula n'ebirala ebibakwatako.



Wabula olukiiko lwayabuse n'olukiiko terulondeddwa Bannaalinya bwe beekandazze nga Ssimbwa akwasiddwa omuzindaalo abeeko by’ayogera.



Bukedde:



Published on: Monday, 14th April, 2008



Bano ba Nnalinnya bandibadde batuula nebanyonyola Obuganda ensonga zino. Kuba kati naffe twebuza, ani atunda ettaka lya masiro gano? Era olukusa alujja wa? Amasiro gano ssi gaabwe. Ga lulyo lwa Kabaka, ate obwa Kabaka bwa Buganda. Era bwekiba kivudde mu Lubiri nti kati omulangira Ssimbwa yakulira ekifo kino, tebalina webayita kukiwakanya, mikolo oba ssi mikolo. Obuganda buli mu katyabaga. Abakyala bano ssi gwe mulundi ogusoose okweyisa bwebati mu biseera bino nga Obuganda buli mu matigga, bandibadde bagezaako okukozesa okumanya nti, Obuganda bwebutabawo wadde bbo nobwa Nnalinnya.
 
Report to moderator   Logged Logged  
 
Ayiisa Kuba Mwagale
  The administrator has disabled public write access.
Go to top Post Reply
get the latest posts directly to your desktop
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
You are here: Start Here arrow Forum
Advertisement
Advertisement