|
Abatwalira amateeka mu ngalo bakangavvulwe
EKIBINJA kya bakanyama abaddukanya essamba y’Omuyindi kyalumbye amaka g’abasenze ababadde balemedde ku ttaka lya mukama waabwe e Bukoba mu ggombolola y’e myanzi mu Mubende ne balwanagana okukkakkana nga ssentebe w’ekyalo bamusse.
Okulwanagana kuno nga tekunnabaawo, abatuuze nabo baazinze ssamba eno ne batemaatema ebisolo n’okusaawa ebirime nga bagamba nti bakooye okubakijjanya nga babagoba mu bibanja byabwe.
Gye buvuddeko, nnannyini ttaka e lwabenge mu Masaka yatutte abajaasi ne bakuba abatuuze amasasi agaalumizza babiri ng’abalanga okugaanira ku ttaka lye yagula.
Ate e Jjokolera mu ggombolola y’e Nangabo, ssentebe yalangiridde mu kuziika omu ku batuuze nga bwe waliwo mutuuze munne eyawadde omugenzi obutwa mu mwenge. Kino kyasaanudde abatuuze ne balumba Muky. Robinah Ndagire gwe baakumyeko omuliro ne bamwokya ng’alaba. Ndagire yasimatusse okufa kubanga ow’ebyokwerinda ku LC I yamutakkuluzza ku batuuze n’amutwala mu ddwaaliro gy’anyigira ebiwundu.
Ebikolwa bino byoleka obumenyi bw’amateeka obukolebwa abantu nga batwalira amateeka mu ngalo.
Poliisi y’evunaanyizibwa ku mateeka naye abantu abamu tebagiroopera olw’obutagibeeramu bwesige ate abalala balowooza nti be bateekwa okulamula ababeera babasobezza.
Eggwanga teriyinza kubeerawo ng’abantu batwalira amateeka mu ngalo bwe batyo. N’olwekyo abakikola bateekwa okukwatibwa bakangavvulwe, ate n’abakulembeze basomese abantu nti kikyamu. Ne Poliisi esse amaanyi ku misango egigirooperwa.
FROM BUKEDDE
Kati luno lwelutalo olwokubiri olukoleeze mu kagenderere buli omu bwanakozesa ekifuba ngazze okusengula ebyaalo nabe bibanja, banyini nsi kuba mujjukire bino byonna bikolebwa mu Buganda towulirayo walala webikolebwa, ngo jeeko nti ababikola baliko ewaabwe gyebaava nebwebaba bayindi mu Buyindi tayinza wadde obwo obujoozi okubulowoozaako . Kati bannaffe bakiri maanyi ffe twagala batulage amaanyi gaabwe nga babikola abantu baabwe ewaabwe, awo tujja batenda obusajja . ekitali ekyo katwogere kimu nti
EVERY DOG HAS ITS DAY
|