Kino kyebayita okukuba enduulu bakuddukirire ate abaddukirize nebajja nembukuuli nebakukakkanako nebakuteera enkoni, naye ekyomukisa nebakkuba kumutwe kuba ebigere bitta kati egifikkawo nebagikuba ettaka
Pulezidenti Museveni agugumbudde bannaddiini okwogera bye batategeera ku ttaka n’agamba nti kimunyiiza nnyo okulaba nga buli ensonga z’ettaka lwe zijja mu ddiiro bannaddiini be basooka okuzoogerako.
“Lwaki mwogera bye mutamanyi? Nze nga Museveni siyinza kukeera nkya ne ng’enda mu Kkanisa oba mu Klezia ne ntandika okubatiza kubanga ogwo si mulimu gwange”, bwe yategeezezza ku mikolo gy’okukuza olunaku lw’amagye (Terehe Sita) e Masindi eggulo.
Museveni eyabadde mu byambalo by’amagye yawabudde bannaddiini nti bwe baba baagala okwogera ku nsonga yonna gye batategeera basooke kugyetegereza baleme kwogerera mu butamanya kye yayise ‘ignorance’.
Kino kiddiridde bannaddiini okuvaayo ne bawakanya ebbago ly’etteeka ly’ettaka nga bagamba nti teryetaagisa kubanga waliwo amateeka agamala okukangavvula abagoba abantu ku ttaka kyokka Gavumenti eremeddwa okugakozesa okuvunaana abantu abo.
Bwe yavudde ku bannaddiini n’akyukira abafuzi bensikirano; Njagala mumanye we mutandikira ne we mukoma. Buli omu alina olubimbi lwe. Mukomye okuyingira mu lubimbi olutali lwammwe.
Bannabyabufuzi bano, yagambye nti bakozesa abafuzi bensikirano okukyayisa Gavumenti olwo bo bannabyabufuzi batuukirize ebigendererwa byabwe.
Kwe kusaba Museveni agende mu maaso n’okukolagana n’abafuzi bensikirano ng’abebuuzaako kyokka nga tabayingiza mu byabufuzi.
Yamusabye akole ku nsonga z’ettaka e Bunyoro ezaava ku bafuzi b’amatwale abaaleeta enkola ya mayiro eyayawula mu bantu abamu ne bafuna ettaka ate abalala ne baviiramu awo. Yasembye ettaka lya mayiro liggyibwewo.
Published on: Wednesday, 6th February, 2008 from bukedde
Re:lAND ISSUE WILL CAUSE WAR 9 Months, 4 Weeks ago
egulire lye gulirere----newspapers----are newspapers---we hear now nti a dialogue----for the land issue is in process-abaganda in parliment-will side with the kingdom--of sabasajjakabakka MUTEBI 11 .36th king of BUGANDA-WANGALA AYI SABAJJAKABAKA WA BUGANDA---OBUWANGUZZI BWUBWO--LET THEM DEBATE.BUGANDA WE DONT USE VIOLENCE WE LOVE DIALOGUE...
Bino byabadde mu kakiiko ka palamenti ak'ebyettaka n'amayumba akayambibwako ak'ebyamateeka okwekenneenya ebbago lino. Ababaka baabadde batudde okuteesa ku ngeri gye banaafunamu ebirowoozo ku tteeka lino okutandika wiiki ejja. Minisita w’Ebyattaka Omara Atobo y’asooka mu kakiiko.
Obukiiko buno obwegasse, bujja kukung’aanya ebirowoozo by’abantu abenjawulo n'oluvannyuma ebbago litwalibwe mu palamenti liteesebweko esalewo okuliyisa oba okuligaana.
Akakiiko kakubirizibwa Nathan Byanyima [Bukanga]. Dr. Brian Asiimwe [Ntoroko] ne Isa Otto [Oyam South] be baleese ekirowoozo ky'okufuna abakugu okulitaputira ababaka balyoke balinnyonnyole abantu. Baawagiddwa Patrick Amuriat [Kumi] eyagambye nti ng'okulitesaako tekunnagenda maaso baagala kusooka kumanya oba terikontana ne Konsitityusoni.
Konsitityusoni ewa abantu obuyinza okuba n'obwanannyini ku bintu byabwe abamu kye bagamba nti ebbago likontana nakyo kuba liggya ku bannannyini ttaka obuyinza.
Charles Aleny [Usuk] yagambye nti kyetaagisa Mmengo , Kabaka n'abafuzi b'ensikirano abalala batuukirirwe bawe ebirowoozo byabwe.
Baagambye nti kkopi z'ebbago zeetaaga okuweerezebwa mu bitundu by'eggwanga lyonna abantu balisome n’oluvannyuma ababaka bagendeyo bafune ebirowoozo.
Margaret Babadri [balema] yasabye ababaka nabo babe n’omusomo ku bbago lino.Ate Mable Bagaine [Bugangaizi] yagambye nti n'etteeka ly'ettaka lyonna nga bwe lyayisibwa mu 1998 lyetaaga okuddamu okwekenneenyezebwa.
Re:LAND ISSUE WILL CAUSE WAR 9 Months, 3 Weeks ago
Eeeehe kale babeere, naye bali too slow for our taste. Kati tetukyayagala, essaawa eyokutegera yaggwaako dda. Tetukyayagala kutwegayiriza nakutwereeza binywa myaaka nabisibo, balyooke batandike okwebuuza wwa common sense weeri. Twakoowa kati twagala suula ndala.