Balungi banange mwena akyakuuma?Kansubiile nti mwena mukyali Best.Nafe eno Lugaba abadde akayakuma
mpozi wabaddewo ensonga ekyanemye okutegera era nga mbadde nsaba buyambi kuva gyemuli.
Ensonga eri nti,Muby'obuwangwa bya Buganda Kizibwe wo tokilizibwa kumukwata KISEEKE bwaba nga mukazi
nga gwe oli musajja era no mukazi naye bwatyo.
Era bwenzijukilaamu edda bwetwabanga mu nyimbe nga abatusingako tebakiliiza tulinanaganye nsisira.Nasigala nebuuza era naguuno gwaaka nkyakyebuza lwaki mu Baganda kiziila.
Wano we mbadde nkubiila omulanga guno amanyi ensonga anyambe anyinyonyoole kuba mbuliddwa antangaza .Nasanyuuka nnyo bwewanabaawo omuzila kiisa anabaako kyantangaza ku nsonga eno.