|
THANK YOU, THANK YOU, THANK YOU, WORLD BANK. Only NRM loyals, like me, can believe the message below. It is no news. Even a baby can tell you this. Even if Uganda is so gifted by nature, The World Bank doesn't just dish out money like that. Any body (except NRM supporters) will tell you that the message below is a cooked potato, aimed at confusing people.
------------
Gavt. efunye buwumbi ezimbe ofiisi z’ettaka
Bya Tonny Nsonna
BBANKA y’ensi yonna ewaddeyo obukadde bwa doola za Amerika 24 (eza wano 38,400,000,000/-) zeyambisibwe okuzimba ofiisi ezikola ku by’ettaka 13 mu bitundu by’eggwanga ebitali bimu.
Omulimu gw’okutandika okuzimba ofiisi zino ezinabeera eza kalina gutongozebwa mu kibuga Lira ku Mmande ya wiiki ejja.
Bino byayogeddwa omukugu wa Gavumenti mu kukuba n’okutegeka? pulaani Mw. Hamuza Ggaliwango.
Yabyoregedde mu musomo gw’abobukiiko bwa LC obw’eggombolola obuvunaanyizibwa ku ttaka mu disitulikiti y’e Jinja wiiki ewedde.
Yategeezezza nga ofiisi zino, bwe zijja okussibwaamu kompyuta ezijja okukwatagana n’ezo mu Kampala, nga ekikolebwa mu ggwanga wonna bakifuna.
“Gavumenti etaddewo enkola y’okufunira eneesobozesa abantu okufunira satifiketi z’ebibanja byabwe ku Ggombolola nga kino kikoleddwa okuziba ekituli ky’abafuna ekitono abatasobola nsimbi ez’abapunta basobole okufuna ebyapa by’ettaka n’ebibanja byabwe.” Ggaliwango bwe yategeezezza.
Yagambye ofiisi zino olunaggwa okuzimba, okukola ku byapa n’okubigaba nga kuva mu Kampala nga kudda mu buli Distulikiti kiyambe abantu obutatindigga ng’endo kugenda mu Kampala.
Published on: Monday, 14th July, 2008
|