|
EYALI akulira essomero lya Buganda Road Pulayimale Muky. Rose Mukandoli afudde.
Mukandoli, 64, yafiiridde mu maka ge ku kyalo Dandira kiromita ng’emu ku luguudo oluva e Mukono okudda e Katosi ku ssaawa nga ssatu ez’oku makya g’Olwomukaaga.
Obulwadde bwa kkansa w’amabeere obumutawaanyizza okumala akabanga bwe bwamusse. Mu maka ge abantu abaagenzengayo okukubagiza bakira tebeekubagiza wabula nga bayimba nti “Tumutendereze Yesu”. Omusasi ono yagugumbuddwa abooluganda bwe yasaasidde abafiiriddwa nti “nga kitalo.”
“Kitalo, obigamba ani ebyo, obukaafiiri bukutawaanya omuntu waffe abadde omulokole, ffe tujaganya Rose agenze mu Ggulu ate ggwe owoza kitalo, lokoka mangu kubanga ogenda kuzikirira”, bwe baagambye.
We natuukiddewo eggulo omulambo gwabadde gukyasibiddwa mu kisenge era nga muto w’omugenzi Muky Joy Kinana yagambye baabadde bakyalinda musawo agukoleko balyoke baguteeke mu ddiiro gulabweko abantu. Waakuziikibwa mu maka ge e Dandira.
Mukandoli yali mukulu wa ssomero lya Mengo Pulayimale ne Gayaza Junior n’alyoka agenda ku Buganda Road gye yawummulira emyaka ena egiyise.
BANNANGE BA "OB" NE BA "OG" BE MENGO NGA TWESIMYE KUBANGA TEWALI KUBUUSA BUUSA AGENZE MUGGULU. ABADDE AYAGALA NYO KATONDA WE.
She always insisted on being addressed as "MISS Rose Mukandooli" so allow me to say.......Miss Rose, mukama akuwummuze mirembe ggwe wanjigiriza okusoma nokuwandiika.
Long live Mengo Primary Sch. Long live Mukandooli's Legacy.
Omuana Isaacs.
|