Abantu beeyiye mu Kiggunda kya Simba
Sophie Nantongo ng’akooka eggulo.
Bya J. Sseguya ne Richard Ssemakula
WADDE ng’enkuba yatonnye eggulo mu Kampala wakati, tekyagaanyi bacakaze kuggweera mu kisaawe e Nakivubo awaabadde Ekiggunda kya leediyo Simba ng’ejaguza emyaka 10.
“Ayi Mukama ani aloga….naye ffe aba Simba tetulemwa….kale muwage..muwage,” bw’atyo kalaabaalaba w’omukolo, Charles James Ssenkubuge ‘Siasa’, aweereza Pulogulaamu ya Binsangawano buli ku makya bwe yagambye olwo abacakaze abaabadde badduka okugyeggama ne bakomawo, ‘ekintu’ ne kikwata akati ng’enjogrera bw’eri.
Buli eyabadde ayingira ekisaawe e Nakivubo ng’aweebwa akatambaala aka kyenvu, langi ya MTN eyatadde ssente mu kivvulu kino ekyakeesezza obudde.
Ekivvulu kyatandise ssaawa ttaano ez’emisana n’amazina Amaganda era zaagenze okuwera ssaawa ssatu ez’ekiro ng’abawoomerwa ebbidde baatamidde dda nga n’abamu batandise okwesogga ebisegguusi, balye ku bulamu ne baganzi baabwe.
Abayimbi abasoba mu 100 omwabadde Sophie Nantongo eyasuddemu ‘Amaggwa’ ekisaawe ne kicankalana nga bamubuuza amaggwa agamufumita gye gali. Abalala abaayimbye ng’obudde tebunakunira mwe mwabadde Mathias Walukagga, Willy Mukaabya, aba Fire Base Crew abaayimbye oluyimba lwa ‘Juba’ olwacamudde abantu bakira abeeyita ‘abaana ba Gheto’ ggwe wamma ne lwogooma.
Abakozi ba Leediyo Simba omuli Omulangira Ndausi, Charles Ssenkubuge Siasa, Connie Nalugwa, Wagguma Kisule n’abalala bakira bajja ku siteegi ne bazannya obuzannyo bwe batera okukola ku leediyo Simba, bo kye baayise okuleeta situdiyo mu bantu.
Published on: Sunday, 6th July, 2008
WAKILI OKUSIBA NOKUSULA ENJALA NAYE NGA MUNA_U AKYAKADDE.OBU NUMBER BUKOLA..
