Naiga:Talina mikono akozesa magulu okulabirira abaana be abasatu
Bya Joseph Mutebi
OMUZADDE azaala omulema n’amutta, bwe mba n’obuyinza yeetaaga kukolimirwa. Bino by’ebimu ku byogerwa Annet Naiga 35, eyazaalibwa nga talina mikono ng’ate n’amagulu gombi magongobavu by’anyumya nga yeebaza bakadde be okumukuza wadde ali mu mbeera eyo.
Naiga agamba nti :
“Bakadde bange be bagezi Henry Mwanje ne Rose Nakabuubi -Masaka Butega.
Buli lwe ndaba engeri gye nakulamu n’abantu abalala katonda be yatonda nga balamu, mbeebaza obutafuna mutima munafu ng’abamu gye bafuna ne batta abaana baabwe abalema.
Twazaalibwa bana era olw’okuba nze nali omulema, saasoma. Wabula Mukama yasalawo ku magulu gano abiri n’ampaako okumu kwe nkozesa ng’emikono okwoza, okunaaba, okwambala n’ebirala.
Nga nkuzeemu, nasaba taata nankolera akasomero, abazadde mwe baaleetanga abaana abatandika okusoma ne mbasomesa oluganda n’okubala. Kino nakikola okutuukira ddala mu 2006 naye okuvuganya mu masomero bwe kwasukka, ne mbivaako.
Nga mpezezza emyaka 18, Swaibu Nsamba eyali mukwano gwaffe awaka yatandika okusoya obugambo bw’omukwano. Nasooka kutya okweyingiza mu bintu ebyo nga ng’amba nti engeri gye nali nakulamu nali nnyiinza okufa.
Mu 1995, nafuna olubuto Katonda n’annymba ne nzaala bulungi mu ddwaaliro ly’e Butega nga tebansaze.
Nga mmaze okuzaala omwana wange Sarah Birungi, nalabira ddala nga nzuukidde okufuna mwana ng’ate si mulema!
Maama yakeeranga n’anjalira n’anteeka akato mu mbiriizi ne nkutama ne nnyonsa okutuuka lwe yakula.
Oluvannyuma lw’emyaka ena nazaala, Muhammed Nsamba. Naddamu ne nzaala n’omwana owookusatu kyokka taata w’abaana, olw’okuba yalina omukyala omulala, endabirira ye nga ntono.
Bakadde bange olwaggwaawo mu 2006, Omujapani Kenneth Shiya yanziggya mu kyalo ng’akolagana ne Mw. Ssekajugo akola pulogulamu ‘Esuubi ly’omulema’ ku leediyo UBC.
Ssekajugo yampa enju mwe nsula ate Omujapani n’angulira ensansa, obuso, empiso, obukeedo ne wuzi ne ntandika okuluka ebitambaala, ebibbo n’emikeeka.
Oluvannyuma ne muganda wange Harriet Namusoke yampa ssente ne ntandikawo akaduuka k’emivumba gy’engoye e Mpereerwe okumpi n’omuvule. Mu Owino, nfuna we banteeka, ne ntumya abatunda engoye ne bazireeta ne nnondamu ze njagala.
Buli lunaku essaawa zigenda okuwera 12:00 ku makya nga ntuuse ku mulimu kubanga muwala wange Sarah aba alina okunsindika mu kagaali okuntuusa ku mulimu naye olwo n’agenda gy’asoma. Ali mu P6 mu Kiyanja P/S e Mpereerwe. N’abalala basoma.
Wadde ndi mulema, ndi munnakatemba mu kibiina kya Kadongokamu, ekya ‘Black Born Artist’ ekikulemberwa Ssekajugo. Oluyimba lwange ‘katonda agera’, nnombojja obulamu bwange bwonna.
Wabula mpulira nkooye Kampala njagala kudda waffe e Masaka. E Kampala buli kimu ogula kigule, emmere, enva, amafuta n’oluusi n’osula n’enjala so nga mu kyalo oyinza okufuna ku mmere ey’obwereere.
Nsamba buyambi nsobole okukola bizinensi eyeegasa nneeyimirizeewo ku kibuga.
Okunfuna essimu eri 0712- 256846. Naiga ng’alaga bw’akozesa okugulu kwe okuluka ekibbo.
Published on: Saturday, 19th April, 2008
