Okuva nga tuli bato ensonga eno etutawanya. Abakola mu malwaliiro mumanyi waliwo abantu abakula nga bakyatawanyizibwa nnyo era. Nzijukira nnatwaala muto wange mu dwaliiro lumu, nnemukwata omusawo amukube empiso. Omwana ono nga wa mpisa musirise, naye yafuna obusungu nga bamaze okumukuba empiso, yavuma omusawo!! "Ggwe omusajja oli mubi nnyo nnyo, olinga empitambi za bakadde!!" Gyoberedde eza bakadde zirina enjawulo ku za bato. Naye ettaka lyagaana bugaanyi okummira kwoolowo, nze kkwo okulisaba nnalisaba na maanyi. Gwe ewammwe eyo bigenda bitya ne mpiso namakerenda ago?
