CONNECT UGANDA DISCUSSION BOARD
Welcome, Guest
Please Login or Register.    Lost Password?
‘Nkoze obukadde 200 mu busamize e South Afrika’ (1 viewing) (1) Guest
Go to bottom Post Reply Favoured: 0
TOPIC: ‘Nkoze obukadde 200 mu busamize e South Afrika’
#9065
omumbejja (User)
Gold Forum Member
Posts: 1820
graph
User Offline Click here to see the profile of this user
‘Nkoze obukadde 200 mu busamize e South Afrika’ 7 Months, 2 Weeks ago  
‘Nkoze obukadde 200 mu busamize e South Afrika’



BYA RICHARD KAYIIRA

Jjemba alaga obukodyo abasawo b’ekinnansi bwe bakozesa okubba

MUNNAYUGANDA abadde akola obusamize e South Afrika attottodde engeri gy’abadde asiba Abazungu ekiwaani n’abanyagulula obukadde obusoba mu 200!



Tebivudde wala, Bannayuganda basatu ababadde bakola ogw’obusamize baakwatiddwa poliisi y’e Mpumalanga mu South Afrika ne baggalirwa nga bavunaanibwa kunyaga Rand 48,500 (eza Uganda 10,185,000/-).



Baalimbye munnansi wa South Afrika nti bw’anaa-waayo ssente zino zijja kwekubisaamu emirundi esatu afunemu Rand 150,000 (eza Uganda 31,500,000/-) n’emikisa!



Paul Jjemba Bikwalo yali kinyoozi e Namasuba ku Stella okutuusa mu 2006 mukwano gwe eyali avudde e South Afrika bwe yamumatiza nti ‘eri bifuna kiralu’. Yatunda emmotoka ye ‘Corona’ ssente ne zibayamba mu byentambula.



Baabamma viza ne basalawo okulinnya bbaasi okuyita e Dar es Salaam, Lusaka – Zambia ne batuuka e Botswana gye baasanga abasajja be baawa ddoola 100 ne babayingiza e Johannesburg ekya South Afrika mu nkukutu.



Wadde Jjemba baasooka kumukwata nga bamulanga obutabeera na mpapula ntuufu zaamuyingiza ggwanga eryo era ne bamukomyawo mu Uganda, mukwano gwe yamuweereza ssente n’amugamba addeyo ‘bayiiye’. Jjemba agamba:



Bwe naddayo munnange n’antegeeza nti omulimu ogufuna guli gumu gwokka, gwa kwefuula musawo wa kinnansi kubanga abantu bangi mu South Afrika bakkiririza mu ddogo ate bamanyi nti abagwira naddala abavudde mu Buvanjuba bwa Afrika be balina amayembe agakola ebitakkirizika.



Wadde Jjemba yali takolangako ku busawo bwa kinnansi, mukwano gwe yamuwa obukodyo era ne n’amupangira essabo (bagyeyitira ofiisi) e Fixburg n’atandika ‘okusawula’. Annyonnyola: Mu bukodyo bwe bakozesa mulimu okutimba essabo mu ngeri etiisa ne bateekamu obuwanga bw’ebisolo ebitiisa n’amaliba g’ensolo enkambwe.



Essabo balyawulamu ebitundu bisatu.



Abalwadde we batuukira bateekawo ttivvi ne leediyo ebiziyiza abazze okuwulira ebigenda mu maaso mu busenge omusawo mw’asawulira, era ne bibaziyiza n’okunyumya kubanga bwe mujjiramu omuntu azze okubanja ng’eddagala lye baamuwa teryakola (gwe bayita omutinkuuzi) ayinza okulabula abapya b’asanzeewo. Obusenge obulala bubeera bukutte enzikiza.



Eno gye bayungira ebizindaalo ne babigatta ku nsuwa. Omuntu eyeefudde ejjembe ayogerera mu bizindaalo bino, eddoboozi ne lifulumira mu kasuwa, omulwadde n’alowooza nti mayembe ge googera! Bakozesa endege ne baziteekako obuganga bw’ebibiriiti era wakati mu kizikiza omuntu eyeefudde ejjembe bw’akuba endege zino nga zaaka omuliro olwo ne batandika okusaba bye baagala.



“Bw’olaba omuntu omugezigezi, amayembe googera Luganda, ggwe omusawo n’ovvuunula ng’ozza mu Lungereza, kyokka omuntu bw’omulaba nga si mugezi nnyo, amayemb’ awo nga googera oluzungu!”, Jjemba bw’attottola. Agamba nti abantu abadde asooka kubabba za mpaabi (Consultation fee) era buli muntu ajja abadde amusasuza Rand 100 (eza Uganda 20,000/-), ne basasula ez’ekitabo nga muno mw’awandiika ebikwata ku muntu oyo era kw’ebyo kw’asinziira okumulagula.



Agattako nti: Ezo bw’amala okuzisasula nga mmutuma ebintu by’okusaddaakira emizimu gisobole okukola ku nsonga ze.



Ebintu bye tutuma bibeera tebisoboka, okugeza amannyo ga goonya munaana, enfudu ennume etalinnyirangako kyokka nga nkadde, olwala lwa kaamuje n’ebirala era okukkakkana ng’omulwadde tumusalidde ssente okusinziira ku nfuna ye era zitera kubeera wakati wa Rand 4,000 okutuuka ku 20,000 (eza Uganda 840,000/- okutuuka ku 4,200,000/-).



