CONNECT UGANDA DISCUSSION BOARD
Welcome, Guest
Please Login or Register.    Lost Password?
Re:ABAKOZESA ENNIMI EZ'ESITAZA MU CHATROOM MUTUYAM (1 viewing) (1) Guest
Go to bottom Post Reply Favoured: 0
TOPIC: Re:ABAKOZESA ENNIMI EZ'ESITAZA MU CHATROOM MUTUYAM
#9221
fikema (User)
Junior Forum Member
Posts: 94
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
ABAKOZESA ENNIMI EZ'ESITAZA MU CHATROOM MUTUYAMBE 6 Months, 3 Weeks ago  
Mbalamusiza nnyo nga mu bulijjo bakiise banange.Mugyebaleko gyona gyemutusuka engalo.Olwaleero eby'okwogera nina bitono,ensonga yeya chatroom yaffe okufananaako ne webaluliira abalongo.Kimalaamu amanyi okusanga abantu abalina empisa envundu ezibawemuza mu lujjude.Ffe abamu tugenda mu chatroom kukuba lwaali nakuwuliziganyako nabaffe betuli nabo mu diaspora.Naye ekimala abalungi banange enviri ku mitwe bebaamu abajja okulaga ensi yona nga bwebafuka bakakeensa mu gwogera ebibambo ebyesisiiwaza.Banange nsaba mutuyambe kuba abamu ku ffe tulina abaana awaka.

Simanyi oba abantu abo balina abaana oba abakuulu ababasingaako mu myaka. Kale banange nsaba abantu abo batuyambe beddeko ku lwobulungi bwa connect.Nze ebyange byebo.
 
Report to moderator   Logged Logged  
  The administrator has disabled public write access.
#9222
ssewa (User)
Baby Forum Member
Posts: 37
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:ABAKOZESA ENNIMI EZ'ESITAZA MU CHATROOM MUTUYAMBE 6 Months, 3 Weeks ago  
seruganda ate bwoyogera nze mbera nina kyenyongerako??



ekyasinze okunuma kwekuwemula abakyala..kale bandize kufe ababiri..hahah..nkutumide



akuume



Paulo ezra
 
Report to moderator   Logged Logged  
  The administrator has disabled public write access.
#9226
JeenaJulia (User)
Diamond Forum Member
Posts: 943
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:ABAKOZESA ENNIMI EZ'ESITAZA MU CHATROOM MUTUYAMBE 6 Months, 3 Weeks ago  
Bagamba nyinimu watali....

Gyo netegeleza engeli enkonyoggo gyezabade zikanyugibwa.Eyasose yayisewo buyise nga omuyembe teguwanude,eyokubili yakubye emiyembe kukatabi akabadeko ogwabade gulubililwa,naye tekuli gwanogose ku taka,eyokusatu yawanude emiyembe gili emilala kyokka omulubililwa gwalemedeyo kumuti,enkonyoggo eyokuna yawanudeyo enkonyoggo endala ezali zilalide ku muti,kunkonyogo zinno ezawanudwa kwekuli eyawanude omuyembe guli omulubililwa naye ebyembi gwagenze okutuka ku taka nga gubetentuse nyoo.Eyabade akanyuga enkonyoggo yanyuse akoye kyokka nga nekigendelelwa kye teli yakitegedde kuba omuyembe yagulesewo wegwagudde okujako nti yalese aguwanudeyo kumuti. Nga nkulabila naye abatuze abalungi tetugwamu manyi,its one happy family.Lets keep up the spirit.Have fun where need be.
 
Report to moderator   Logged Logged  
 
I AGREE TO DISAGREE...FEEL FREE TO DISAGREE.
  The administrator has disabled public write access.
#9229
xaza (User)
Junior Forum Member
Posts: 133
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:ABAKOZESA ENNIMI EZ'ESITAZA MU CHATROOM MUTUYAMBE 6 Months, 3 Weeks ago  
Yiii bannange nga nasubiddwa! Enkonyogo ezo zonna!!! Anti bagamba nti ekiri ewala, mpenduzo yekijjayo.

Kirabika chatroom yanyumye nnyo.
 
