CONNECT UGANDA DISCUSSION BOARD
Welcome, Guest
Please Login or Register.    Lost Password?
Re:OBUGANDA BUSEEBENGERERA ?! (1 viewing) (1) Guest
Go to bottom Post Reply Favoured: 0
TOPIC: Re:OBUGANDA BUSEEBENGERERA ?!
#9950
teta (User)
New Forum Member
Posts: 9
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:OBUGANDA BUSEEBENGERERA ?! 5 Months, 2 Weeks ago  
Mbalamusiza nnyo.

Tekyandibadde kikyamu Baganda kutandikawo kibiina kyabwe. Naye ensobi eva kuffe kenyini. Okujja kwabanyalwanda mubuyinza,tetukibuusa maaso nti baali baganda abaabayamba okukikola. Era senga tetwali ffe,tebandyanguyidwa lutalo olwo. Okuttibwa kwabantu baffe eLuweero kwava kubaganda abaasala eddiro nebatunda obululu.



Ekyebuuzibwa nti tewaali Baganda basobola kwesimbawo kubwa President. Nasomako ku connectUganda, nti ne Ssabassajja yabayambako okukunga abaganda okusobola okulwanirira Eddembe. Ekitegeeza nti watekwa okubaako endagaano eyakolebwa nti ng`obwa Kabaka butuddizibbwa,nebyaffe bigenda kutuddizibwa. Kubanga mwemuva ensako eyeyambisibwa okudukanya emirimu gya Ssabassajja.



Sikiwa nti ate kibeera kyetaagisa kubanja bubanja, okumala emyaka egyiwerera ddala 21 !!! Tukiriziganye nti Abaganda olwadizibwa obwa Kabaka,bonna nebalannama nebasuulayo gwannagamba kubisigadde. Webatuukidde okulaba ekigenda mumaaso nga basserwajja okwoota baamala dda okwenyweza.



Wembagambira nti Abaganda tetuyiga,anti abantu EKIKA ekyo twali twakolaganako nabo dda. Begonza nnyo amajja naye befuulira mukiti nga mbazzi.



"Senga Kabaka yadda nga President,mwandirabye obutebenkevu obwandibadde mu Uganda". Ampakanya alabire kumuganda eyaliko President akabanga akatono ddala. Naye abaaliwo kubiseera ebyo,abantu ebintu babisalanga bokka beeyi awatali namateeka gakozessebbwa.(Olwesanyu). Naye abaaliwo tebaasobola kukimanya nti Uganda okuteleera yetaaga Muganda yabeera afuga. Anti bano bonna betulaba, ekibakozesa byebakola,balina obugya eri Abaganda olwa history nga bwetumumanyi.



Oba Abaganda bebasinga obunji,Oluganda lwelusinga obunene,era ne "Uganda" egyibwa mu Kigambo Buganda. Naye nemulaba nti ate ensi erina kufugibwa Badduguddugu, oba Banyalwanda!!!



Ekyo bwekiba kiremye,mulabe nga Tuva kubya "TRIBES" Tufuuke bana`UGANDA. Nga ensi ezisinga bweziri. Naye tukooye okukaaba okutaggwa (netubeera ng`omuzadde alaajana nti omwana we, assusse okumukuba n`okumuyisa obubi!!!), ng`ate ffe twagala kulera bulezi ngalo. Avuddeyo munkuzi gyabadde nawaayo obulamu bwe,bwamala okutuuka kubuwanguzi lwaki ebyobugagga byensi tabifuula bibye awamu naabolubu lwe.



Awatali kulonda ekimu kwebyo ebibiri waggulu,mbalagula nti naabazzukulu baabazukulu baffe bakukaaba ate nokusinga ffe. Anti ebyobuggagga ne ttaka bigyakuba binyagiddwa,basserwajja okwoota.



Nze nalaba ku president waffe oyo mu 1986 eKikyusa muLuweero. Sikiwa nti ye akyanzijukira, naye nze mujjukira bulungi nnyo. Yajjira mu Helicopter,naye buli lwendowooza kunfanana gyeyali afaananamu, ate nakati bwafaanana. Kinyongera amaanyi nti nange bwemba nina ekintu ddala kyenetaaga,nange nsobola okukituukako. Ekyetaagisa bumalirivu,nabugumiinkiriza.
 
Report to moderator   Logged Logged  
  The administrator has disabled public write access.
Go to top Post Reply
get the latest posts directly to your desktop
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
You are here: Radio arrow Forum
Advertisement
Advertisement