CONNECT UGANDA DISCUSSION BOARD
Welcome, Guest
Please Login or Register.    Lost Password?
Re:Naye Buwala bwa kinyozi !!!!! (1 viewing) (1) Guest
Go to bottom Post Reply Favoured: 0
TOPIC: Re:Naye Buwala bwa kinyozi !!!!!
#9694
JeenaJulia (User)
Diamond Forum Member
Posts: 998
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:Naye Buwala bwa kinyozi !!!!! 6 Months, 1 Week ago  
Kyakweera,akabuza koba osokka okujako okakwekele dala wala,mwana muwala alabika bulijjo anonya mbazzi naye laba kibuyaga bwakunta okukakana nga kyabadde anonyeza embazi kili ku takka.Gwe tolaba bwekewana, mulamu ye affuba kulaba nga zekalidde zigwayo ko kawoza mbu alabika yasimye oluwombo hehehehe.Wabula buwala bwa kinyozi bwazze nyoo.
 
Report to moderator   Logged Logged  
 
I AGREE TO DISAGREE...FEEL FREE TO DISAGREE.
  The administrator has disabled public write access.
#10332
JeenaJulia (User)
Diamond Forum Member
Posts: 998
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:Naye Buwala bwa kinyozi !!!!! 4 Months, 2 Weeks ago  
Nneddizza gaayi wa mukwano gwange

NKOLA mu dduuka erimu eritunda engoye empya mu akeedi emu mu Kampala, era eno gye nnafunira mukwano gwange gwe ntera okunyumya naye ku nsonga ez’enjawulo. Mu butuufu omuwala ono mukwano gwange era buli kizibu kye nfuna gwe nsooka okutegeeza .

Mu ngeri y’emu naye bw’abaako n’ekimuduguda akimbulira era embeera eno emaze ebbanga. Ku wiikendi ewedde yansabye tugendeko ne ggaayi we atukyakazeemu era nange ne nzikiriza.

Nnayambadde ne ntonnya era nga muli nange nneewulira nti nnyumye okukamala. Ggaayi ono Jimmy twamusisinkanye Wandegeya ne tutandika okwesiwa omwenge kumpi kwagala kugumala mu bbaala.

Wabula newankubadde nnabadde mmutudde walako, obwedda alina engeri gy’ankubamu oluuso lu ‘45’, ekyandaze nti yabadde ammatidde naye nga talina ngeri gy’ang’ambamu ekimuli ku mutima.

Ekiseera kyatuuse mukwano gwange n’agendako emmanju yeeteewuluze, ekyamuwadde ekyanya n’ang’amba bw’ansiimye era n’ampa n’ennamba y’essimu ye.

Amangu ago yankubye ne kkiisi eyandese nga gampedde, n’ansaba tusisinkane mu kiro ekyo.

Nga bwe yabiteesezza bwe byabadde.Yeefudde atuzzaayo ffembi era nze gwe yasoose okutuusa awaka olwo n’atwala ne mukwano gwange.

Wabula olwamutuusizza n’akomawo n’annona olwo ne tutandika obulamu obupya. Twakyusizza bbaala ne tugenda e Kabalagala gye twamaze ebbanga nga tupepeya.

Olwavudde eyo, yavuze adda Ggaba gye twasuze ng’alambula ennimiro yange. Mu kaseera k’ababiri nnafubye okulaba nga nfulula mukwano gwange. Mu kifo ky’okumuwa amasaza nnamuwadde bibuga nga mwe muli ne Kampala.

We twayawukanidde ng’antegeezazza nga bw’agenda okukola kyonna ekisoboka okulaba nga mukwano gwange amusuula mu kaselo.


Chamili yabilaba..tobesiga tobesiga...
 
Report to moderator   Logged Logged  
 
I AGREE TO DISAGREE...FEEL FREE TO DISAGREE.
  The administrator has disabled public write access.
#10382
kingo (User)
Junior Forum Member
Posts: 146
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:Naye Buwala bwa kinyozi !!!!! 4 Months, 1 Week ago  
JJ, olabika ebigambo bya kafeero wabiwuirizanga nobwegendereza bungi, wamma kano, kawala ka kinyozi kenyini Kafeero kayimba kazi bali bakayita ani?, naye ate namwe gubasinga, bwobeera omanyi nti mukwano gwo akusinga, lwaki omuliranya omwami wo? Kakati ono ye nange andabikira yabadde yesasuza wenge gweyasunze, kansubire nti yabadde byakola abitegeera bulungi nga omuwala ono enkera tamulabe kyamuli!!!!!!!
 
