CONNECT UGANDA DISCUSSION BOARD
Welcome, Guest
Please Login or Register.    Lost Password?
Go to bottom Post Reply Favoured: 0
TOPIC: Okwetegeleza
#9848
garvin (User)
Baby Forum Member
Posts: 30
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Okwetegeleza 4 Months, 2 Weeks ago  
Nsanyuse okube'gatako bantu bange.



Luli nali nzila okuva kumulimu...wadde nali nkooye, nasanga omukazi eyankama enseko.

Omukyala ono yali mulema kubanga yali kukagaali ka'abalema. Nagenda okulaba nga ayagala kunyiga peesa "traffic lights" zikyuuke asobole okusala ekubo.

Nempapa nsale ekubo nkamunyigile aleke kutawana.

Mba ntuuka mumakati gekubo nti...mhhh.....kyambuukako!!



Omukyala yabuuka kukagaali....na'akuba enta nga satu na'linyiga nga nokwesooza yesooza.

Ela emotoka zayimilira nange nenkozesa akakisa ako okuda ku ludda luli kwenali



!!....okutambula kulaba.....!!
 
Report to moderator   Logged Logged  
  The administrator has disabled public write access.
#9853
JeenaJulia (User)
Diamond Forum Member
Posts: 943
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:Okwetegeleza 4 Months, 2 Weeks ago  
Nga wakigwako mwana watu.. Nze kyebayita okuyamba abantu banno kyenasoka okwesalako kuba lumu nesanga nga nvumidemu akakadde.Nali nakajja wanno nga nakatandika okuyiga olulimi..kati lumu mba ndi mu basi nga akakade kayingila,kyokka nali ntude mumaso ate nga bagamba nti bwolaba omuzeyi omuwa ekifo wakili gwe noyimilila.Nga nvila kakade ku ntebe naye akakazi kali kanalukalala bunno ndowoza obwakadiya empakka...nga kasonda amanyi nga kabuza mbu ani ansabye okukavila ela nti tekagya kutulawo...nga buli muntu akasimba amasso.Oba ne driver yakozesa kasonso,yasimbula bus mungeli akakazi nekayuya yuya okukakana nga katomedde abakali okumpi ela omukyala omu nakabaka nga tekanagwa.Olwo nekalyoka kasaba owokutula nga bwekambwegese amasso,mubusungu obungi nakadamu namuluganda nti "bukyanga olya binyonyi,leero olide mpaabaana".Teli yakitegela naye bonna bamanya nti ndabika nkavumye ela saseguka wadde okudayo okutunula emabega okumanya ekigenda mumaso..Okuva olwo nakomba kwelima.I mind my own business.
 
Report to moderator   Logged Logged  
 
I AGREE TO DISAGREE...FEEL FREE TO DISAGREE.
  The administrator has disabled public write access.
#9862
jameerah (User)
where there is a will there is a way
Junior Forum Member
Posts: 82
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Birthdate: 1900-02-11
Re:Okwetegeleza 4 Months, 2 Weeks ago  
Haha J J nze nsese nempulira nga ddala nkulaba mu bus nobusungu bwo oyanukula akakadde muluganda!

Uhm kati no ate abakadde bebantu abatayambika ddala kubanga nebwomuyamba okusitula akagaali ke okukassa mu bus taggambanako mu thank you! but 4 heart felt sympathy i cant stop helping them if they a in need of my assistence! ndaba nga jjaja wange i just imagine!
 
Report to moderator   Logged Logged  
 
life is a journey.......
  The administrator has disabled public write access.
#9863
Astartois (User)
Junior Forum Member
Posts: 119
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Gender: Female Location: Den Haag
Re:Okwetegeleza 4 Months, 2 Weeks ago  
True, it’s hard to tell when and if you should get up for some of these grumpy old women who sometimes take offense when someone gets up to let them sit down. You can never tell which one of them is gonna take your act of kindness as a personal declaration of all out war. There are also some who act as if it’s mandatory that they be given your seat because you are of “that” caste. If they have a nasty attitude or a caste system mentality, then they shouldn't be rewarded. I too just like JJ become opinionated and vocal about it.



But again it's still a nice thing to offer your seat - the world could do with people being a little nicer.
 
Report to moderator   Logged Logged  
 
[i]Many of life\'s circumstances are created by three basic choices: the disciplines you choose to keep, the people you choose to be with; and, the laws you choose to obey]
  The administrator has disabled public write access.
#9865
prettyd (User)
Junior Forum Member
Posts: 82
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:Okwetegeleza 4 Months, 2 Weeks ago  
Hahahaha hehehe hihihihi.....Ahaa baana battu Gavin ne jj enseko zemunzisizza kata zinkutule embiriizi.nkubyemu akafananyi nga omulema abuuka mu kagaali nga bweyesooza lowokuba tayagala kumuyamba.naye Gavin kyenjagala okumanya oyo yali mulema ebya ddala oba yali mukatemba?

jj munaaye akakadde ko nako maama kali kanalukalala!naye nsuubira olunaku olwo kaayiga lesson naye munange tokoowa kubayamba mukama y'alisalawo!
 
Report to moderator   Logged Logged  
  The administrator has disabled public write access.
#9869
Meli (User)
Gold Forum Member
Posts: 1408
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:Okwetegeleza 4 Months, 2 Weeks ago  
JJ abazungu nno tebakukandule ebinywa? Webale kukuuma kaliro.



Wano waliwo akakyaala kangambe nti kakulu kulu, naye kekolako full. Kati nze mu bus nnali nsoma katabo kange nga mpuliriza ne music ku walkman. Nnali segenderezza nti kakazi kannange kaali katokota omuvubuka omu eyali ayimiridde okukalinaana. Bwensitula bwenti amaaso nkalaba, kati kwekusita nti katuule, eyo statement ku bwaayo egamba nti ggwe omunafu tuula. Ekyo kyali kitegeeza nze ngenda nyimire wali okumpi nomuvubuka. Kanno nga oyagala okulaba obusungu bwomwana w'omweru musikirize mu kaseera bwekati. Akakazi kamboggoreera! okwekangaq nga ngudde back mu ntebe yange. Nze sigaana kuyimirira kati, ntya bisago. Ate nga omwogezi omu bwagambye, waliwo nabakina nti ggwe oba onviira kaddugala bilali f... Nange nengamba nti oba tutuuse naku bya bilali... kale sijja kuvaawo.
 
Report to moderator   Logged Logged  
 
Ayiisa Kuba Mwagale
  The administrator has disabled public write access.
Go to top Post Reply
get the latest posts directly to your desktop
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
You are here: Start Here arrow Forum
Advertisement
Advertisement