Omusekuzo gukozese bulungi mu kinu
BAANA bange abalenzi njagala muyige okukozesa omusekuzo gwammwe okumatiza bakazi oba abaagalwa bammwe.
Bino bye muwoza nti ogwange omusekuzo mutono, mumpi, munene tegusobola kumatiza mukazi bikyamu, enkozesa y’omusekuzo gwo gy’oba ofaako.
Ate njagala mukimanye nti amaanyi g’ekisajja gapimirwa ku kusobola kutuusa mwagalawa wo ku ntikko y’omukwano so ssi mirundi emeka gye munyumya akaboozi. Mbawulira eyo nga mugamba nti kang’ende munywere viagra, emmwaanyi oba omulondo , byonna ne bw’onoobikozesa nga tomanyi kukozesa musekuzo gwo tekijja kukuyamba.
Ye mukimanyi nti obwagazi bw’omukazi buli kumpi nnyo? Olaba okozesa bukozesa lugalo n’amala. Bannaffe abakozesa akacabali wano we basingira bangi mu kumatiza abakazi mu buliri. N’olwekyo mukomye okwekooya nga mufa ku mirundi emeka gye musobola naye mufe ku kumatiza bannammwe.
