CONNECT UGANDA DISCUSSION BOARD
Welcome, Guest
Please Login or Register.    Lost Password?
Mukandoli afudde (1 viewing) (1) Guest
Go to bottom Post Reply Favoured: 0
TOPIC: Mukandoli afudde
#9385
omuana isaacs (User)
Junior Forum Member
Posts: 52
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Mukandoli afudde 3 Months ago  
EYALI akulira essomero lya Buganda Road Pulayimale Muky. Rose Mukandoli afudde.

Mukandoli, 64, yafiiridde mu maka ge ku kyalo Dandira kiromita ng’emu ku luguudo oluva e Mukono okudda e Katosi ku ssaawa nga ssatu ez’oku makya g’Olwomukaaga.

Obulwadde bwa kkansa w’amabeere obumutawaanyizza okumala akabanga bwe bwamusse. Mu maka ge abantu abaagenzengayo okukubagiza bakira tebeekubagiza wabula nga bayimba nti “Tumutendereze Yesu”. Omusasi ono yagugumbuddwa abooluganda bwe yasaasidde abafiiriddwa nti “nga kitalo.”

“Kitalo, obigamba ani ebyo, obukaafiiri bukutawaanya omuntu waffe abadde omulokole, ffe tujaganya Rose agenze mu Ggulu ate ggwe owoza kitalo, lokoka mangu kubanga ogenda kuzikirira”, bwe baagambye.

We natuukiddewo eggulo omulambo gwabadde gukyasibiddwa mu kisenge era nga muto w’omugenzi Muky Joy Kinana yagambye baabadde bakyalinda musawo agukoleko balyoke baguteeke mu ddiiro gulabweko abantu. Waakuziikibwa mu maka ge e Dandira.

Mukandoli yali mukulu wa ssomero lya Mengo Pulayimale ne Gayaza Junior n’alyoka agenda ku Buganda Road gye yawummulira emyaka ena egiyise.

BANNANGE BA "OB" NE BA "OG" BE MENGO NGA TWESIMYE KUBANGA TEWALI KUBUUSA BUUSA AGENZE MUGGULU. ABADDE AYAGALA NYO KATONDA WE.

She always insisted on being addressed as "MISS Rose Mukandooli" so allow me to say.......Miss Rose, mukama akuwummuze mirembe ggwe wanjigiriza okusoma nokuwandiika.

Long live Mengo Primary Sch. Long live Mukandooli's Legacy.

Omuana Isaacs.
 
Report to moderator   Logged Logged  
 
Greetings, in the name of the most high, the ever merciful, ever truthful........
  The administrator has disabled public write access.
#9386
DENIS JK (User)
New Forum Member
Posts: 1
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:Mukandoli afudde 3 Months ago  
anti ekya "nga kitalo kyaganiddwa" kale nange kambegatteko mu kujaguza kwomukadde oyo okugenda mu ggulu.

wabula nze kye nandirowoozezza kiri nti abaganda okusaasira abfiirwa nti nga kitalo , trkiba kibi kubanga babeera tebategeeza nti omugenzi agenze mu ggeyeena NEDDA.

kuli kuba kusaasira nga kugendereddwa okugumya emitima gyabo ababa baviiriddwako omwagalwa waabwe gwebaba tebasubiira kulaba mu bwangu.

kino njagala okifaananyeko, omukyalawo oba omwagalwa wo yenna nabeera nga alin gyagenda kyokka nga ajja kulwayo nnyo wabula nga ensonga emutwala nkulu nnyo era nga byagoba obimwagaliza, awo bwomugamba nti "im gonna miss you" sirowooza nti obeera otegeeza nti byagendako tobyagala , NEDDA.

nze ndowooza nti eba nsaalwa yakulwawo kulaba munno ate nga sikyangu kumanya wa nemunno byaba agenda okuyitamu.

kyokka sivumirira nzikiriza eyo nedda, wabula nteesa buteesa nti tekyandilabiddwa bubi oli bwaba akusaasira olwa munno gwogenda okulwawo okulaba newankubadde nga gyalaga oba olyawo oyinza okuba ngokimanyi nti byagendako bifuna.

mpozzi bambi omuana nkwebaza okutegeeza kubantu bonna, webale nnyo sebo.

oli mu munchen kati oba kya ddondo.

bambi weebale nnyo nobuyimba bwaffe. nange ndiwano ninze owange ansange mu "love mood"

akuume

nze DENIS JUDE KALAGIRA (OSNABRUCK)
 
Report to moderator   Logged Logged  
  The administrator has disabled public write access.
#9387
mike (Admin)
Admin
Posts: 124
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:Mukandoli afudde 3 Months ago  
Nnange bannange nsaba okubaako nekyengyogera ku bulamu bw'omugenzi Mukandoori.

