WALIWO abantu abaatondebwa nga balina akatinko mu mukwano ate ng’abalala tebakalina kyokka nga nabo basobola bulungi okulaga abaagalwa baabwe amapenzi. Byeyongerayo...
Mukyala wo bw’aweza emyaka 40 tomusuulirira
AKABOOZI y’emu ku mpagi enkulu ezifuga obufumbo era abaagalana bwe balemwa buli omu okumatiza munne ng’olwo obuzibu buzze. Byeyongerayo...
Bakoze ekisawo ekigezza obusajja
MU kaweefube w’okunyumisa ekigwo ky’abakulu, bannassaayansi mu Amerika bakoze ekisawo omusajja ky’ayambala ne kyongera ku sayizi y’omusekuzo. Byeyongerayo...
Baba n’ekyejo mu buliri
OMUSAJJA aludde mu kisaawe ky’omukwano atunuulira butunuulizi omukazi n’amanya kiki ky’ali bw’amutwala e Namboole. Byeyongerayo...
Tunoonya banaatuwasa
NNEDDIRA nte era mbeera Kansanga. Nnoonya mwami ali wakati w’emyaka 28 - 40, nga mwetegefu okukola omukwano ogwannamaddala. Byeyongerayo...
Towaliriza kwegatta nga munno ali mu nsonga
EBISEERA ebisinga ekigendererwa ky’akaboozi kuba kwesanyusaamu naye ate abalala bavaayo bakeekokkola. Byeyongerayo...
Bannange, eno family newspaper or what? Gano amawulire ssi Taata galekawo ku mmeza nabaana nebasoma? Baatugamba nti ensonga za Ssenga kazive mu kisenge, tuwabulwe ku by'obulwadde obwajja! Wabula kati ate tulaba nabatannatuuka bagunjulibwa mu bukaba, ensonga y'okutangira obulwadde yaviibwako dda. Ate ebintu ebimu ssi nabituufu! Ebisigadde temuli kyamagezi kizimba myooyo mu nsi enyonta nga eyaffe. Nze ndowooza omuntu yenna ali mu ngatto za senga, okussa emboozi bweziti mu mawulire agekika kino, kimala okulaga nti talina bisanyizo. Ssenga ono awerebwe.
Re:Ssenga Wa Bukedde Awerebwe! 1 Year, 3 Months ago
Naye mabtegeeza nnewunya nnyo Abaganda abalina abaana , nadddala abali ebweeru okulaba angeri gyemutafa ku nsi abaana bammwe gyemubalekera. Nnalina emyaka kumi nebiri, senga wange nagamba nti tomusendebwa sendebwa nakwelowooza nti oli wa waggulu kubanga omusajja agambye akwagala kuba oli muto. Obuto ssi ye ggwe, eyo phase oyitamu mpite. Nekakuyisako nabo baliko abato. Kyebagala ssi kyekikulu, wabula ggwe kiki kyoyagala. Obulamu bwo bubwo, kyonna kyobuteekako kibe kutuufu eri Katonda wo, ggwe, n'egwanga lyo.
Nabuli kati nkyabijjukira, era bizannye role neene mu ngeri gye mpita mu bulamu bwange. Oyo Senga wammwe owa Bukedde, kiki kyasomesa ekiyamba abaana okutambula mu bulamu? Oyo kafankunaye owobuwemu ate obwekikyaafu, nga temuli nabutuufu. Okuwuwunaza obuwuwunaza abaana!Oyo senga yekobanye ne slim, nabayimbi abamu bamalewo Obuganda? Ekyebuzibwa, ani amusasula?
Naye nga sinabunira, biki oyo senga mmwe byabayigiriza abafumbo? Nti omukazi omumpi abeera ne nabunnya mpanvu? Cow dung! Yasomera wa anatomy, ne pshysiology ebyamutegeeza ebyo? Bafumbo bawa abali serious, nga buli ayogeera gwebagenda naye? Abantu bayige okusoma ebitabo ebisomebwa abangi, kuba oli yelowooza nga tanata mboozi. Ffe abakazi ffe twabeera ne ba senga, tebogeera ebyo. Senga muntu wa family, kuba omusaayi gwaabwe agumanyi, nobunafu bwaabwe. Senga we ggwanga abeera alina degree mu psychology. Ate nabo bakola bangi, kuba bamanyi nti abalala babatunulidde. Kasita otuuka okubuulira oyo Senga obuzibu bwo ng'omanya nti eyakwaluula esiridde. Nga omanya nti togenda kutereera. Ensonga enkulu; ate olwo abaana ababisoma mubakoze mutya?
Njagala okukutegeeza, nti bino ebintu ebiri ku internet, tebisomebwa Baganda oba nannaUganda bokka. Nabensi endala abagala okutumanya babiyitamu. Okuswaala okuli awo!!!! Kyebava batuyisamu amaaso nebatamala. Ntegeeza, mu Bungereza mwonna mulimu family newspaper ewandiika ebyo? Mu America eriyo?
Naye Senga mmwe bwemuba muwagala lwaki taddayo eri mu kitabo kyekyama, nayogeerera ggwe eyo kazambi we? Wakiri nalemaza abakulu bokka ate abeyagalidde. Mutagaze nnyo abaana, munalaba Mukama tabokyezza omuliro nga gweyayokya Sodoma ne Gomola!!