Listen to Connect Radio
listen to connect
Welcome, Guest
Please Login or Register.    Lost Password?

Okubuulirira abalenzi
(1 viewing) (1) Guest
Go to bottomPage: 1234
TOPIC: Okubuulirira abalenzi
#12237
Re:Okubuulirira abalenzi 1 Year, 3 Months ago Karma: 0
OBUKODYO BW'OKUSABA EBISOOBOOZA
ABAVUBUUKA n’abasajja abamu oluumu babulwa engeri gye bayinza okutandiikamu okusaba abaagalwa baabwe akaboozi naddala ku mulundi ogusooka.
Abamu nno ensonga zibalemera ddala omuwala ne batuuka n’okumumutwalako ng’alowooza tali siriyaasi. Ggwe alemeddwa okwatulira munno nti ebintu byo akuliiridde ebimala y’essaawa okusasula, kozesa obukodyo buno oyanguyirwe.

l Funa mukwano gwo omusabe akubire muganzi wo essimu ng’amutegeeza nga bw’oli omulwadde omuyi. Omuwala ajja kupapa akutuukeko. Bw’ayingira mu kisenge tomuganya kuvaayo nga tonuunye ku ssukaali we.

l Musabe omutwaleko mu kifo ekisanyukirwamu naddala nga kyesuddeko okuva mu kibuga. Bwe muba mukomawo naddala singa obudde buba buyise, musabe musuleko mwembi, nkakasa tajja kugaana.

l Osobola okumuyita ewuwo anone ekirabo kye. Bw’atuuka n’akikubuuza mugambe nti ekirabo ky’omutegekedde ye ggwe, era omugambe akukole byonna by’ayagala naddala nga muli mu kisenge.
l Bwe mubaako we muli ng’olemeddwa okwatula ky’oyagala, osobola okumusindikira mesegi ku ssimu ye ng’omusaba akusumululire ku luwombo lwa laavu ku lunaku olwo.

l Ekyo bwe kikukaluubiriza oyinza okuteeka akagalo ko naddala aka nnasswi mu kamwa nga bw’omubuuza oba ky’oyagala akitegedde. Bw’akugamba nti takitegedde kimutegeeze nti osaba mukwano era omubuuze oba mwetegefu.

l Osobola okumugamba nga bw’olina ky’oyagala okumuwa, omusabe azibirize. Bw’akikola, jangu mpolampola omunywegere. Bw’olaba tekimuyisizza bubi, genda mu maaso nga kw’otadde n’okumuweeweeta. Bwe muba waka oba mu kifo we batabalabira nkakasa ekinaddirira kujja kuba kumeggana.

l Oyinza okukozesa firimu z’obuseegu. Muyite ewuwo wabula weewale okumusookeza ku firimu zino. Musooke munyumye ebirala era ekiseera ky’okuwummulako bwe kituuka oyinza okuteekamu mu firimu zino. Singa anaaba nga ddala akwagala firimu zino zijja kubayamba ate nga totawaanye nnyo.
l Oyinza okumusaba okukukola ku masaagi, bw’akumaliriza n’omugamba naawe omukole ekintu kye kimu. We munaamaliririza nkakasa buli omu ajja kuba yeesunga munne.

lOsobola n’okumubuuza ddi lw’anaakusoosootolera ku luwombo lwa laavu. Ayinza okukubuuza nti obadde oyagala ddi? Wano tosuulirawo bubonero.
N’olwekyo ebyo by’ebimu ku by’osobola okukola ng’osaba munno akaboozi ate naye n’atakaluubirizibwa.
Wabula bw’oba tolina buzibu na kukakasaba ate tekikwetaagisa kusooka kwekoloobya ng’okola bino.

Banange empenda zizo ku luno teli kwekwasa:lol:
fikema
OGWOKYA ENJU NAMUUNYE TASUULA
Junior Forum Memberr
Posts: 152
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
You need to be a member of Connect Uganda to contribute.
 

Join Connect Uganda on.......