Sigya kwogera bingi naye omukyaala oyo emyaka gyenamumanyiramu nsobola okugamba nti yandaga omutima ogw'obuzadde, yandaga obwagazi ate era nandaga nti munsi mulimu abantu abasobola okkugumiikiriza ng'omuntu n'okuwa omukisa okwelwanako oveeyo.

Mukyaala Mukandoori ye yali omugenyi omukulu ku kabaga k'okwekulisa emisomo gyange akaali e Lungujja mumwaka ogwe nkumi biri mu gumu (2001). Nfuna essanyu lingi bwenzijukira emyaka egyesanyu n'okuyiga Mukyaala Mukandori gye yandaga.

Ate era olwokuba manyi nti Mukyaala Mukandori abadde akiririza mu bulamu obuggya nga obw'ensi enno buweddewo, nina essanyu ku mutima kuba manyi nti agenze mukifo kyabadde y'enyumiririzaamu obulamu bwe bwonna.

Mukama amwanirize mukitiibwa.
 
Report to moderator   Logged Logged  
 
*Olupapula si mupiira mwatu nti lunanuka nandilwongedeyo..... alogya omukwano tayogera bingi bwebiyitirira bifuuka bulimba* - Freda Ssonko.
Bannange mwebale nnyo omukwano. Mutuwadde ekirabo ekisinga byonna munsi eno. Naffe tweyama okubawereza n\'essanyu, okwagala n\'obumalirivu.
  The administrator has disabled public write access.
#9388
rambuka (User)
Expert Forum Member
Posts: 509
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:Mukandoli afudde 3 Months ago  
Banange nga kitalo ekyo kuffa kwa Mukandoli
 
Report to moderator   Logged Logged  
 
peace
  The administrator has disabled public write access.
#9390
tonto (User)
Senior Forum Member
Posts: 258
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:Mukandoli afudde 3 Months ago  
mike wrote:

QUOTE:
Nnange bannange nsaba okubaako nekyengyogera ku bulamu bw'omugenzi Mukandoori.

Sigya kwogera bingi naye omukyaala oyo emyaka gyenamumanyiramu nsobola okugamba nti yandaga omutima ogw'obuzadde, yandaga obwagazi ate era nandaga nti munsi mulimu abantu abasobola okkugumiikiriza ng'omuntu n'okuwa omukisa okwelwanako oveeyo.

Mukyaala Mukandoori ye yali omugenyi omukulu ku kabaga k'okwekulisa emisomo gyange akaali e Lungujja mumwaka ogwe nkumi biri mu gumu (2001). Nfuna essanyu lingi bwenzijukira emyaka egyesanyu n'okuyiga Mukyaala Mukandori gye yandaga.

Ate era olwokuba manyi nti Mukyaala Mukandori abadde akiririza mu bulamu obuggya nga obw'ensi enno buweddewo, nina essanyu ku mutima kuba manyi nti agenze mukifo kyabadde y'enyumiririzaamu obulamu bwe bwonna.

Mukama amwanirize mukitiibwa.

Kyokka ate ebyembi, eriyo abantu abatakkiriza nti eriyo Katonda, n'obulamu oluvanyuma lwokufa. Wabula fenna ababadde bamanyi Mukyala Mukandori, tumanyi nti abadde mukkiriza eri Katonda.

Tusaana tukimanye nti obutakkiriza nti Katonda jaali, ekyo tekimujjaawo. Asigala jaali, yadde abamu nga balowooza nti taliiyo.
 
Report to moderator   Logged Logged  
  The administrator has disabled public write access.
#9395
Kalibattanya (User)
Expert Forum Member
Posts: 606
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:Mukandoli afudde 3 Months ago  
Awummule mirembe omusomesa wa bannaffe.
 
Report to moderator   Logged Logged  
 
Love Conquers All
  The administrator has disabled public write access.
Go to top Post Reply
get the latest posts directly to your desktop
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
You are here: Start Here arrow Forum
Advertisement
Advertisement