Re:Ssenga Wa Bukedde Awerebwe! 1 Year, 3 Months ago
Ne Sodoma ne Gomola ebyobukaba bonna babigendangako, Mukama kyeyava abookya. Okuba nti abangi bakikola si kwekuba ekituufu. Lwaki ku bibuuzo byenkubuzizza tewali kyozzemu? Abafa ku baana bwebalituura mu bifo byaabwe, nkulagudde, Bukedde agenda kufuuka, Buzibye.
Re:Ssenga Wa Bukedde Awerebwe! 1 Year, 3 Months ago
Nedda bambi kino kikyamu nnyo ddala okulowoozanga nti okutta ekintu oba okukiwera lye kuba lyo kutereza ensonga nedda.Bwe waba waliwo ekisobye yamba buyambi okutereza ffenna tuyamba bantu baffe.Ate teri amanyi byonna mu nsi muno.No mugezi awaba. Website eyawerebwa yali yetaaga kujjamu bibi ebyalimu ne batereza butereza.Ddembe lya muntu era lya buntu okukola kyayagala. Omanyi website eyo nayo yalina ekirungi ky yali eyamba kuba bangi abantu be bweru bsomanga ne bamanya nti e Uganda eriyo ebijujulu ebirungi naye ekyokubeera obukunya ekyo kikyamu era kyali kituufu singa bajamu ebifananyi ebibi ne batereza enyambala singa osanga abantu bangi balisobodde okulaba ebyana ebirungi era ne bajja e uganda ne babiwasa.Awo tuba tufunamu dollor kuba buli muko aleeta waffe uganda.Okuwera ssenga sikiwagira tumusabe alongosemu mu bikyamu tugende mu maas. Tulina okukula era tugende mu maaso. Mwebale nnyo mwenna aba connect radio naye singa nammwe munabako kye musobya nga tugamba nti babawere .NEDDA NEDDA ekyo kikyamu. Tuyambagane nga abazungu bwe bayambagana era kwe kulaba nti bagenda mu maaso era batuleka ddadda. Akuume.wangala senga ne connect radio. from cusar.
Re:Ssenga Wa Bukedde Awerebwe! 1 Year, 3 Months ago
Mukulu Cusar, simanyi oba oyiseko mu biri waggulu, naye sinnaba kugamba nti senga ono awerebwe mu gwanga aveemu, awangangusibwe. Nze njogera kumuwera mu Family Newspaper. Era nsabye ofune yo ku example eyensi endala nga ezo eza bazungu boyogerako, erina ebintu ebifanaana bwebityo mu mawulire agayitibwa aga family. Wabula waliwo magazines ezabakulu,enka, omuntu gyayinza nokwekisiza, ezobukaba obwa buli langi. Senga ono agende akolere eyo emirimu gye. Tulina kati obuzibu bwa slim, twandibadde tufuba abaana abazalibwa leero nebasanga nga wakiri waliwo obwekwaamu. Nabato abakyaali nebayambibwa okuva buli ludda mu kwekuuma. Nkakasa nti ndi mutuufu, era nga nsinziira ne ku bannange bangi abafudde bwetwasoma nebwetwazirunda, mu myaka emito ddala. Kale nga abamu baleese nakaana nga kamu. Nsonyiwa, mu ngeri yange, obwana bwa bannange obwo bwennwaniriira, bbwo bubewo!! Ekirala, Connect Uganda terina musango, byempandiika byange Meli, nze mbirinako obuvunanyizibwa. Nze siri mukozi wa Connect, ndi muntu buntu eyajja wano okuwa bannansi bannange obulowoozo bubili busatu. Ssi kya bwenkanya okuva ku ludda lwo okugamba nti connect newelebwa... Oba oyagala, gamba nze mperebwe. Nja kuwuliriza argument zo. Bwezinabeeramu omulamwa, nyinza nokwanguyiza, nennewera nzekka.