Facebook: connectuganda MySpace: connectuganda YouTube: connectuganda
 
#12239
Re:Okubuulirira abalenzi 1 Year, 3 Months ago Karma: 0
Nfudde ensonyi!
jameerah
where there is a will there is a way
Junior Forum Memberr
Posts: 134
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Birthday: 01/01
You need to be a member of Connect Uganda to contribute.
life is a journey.......
 
#13610
Re:Okubuulirira abalenzi 4 Months, 3 Weeks ago Karma: 4
Ggwe akwana weegendereze ebika by’abakazi bano

abakazi abasinga bwe batandika omukwano baba n’ekigendererwa naye abasajja bangi balemererwa okukimanya okukkakkana ng’omukwano gudobonkanye.

Naye ggwe omusajja akwana bino bye bika by’abakazi by’osaanye okwegendereza.

1.Waliwo abamu nga bbo banyumirwa kunyumya kaboozi. Bano abasinga baba n’akasagazi, nga ye buli musajja amukwana alowooleza mu kaboozi. Bano ebirala tebabifaako naye kasita oba ng’osobola okunyumya naye akaboozi n’omutuuka w’ayagala. Ab’ekika kino batera okuba n’abasajja bangi anti tebaba bangu baakumatiza.

2. Waliwo abakazi abaagala ssente n’ebyobugagga ebirala. Bano batera kuba bakuuzi. Kasita akumanya nti olina ssente olwo ng’akutunuza mu bizibu bye byonna. Ab’ekika kino beegonza okukirako eryenvu olwo n’atega omusajja akamasu sonsomola alyoke amukamule.
Olumala okugwa mu bintu ng’olwo aggyamu amanda ng’enjogera y’ennaku zino bweri. Omusajja akanda kumwesibako n’okumusaba amwongere ku mukwano nga si by’aliko.

3.N’abakazi abaagala okuzaala nga tebafumbiddwa bangi nnyo ensangi zino. Abakazi ab’ekika kino batya obuvunaanyizibwa bw’obufumbo. Kye bakola, afunayo omusajja n’amuzaalamu omwana omu oba babiri n’abeerabirira. Ab’ekika kino batera okuwoza nti nze njagala nnyo emirembe gyange era ssaagala musajja agiyingiremu. Bano baba baagala nnyo n’okucakala ate tebatera kuba na musajja omu yekka.

4.Ebitiibwa by’embaga n’okwanjula nabyo bitambuza abakazi bangi akannaginnagi ennaku zino. Abawala bangi baagala nnyo ebitiibwa by’okutuuza enkuyanja y’abantu mu kidaala,okusibwa kadaali n’okusamba gawuni. Omu yagamba nti “nze njagala nnyo kadaali era sifaayo omusajja n’amala okunkuba embaga n’angoba enkeera,”. Ab’ekika kino oluusi ebigendererwa byabwe tebuba bufumbo era olumala okufuna ekitiibwa nga kino ng’atambulamu.

5.Abakazi abalala emirimu gye bakola gye gibawaliriza okugattibwa mu bufumbo obutukuvu.

Mu mirimu gy’ekika kino, tebaagala muwala kubeera na musajja nga tebali mu bufumbo bwa mateeka oba nga talina mubeezi.Omukazi ow’ekika kino bw’akimanya, kwe kusikiriza omusajja okukola emikolo gino. Ebiddirira oluusi biba birala.

6.Ate waliyo n’abaagala obufumbo obutukuvu era nga ye mukaziwattu alowooza nti buli musajja gw’afuna naye by’aliko naye ate olumu nga si bwe kiri. Ab’ekika kino akola ky’asobola okulaba ng’omusajja amuwasa era bw’atuuka ku kigendererwa kye ne yeeyongera okuba omulungi.
N’olwekyo ggwe omusajja anoonya omukazi ow’okuwasa weegendereze nnyo ebika by’abakazi bano.
JeenaJulia
Gold Forum Member (Kaasangwaawo!!!)
Posts: 1720
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
You need to be a member of Connect Uganda to contribute.
I AGREE TO DISAGREE...FEEL FREE TO DISAGREE.
 
Go to topPage: 1234
Please wait while JT SlideShow is loading images...
Photo Title 1Photo Title 2Photo Title 3Photo Title 4Photo Title 5
Banner
Banner
Banner
Banner
Connect RSS feed