Ejjembe bwe limala okusala ebintu ng’omusawo akubira gw’akolagana naye essimu okumubuuza oba ayinza okubifuna kyokka olw’okuba tebawulira Luganda bw’aba ayogera akulembeza muwendo gwa ssente nti, “Mr. Mutwalo Sir, can you get these items…..”



Wano munne ategeera nti omulwadde alina kumusaba Rand 10,000 ez’okugula ebintu. Abasawo ‘Abaganda’ abali e South Afrika bakolagana mu kusiba ekiwaani.



Jjemba yagambye nti balina enfudu gye bakozesa kyokka bagyetoolooza mu masabo nga buli agyetaaga asasulayo ku busente obutonotono n’agitwala n’amatiza omulwadde n’amukuulamu ssente.



Mu bukodyo obulala mwe babbira ssente mwe muli ak’okuwuubiira omulwadde ne beefuula abamuggyeemu ebyawongo mu mubiri oba okubisimbula mu maka ge (kye bayita okukyusa).



“Mbadde ntuma abalwadde eggi kyokka bwe balituusa nga basanga nnategeseewo dda eryange lye nnapakiddemu ebyawongo nga ndikyusa mu bukugu obw’enjawulo ne mmulowoozesa nti ly’ayasizza ly’eryo lye yaleese era bw’amala okulaba ku bivuddemu nga mpita ‘amayembe’ nga gamusalira obutitimbe olw’okumuggyamu ebyawongo.”



Ekyo bwe kiggwa ng’ate abanyaga ez’okubasibaga mw’abaweera yirizi ez’ekiwaani nga basuubiza abalwadde nti zigenda kubawonya ebizibu bye babeera bazze nazo era zibatangire n’ebizibu ebirala.



Agattako nti: Bwe nnamalanga okulaba ng’omuntu mmunyaze nnyo nga ntandika okumuwugula okumuggya ku kyamuleese, nga mmusuubiza obugagga nga mpita mu mayembe agamulimba nti bajjajjaabe baamuterekera ekitereke kya ssente kyokka nga ziriko obukwakkulizo.



Ntandika okumusaba ssente okukola ku mizizo egyo asobole okuweebwa ssente ezo, kyokka nnyongezaayo obukwakkulizo nga bwe mmusaba ssente okutuusa lw’alemererwa.



Jjemba agamba nti wadde abamu bwe balemererwa ensonga bazikomya awo, kyokka abalala bazitwala mu mbuga z’amateeka era agamba nti w’aviiriddeyo nga baakamuggulako emisango esatu egy’abantu be yanyaga mu lukujjukujju.



Agamba nti ng’oggyeeko emisango egibadde gimuvunaanibwa wabula waliwo n’omukazi nnamwandu gwe yanyagako Rand 150,000 (eza Uganda obukadde 31).



Yajja n’atema emiranga ng’agamba nti yali amutunzisizza ennyumba n’okumusuubiza obugagga kyokka n’atabumuwa n’amukolimira nnyo era ssente ze yaddako okukola ezisukka obukadde 200 zonna talina kye yazikolamu. Abadde akyusa amasabo nga bw’amala okunyaga awantu ssente eziwera ng’asenguka.



Ekizibu ky’okugaba amaanyi g’ekisajja mw’abadde asinga okufuna ssente enyingi kubanga abalwadde ababadde basinga okujja naddala abasajja nga bajja n’ekizibu kino.



Capt. Leonard Hlathi omwogezi wa poliisi y’e Mpumalanga eyakutte Bannayuganda abasatu abeefudde abasawo b’ekinnansi ne banyaga yagambye nti abagwira bangi bakozesa akakodyo kano okubba bannansi kubanga balowooza nti be balina ‘muhti’ (eddagala ly’ekinnansi) ery’amaanyi eryogeza n’abafu.



Published on: Monday, 14th April, 2008











Ebyembi bisekerwa naye waliwo ebikumalako wuzzu waliwo eyali ayagala oluzaalo nomusawo teyali mubi namutekamu enkoko nkulu kati kyesamanya oba yali agenderera omulwadde we omwana asooke kumubiika mu jji alyooke afuuke omuntu .Kati sasira omusawo omuzungu nga buuza omunnansi nti kitundu ki ekyo nga nooli amunnyonyola nti nkoko nkulu . nga naye ava kubyeneena bya baddugavu
 
Report to moderator   Logged Logged  
 
I AIM TO PLEASE SOME TIMES
  The administrator has disabled public write access.
      Topics Author Date
    thread link
‘Nkoze obukadde 200 mu busamize e South Afrika’
omumbejja 2008/04/22 01:19
    thread link
thread linkthread link Re:‘Nkoze obukadde 200 mu busamize e South Afrika’
rambuka 2008/04/22 22:04
    thread link
thread linkthread linkthread link Re:‘Nkoze obukadde 200 mu busamize e South Afrika’
omumbejja 2008/05/11 07:24
Go to top Post Reply
get the latest posts directly to your desktop
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
You are here: Start Here arrow Forum
Advertisement
Advertisement