CONNECT UGANDA DISCUSSION BOARD
Welcome, Guest
Please Login or Register.    Lost Password?
Go to bottom Post Reply Favoured: 0
TOPIC: Obukodyo!
#10021
prettyd (User)
Junior Forum Member
Posts: 82
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:Obukodyo! 4 Months, 1 Week ago  
Gy’okoma okukozesa obukugu naye okukuwa...



ABASAJJA bafunye amannya nfaafa ng’abagabawa basinziira ku nneeyiisa yammwe mu muzannyo gw’abaagalana. Mu mannya bannaammwe ge babatuuma mwe muli nsindikanjake, ssekibotte, ssasirimu n’amalala.



Abasajja abamu tebakyayagala kwekooya, era akaboozi kaafuuka ka kufunirako tulo. Ekivuddemu be bakyala okusigala nga bawankawanka olw’obutakkuta mukwano.



Bingi bye bakola mu mukwano baabikwata bukusu. Oluba okwesogga obuliri, tafaayo na kunyonyoogera ku munne afune obuswandi, atandikirawo kujjula mmere n’atafaayo oba yakonye oba esiridde, avaabira buvaabizi. Omusajja ateekwa okumanya nti nabunnya oyo afaananira ddala ennywanto z’ente.



Ennywanto ezo nga zaasanze omulaalo omukugu, aziggyamu amata mangi ddala agalema abalala okuggyamu. Ky’akola kwe kulaga ente eyo nti agifaako ekugenze ewala.



Kino akikola ng’agiweeweeta wamu n’okugiwa ebiwata by’amamiriddeko otunnyu twekisula n’eryoka esumulula amata naye n’asiima.



Omusajja buli lw’alemwa okuteeka omwagalwa we mu mbeera eno manya nti eyandibadde avaamu ‘amata’ agawera agaleka ekkubo nga liseerera, omuleka talina ky’akyuseeko n’atuuka n’okuddayo n’amata ge gonna, ate ggwe n’osigala nga weesozza nga bwe wafuna atalina wadde ettondo.



Abakazi ebiseera ebisinga balemwa okunyumirwa ekigwo ky’abakulu ne batatuuka na ku ntikko ya mukwano lwa baagalwa baabwe butaba na bukugu mu nsonga zino.



Abasajja emirundi egisinga ebintu babirya nkuba ejja nga balinga be bagoba, oba ababbako obubbi nti essaawa yonna bayinza okubasanga.



Embeera eyo y’eremesa abakazi okunyumirwa oluusi ne batuuka n’okukemebwa okukkakkana nga bafunyeeyo abamanyi okuweeweeta obulungi ‘ennywanto’ ne baziggyamu omwasi.



Singa omukazi ow’ekika kino agwa ku musajja eyakuguka mu muzannyo guno okufaananako omulaalo amanyi okuzannyisa enywanto obulungi ebintu biyinza obutatambula bulungi.



Ebimu ku bintu ebituuza abakazi nga tebasagaasagana mu maka gwe mukwano. Wabula omukwano guno guzingiramu bingi nga n’ekisinga obukulu bwe bukugu bw’omusajja okukwata enkasi y’omukwano.



Ggwe tolaba omusajja asimbya abakazi layini ate nga n’oluusi talina bw’ali mu nsawo? Kino kitegeeza nti alina ekyama eky’enjawulo era mukugu mu kuzannyisa ennywanto okuziggyamu amata agawera.



Essaawa y’okumeggana giwe ekitiibwa n’okwewayo okwenjawulo okireko agenda mu lutabaalo.Tofubutuka wabula twala obudde ng’otegeka munno.Manya ebifo ebimuteeka mu muudu era bino byesibeeko nnyo ogende okutandika ensitaano yennyini nga munno ayiikayiika ng’omulwadde omuyi.



Buli lw’opapirira n’okirako aggyiira mu nju manya nti ojja kunnyuka munno akukongooza bigere ate nga ggwe nnyini weewaana nga bw’oyingizza emipiira mu katimba.



Kye kiseera mmwe abasajja okufuuka ng’abalaalo b’ente mukozese obukodyo omulaalo bw’akozesa okuggya mu nte ye amata agawera.Omwagalwa wo singa omuyisa mu ngeri ng’eno,wandyesanga ng’omukwano gwammwe guwangadde myaka na bisiibo.













Published on: Monday, 28th July, 2008
 
Report to moderator   Logged Logged  
  The administrator has disabled public write access.
#10664
JeenaJulia (User)
Diamond Forum Member
Posts: 943
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:Obukodyo! 2 Months ago  
Atamanyi kunyenya kiwato oli bubi

BW’OBA bulijjo weebuuza lwaki abasajja bafiira ku bakazi abamanyi okuzina amazina amaganda eky’okukuddamu kiikino.

Engeri gye banyenyamu ebiwato nga bali ku siteegi bwe batyo era bwe beeyisa mu buliri nga bali mu mukwano.

Muky. Nankya Nkuziweze e Wakaliga agamba nti abawala bangi abagenda ewuwe nga baagala abawe ku ddagala erizza basajja baabwe kyokka amagezi g’abawa ga kuyiga kunyenya kiwato.

Omusajja buli lw’oba naye, kirungi ng’eno bw’oyimba oluyimba lw’eggwanga, naawe okunyenya ekiwato ng’azina olwo emikolo lwe ginyuma. Ate bw’olaba atandise okupapirira mu by’akola, ng’okendeeza ku nnyeenya y’ekiwato si kulwa ng’atuuka ku ntikko nga ggwe okyanyumirwa.

Nkuziweze ayongerako nti atamanyi kunyenya kiwato asobola okumutuukirira kubanga alina obukugu mu kutendeka abantu okuyiringusa ebiwato. Ali ku ssimu 0714500005 era alabula abawala n’abakazi obutalow-ooleza mu ddogo.


Published on: Monday, 29th September, 2008


Buli kilungi ate kiliko nebizibu byakyo,kuba nawulilayo abemulugunya mbu ate munne bwanyenya enyo,mbu nga "gear lever" ebuka bukayo.
 
Report to moderator   Logged Logged  
 
I AGREE TO DISAGREE...FEEL FREE TO DISAGREE.
  The administrator has disabled public write access.
Go to top Post Reply
get the latest posts directly to your desktop
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
You are here: Start Here arrow Forum
Advertisement
Advertisement