Report to moderator   Logged Logged  
  The administrator has disabled public write access.
#10403
JeenaJulia (User)
Diamond Forum Member
Posts: 998
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:Naye Buwala bwa kinyozi !!!!! 4 Months, 1 Week ago  
Lol Kingo,wegendereze byobuza byandikuzalira akabate...naye ela kankudemu.Kawala ka kinyozi bali bakayita ka Lucia.Twala eli nawe kati bwetunagana okulondela banywanyi baffe abatusingako kuba tutya okutulivula?Mwe begusinga,omanyi olina kyokka ate ela nolokaloka nga olabye yo ekilala nga bwojja nti bilimu enjawulo...simanyi weli??mbuza njawulo.
 
Report to moderator   Logged Logged  
 
I AGREE TO DISAGREE...FEEL FREE TO DISAGREE.
  The administrator has disabled public write access.
#10455
kingo (User)
Junior Forum Member
Posts: 146
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:Naye Buwala bwa kinyozi !!!!! 4 Months ago  
owange leka kusaaga, enjawulo ebaawo, waliwo ettaka ekkalu, waliwo neryolutobazi. Lwaki sirokaloka nga owange yenyini yansomoza okundetera ebinyirira!!
 
Report to moderator   Logged Logged  
  The administrator has disabled public write access.
#10685
JeenaJulia (User)
Diamond Forum Member
Posts: 998
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:Naye Buwala bwa kinyozi !!!!! 3 Months ago  
Omuwala w’e Kampala yanzibako omusajja

ABAWALA b’e Kampala bwe balaba ku musajja avudde ebweru bakola kyonna ekisoboka abaganze. Nze bantema ennamba era kati amaka nnagafuuwa dda mu ng’ombe.

Mpitibwa Suzan, mbeera mu kibuga Boston ekya Amerika gye mmaze emyaka mukaaga. Nzaalibwa mu bitundu by’e Masaka.

Omusajja wange nnamusanga mu Amerika gye yali amaze emyaka esatu era nga talina mukazi, ne twagalana era ne ntandika okubeera naye. Amangu ddala nga mmufunye, nnafuna olubuto ne nzaala era nga kati nnina abaana babiri.

Baze bwe yafuna obutuuze nnamusanyukirako nnyo era twasibira mu kiraabu emu mu Boston ne tunywamu. Ssekukkulu eyaddirira yakomawo mu Uganda era nze nnamuteekerateekera bye yaleeta ate nange ne mutuma antwalire ebintu ewaffe.

Yakomawo oluvannyuma lw’emyezi ebiri wabula ng’embeera ze zikyuse. Yatandika okugamba nga bwe simuwa kitiibwa n’ okwekwasa obusongasonga obutaliimu. Nnagenda okulaba ng’akuba nnyo essimu e Uganda era bwe nnakebera essimu nga mulimu erinnya ly’omuwala gw’atera okukubira. Nnakubira omuwala essimu ne mulabula anviire ku baze wabula yaddamu ng’abalaata nti nneesibe bbiri kuba omukwano gwabwe gwali gutuuse wala.

Nabuulirako mukwano gwange n’ankakasa nti abawala b’e Uganda balina obukodyo bungi obubba abasajja naddala abava mu Amerika ne Bungereza nga banoonya okubaggyamu ssente n’okubafunira viza. Era yampa amagezi nti okuzza omusajja nnina okugonda, okumubuuza nga nfukamidde, okumuteerayo amazzi mu kinaabiro n’ebirala.

Byonna nnabikola naye omusajja nga tabifaako era Ssekukkulu bbiri ezaddako ng’aziriira Uganda nga bapepeya n’omuwala era kati yamuzaalamu omwana era amupangira kumuleeta eno mu Amerika.

Nnalaba kimpitiriddeko, ne mmuviira era kati nkola byange. Eking’umya kwe kuba nti nnina omulimu omulungi ogukira ogugwe anti ye akola bwaddereeva. N’ekisinga obukulu amateeka gamukakatako okulabirira abaana.
 
Report to moderator   Logged Logged  
 
I AGREE TO DISAGREE...FEEL FREE TO DISAGREE.
  The administrator has disabled public write access.
Go to top Post Reply
get the latest posts directly to your desktop
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
You are here: Radio arrow Forum
Advertisement
Advertisement