ABAKOZESA ENNIMI EZ'ESITAZA MU CHATROOM MUTUYAMBE 6 Months, 3 Weeks ago
Mbalamusiza nnyo nga mu bulijjo bakiise banange.Mugyebaleko gyona gyemutusuka engalo.Olwaleero eby'okwogera nina bitono,ensonga yeya chatroom yaffe okufananaako ne webaluliira abalongo.Kimalaamu amanyi okusanga abantu abalina empisa envundu ezibawemuza mu lujjude.Ffe abamu tugenda mu chatroom kukuba lwaali nakuwuliziganyako nabaffe betuli nabo mu diaspora.Naye ekimala abalungi banange enviri ku mitwe bebaamu abajja okulaga ensi yona nga bwebafuka bakakeensa mu gwogera ebibambo ebyesisiiwaza.Banange nsaba mutuyambe kuba abamu ku ffe tulina abaana awaka.
Simanyi oba abantu abo balina abaana oba abakuulu ababasingaako mu myaka. Kale banange nsaba abantu abo batuyambe beddeko ku lwobulungi bwa connect.Nze ebyange byebo.