Report to moderator   Logged Logged  
  The administrator has disabled public write access.
#9234
omumbejja (User)
Gold Forum Member
Posts: 1820
graph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:ABAKOZESA ENNIMI EZ'ESITAZA MU CHATROOM MUTUYAM 6 Months, 3 Weeks ago  
Ha! oba yye ntandikirewa Xaza nange nakasubiddwa nabadde newungudde ko naye nafunye omukisa bwenazeeyo waggulu okulaba ebyansubye era nabo tebandisappointinze nabisomye ngassisobola ku kikkiriza ssimanyi oba kulwa bweeru naye nakati okuwulira ebigambo ebiwemula mba ngaalya kabalagala alumira, birumira nokusinga luli nga nkyaali eka mpozzi lwakuba sateranga kubiwulira oba okuyita mubitundu webitera okukozesebwa ngooli omaze okwegweera ssegamwenge kuba omuntu omulamu alimu akategeera bibwatuka ngeri ndala silowooza nti nooli ayinza okubikozesa nga gezaako okulomansinga munne nze awo aba maze okunturninga off

Kati kyesategedde oli amala kukola plani nti kati kusaawa ttano nina okutwaala engoye mu rolima dry cleaner kumukaaga ngende ewakinyoozi kumusanvu ngende mpemule eh! era wamma mbadde ekyo nkyelabidde so nnali ngenda kikola last week naye nga bwenkijjukidde kati kankimalire ddala nekyo nkyejjeko.

Twabadde neka Master Blaster moment ndowooza kati naye yesunyeeko kuba ye yali agenderera baana bato abatabimanyi naye nga lina enjiri eywedde , saasira kwabaddeko nabasakiriza . Kale tugambe nti Empuuta ekuwomera naye kikwetagaisa kujja ngogyetimbye mumaaso newejjako nelinnya bakadde bo lyebakuwa neweyita empuuta , Kano tekabadde kazoole, ye yenyini kkunta yeyabadde yekalize amagengere

Bwooba olina gwolinako ekkonda lwaaki okeera okwambalako obulungi notonnya nogenda mu sitenseni neweyambula nosigala mubuziina ate nolaya enduulu? kuba kyekifananyi ffe abamu kyetwafunye , kyakwanika buziina mulujjudde , Nemugenderamu nebasalumanya ababadde benyumiza ebyaabwe , ate tebereza nafuuka owo kwegayirira, tukwegayiridde byoyogera tebituwomera, nga ye agenda mumaaso nakumoggola, wewaawo tekiwomera matama abiri nga bwetwakizudde abagoberezi obwedda abamuwaga okwongera okweyanika nokulaga empisa zimafunyo , jjukira Abaganda bantu balamu yensonga ebigambo nge ebyo babiwa omukolo mulamba awulira nga bimusiyisa olulimi gyagenda neyemala eggoga. Ffe tetulinga bannaffe abaweranga siripa nagikusangamu nagikuliisa oba nagaana okwongezza sabbuuni nakusanga ngo mwongezza namukuliisa. Ebigambo byatumalanga okukozesa, omuntu okumuwabula nti gundi obuze ate eva kumugendo efuuka kaasa

Lwaaki abantu abakulu tebeyisa nga abobuvunanyizibwa ? tukyetaaga era okubaawo nomuntu nga tulunda ne wetukunganira okunyumyaako ne bannaffe?, mulimu abantu abagaana okukula oba nga bakula mibiri gyokka



MMANYA NTI ABALALA OKUKUWA EKITIIBWA GWO LINA OKUSOOKA OKWEYISA NGO MUNTU MULAMU
 
Report to moderator   Logged Logged  
 
I AIM TO PLEASE SOME TIMES
  The administrator has disabled public write access.
#9239
K WESONGA (User)
SELAMAT CHRISITIMAX
Junior Forum Member
Posts: 123
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Location: KUALA LUMPUR, MALAYSIA
Re:ABAKOZESA ENNIMI EZ'ESITAZA MU CHATROOM MUTUYAM 6 Months, 3 Weeks ago  
BWEMUTYO BWEMUGENDA MUGOBA ABANTU KU CONNECT, MWE SIMANYA BAMUMBEJJA. MWATUWEMULA, NEMUVUMA. KATI ATTE MUTANDISSE OKUVUMIRILA NTI KIBI, MBU SIMANYA MWASUBWA.... YIIIIII

MUMBEJJA NIINI!!!!!!!!!!!!!!!!!!!!!!!!!!!!!!!!!!!!!!!!!!!!!!!!!!!!!!!!!!!!!!!!!!!!!!!!!!!!!!!!!!!!!!!!!!!!!!!!!!!!!!!!!!!!!!!!................ BINSANGANGA SILIIWO..... KUBA NZE NANDIBALINGIDDE, ENKWE ZEMWASIKILA KUBA JAJJA MWE.............
 
Report to moderator   Logged Logged  
 
Those who fail to prepare, are preparing to fail.
  The administrator has disabled public write access.
Go to top Post Reply
get the latest posts directly to your desktop
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
You are here: Start Here arrow Forum
Advertisement
Advertisement