CONNECT UGANDA DISCUSSION BOARD
Welcome, Guest
Please Login or Register.    Lost Password?
Go to bottom Post Reply Favoured: 0
TOPIC: How would you react?
#10026
JeenaJulia (User)
Diamond Forum Member
Posts: 943
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:How would you react? 4 Months ago  
Singa omwagalwa wo akuzira, kikutwalira bbanga ki okufuna omulala?



OBUSOLYA busirikira bingi.Singa bwali bwogera ebibaawo mu mayumba naddala wakati w’abaagalana, bangi bandiswadde ne baswaluka.



Ensonga ezisinga okuvaako obugulumbo mu maka zikwatagana na kisenge. Abaagalana bangi bwe bafuna obutakkaanya olw’ensonga ezitali zimu basalawo kwekuba mugongo n’abandi ne batuuka n’okwawula ebisenge. Obasanga mu nju nga bayising’anya nga ba bigwo n’osoberwa. Embeera eno bw’etuuka mu nju, mu njogera ennyangu oyinza okugamba nti emberenge eba egaze nga n’ekiba kiddirira mwe muli n’okwetuusaako obulabe.



Mu butuufu waliwo amaka ng’abafumbo bakutte emyaka n’ebisiibo nga bali mu mbeera eno ate nga n’oluusi ekyavaako kino nsonga ntono eyandigonjoddwa. Wabula nga bwe bagamba nti eby’omu nju tebitottolwa, bangi ku bagwa mu kiti kino basirika ne bakona nga tebalina gwe babuulidde ku mbeera eno.Omulaba kwebigula naye nga atudde ku maggwa.



Abafumbo naddala abakulanye be basinga okugwa ku kibambulira kino. Ate ku ludda lw’abakazi naddala abazadde ku baana abawera kisukka kubanga abasajja batuuka okubalaba ng’abawedde ku mpagala olwo ne banonyaayo ab’amabeere amato.



Bw’afuna omuto ng’olwo maama w’abaana amukaddiya naddala mu nsonga z’embuga. Omusajja ayinza okusigala ng’obuvunaanyizibwa bw’amakaage omuli okulabirira n’okuweerera abaana abutuukiriza kyokka ng’ennyonta y’omukwano alina walala w’agyemalirako. Ate ye omukazi ayinza okusigala ng’afumba, akwoleza n’okukola egy’awaka gyonna kyokka mu ssaawa eyandibadde ey’okumummulako y’eyokya kisenge kye ng’asirika okutuusa enkeera.



Abaagalana bangi bagamba nti embeera eno y’emu ku nzibu ennyo okugumiikiriza ng’ebadde eyingidde mu maka. Bano bagamba nti omukwano mu maka gukolanga emmeere ate ebirala nze nva. Bagamba nti munno ayinza okuba ng’atuukiriza byonna omuli okukuwa emmotoka n’okukutambuliza mu bbanga naye bw’alemwa okukiika obufumbo buba butuuse okudobonkana.







Published on: Monday, 28th July, 2008









BE SINCERE!!!!!!!
 
Report to moderator   Logged Logged  
 
I AGREE TO DISAGREE...FEEL FREE TO DISAGREE.
  The administrator has disabled public write access.
Go to top Post Reply
get the latest posts directly to your desktop
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
You are here: Start Here arrow Forum
Advertisement
Advertisement