This is Connect Uganda. We are your number one stop for Ugandan music, news and culture. We are also home to Uganda's leading internet radio station that plays the best Ugandan and African music of the 70's, 80's, 90's and today. We hope you enjoy your stay.

Happy Holidays from Connect Uganda Radio

Listen to Connect Uganda Radio

Welcome, Guest
Please Login or Register.    Lost Password?

Re:Kyokka batabani ba Kisikirize muzze kulema.
(1 viewing) (1) Guest
Go to bottomPage: 1
TOPIC: Re:Kyokka batabani ba Kisikirize muzze kulema.
#10686
Re:Kyokka batabani ba Kisikirize muzze kulema. 3 Years, 4 Months ago Karma: 6
‘Nnakwagala kwesanyusa si kufuna lubuto’


Nze Hadijah Nakintu.  Nneewuunya omuvubuka eyanfunyisizza olubuto okunneefuulira. Muganzi wange ono, John Baguma, mbadde nsula naye mu muzigo gw’apangisa e Nabweru okumala wiiki bbiri.

Omuvubuka ono omuvuzi wa bodaboda ku siteegi ya Kamalimali Zooni e Bwaise. Mukwano gwange nfanfe ye yansendera omuvubuka ono. Nnasooka ne ng’aana bwe yang’amba nti omulimu gwe gwa bodaboda, kubanga nkimanyi bakwana nnyo. Naye bwe yansuubiza okumpasa ne mmukkiriza.

Wabula nkyambuuseeko bwe nnamugambye nti ndi lubuto lwa mwezi gumu n’angoba mu nju. Ebintu byange yabisibyeko n’abiteeka ewa landiroodi kyokka nga n’ewa mmange gye nnava sikyasobola kuddayo nga ndi lubuto.

Baguma yampadde 40,000/- nduggyemu, nze kye nnagaanyi kwe kusalawo ne mmuggulako omusango ku poliisi ampe obuyambi.

Olw’okuba ndi musuubuzi, omuvubuka ono yali amanyi nti nnina ssente nnyingi. Kirabika ekigendererwa kye kyali kya kuzinzibako kubanga mu kaseera ke mmaze naye abadde ampeeka ssente, ng’angamba nti tukole ekibiina eky’ababiri mwe tuba tussa ssente buli mwezi oluvannyuma tuggulewo akawunti mu bbanka.

Nnagaana okukikola era ne mmutegeeza nti sirina ssente okuva olwo n’atandika okukyuka.

Yatandika okugenda mu bidongo ng’akomawo bukya ng’atamidde n’asesemera ennyumba yonna, ekyannyiizizza ne muviira olw’obusungu ne ng’enda ewaffe. Kyokka nnagenze okudda nga ku luggi ataddeko kkufulu endala n’ebintu byange ng’ abiterese ewa landiroodi.

“Nze omukazi ono nnali sigenderera kumuwasa, wabula nnali nneesanyusaamu era twegatta naye olunaku lumu lwe nnamukwana lwennyini nga kirabika lwe yafuna olubuto. Wabula yanneesibako n’ayagala okulemera mu maka gange. Nnamutegeerezaawo nti sigenda kumuwasa ekyandeetedde okumugoba,” Baguma bwe yategeezezza poliisi mu busungu obungi.
JeenaJulia
Gold Forum Member (Kaasangwaawo!!!)
Posts: 1759
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
You need to be a member of Connect Uganda to contribute.
I AGREE TO DISAGREE...FEEL FREE TO DISAGREE.
 

Join Connect Uganda on.......

Facebook: connectuganda MySpace: connectuganda YouTube: connectuganda
 
#13277
Re:Kyokka batabani ba Kisikirize muzze kulema. 2 Years, 3 Months ago Karma: 6
Omusajja yanjiwa ku lunaku lw’okwanjula

BAGAMBA nti kyotannalya tokyesunga. Omusajja gwe nnali nneetegese okwanjula yanjiwa ku lunaku lw’okweyanjulo.

Nze Jackie Namutebi mbeera Makindye. Omusajja ono namufuna mu 2004 bwe nnali nkyasoma. Twayagalana okumala ekiseera okutuusa bwe namaliriza emisomo gyange.

Gye buvuddeko yansuubiza okumpasa n’okweyanjula mu bakadde bange. Ebigambo bino byansanyusa nnyo kubanga nnali maze ekiseera nga neesunga omusajja asobola okumpeesa ekitiibwa.

Omusajja yali andabikira okuba ow’obuvunaanyizibwa kuba yali omu ku basubuuzi abatutumufu mu Kampala saamanya nti yali ansiba kiwaani.

Twatandika okukola entegeka z’okwanjula era enkiiko zatandika okutuula okuva mu njuuyi zombi ewaffe n’omusajja. Enkiiko nga tezinnatandika, omusajja yasooka kukyalira ssenga wange n’amusiima. Oluvannyuma yamulagaanyisa olunaku olw’okweyanjula mu butongole.

Mu kaseera ako twali tulabagana bulungi era nga buli omu abuulira munne ekyali kigenda mu maaso. Olunaku olw’okwanjula bwe lwatuuka omusajja namukubira essimu ku makya ne tubaako bye twogera era n’antegeeza nga nabo bwe bali mu kugula ebimu ku bintu by’omukolo.

Essaawa endagaane bwe yatuuka twabalinda okumala ekiseera ng’abako tetubalabako wadde okubawuliza. Ng’enda okukuba ku ssimu y’omusajja nga yagiggyeeko. Katono nfe. Mu budde obwo abantu baali mu keetalo nga bamaze n’okutuula mu bifo byabwe mu kidaala.

Twalindirira abagenyi olunaku lwonna okutuusa obudde bwe bwatuzibako. Olwo ng’abantu bawedde ne mu kiddala. Wano we natandikira okukulukusa amaziga. Akaseera ako kaali kazibu nnyo kuba nnali neetamiddwa buli kimu nga njula kweyimbamu muguwa nve mu bulamu bw’ensi eno.

Ebintu ebyali bitegekeddwa byalibwa n’ebimu ne bigabibwa eri abaali bazze ku mukolo. Okuva olwo namukyawa era sisobola kumusonyiwa.

Okumanya abasajja abamu tebamanyi kye bagala, oluvannyuma yansidikira ababaka ab’enjawulo ng’anneetondera olw’ebizibu ebyaliwo era nti mmusonyiwe tudding’ane. Natuuka n’okukyusa layini y’essimu yange nga mmwewala okuddamu okunsumbuwa. Wabula nneebaza Katonda kuba nafuna omulala eyannaazaako amaziga.

Munno nomulinza paka kumukolo ahaaaaa ela dala mwaze kulema.
JeenaJulia
Gold Forum Member (Kaasangwaawo!!!)
Posts: 1759
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
You need to be a member of Connect Uganda to contribute.
I AGREE TO DISAGREE...FEEL FREE TO DISAGREE.
 
Go to topPage: 1
Please wait while JT SlideShow is loading images...
Photo Title 1Photo Title 2Photo Title 3Photo Title 4Photo Title 5

Listen to Connect Uganda Radio


Listen to CBS, Simba, Kaboozi etc.

Banner

To access your Connect Uganda account please enter your username and password below.



Banner
Banner
Banner
Connect RSS feed
(C) 2004 - 2012 Connect Uganda Music Radio