| |
This is Connect Uganda. We are your number one stop for Ugandan music, news and culture. We are also home to Uganda's leading internet radio station that plays the best Ugandan and African music of the 70's, 80's, 90's and today. We hope you enjoy your stay.
Listen to Connect Uganda Radio
Gwoyagala bwaba tayagala kuzaala, okola ki (Mean) (1 viewing) (1) Guest
 | | |
|
TOPIC: Gwoyagala bwaba tayagala kuzaala, okola ki (Mean)
|
|
Gwoyagala bwaba tayagala kuzaala, okola ki (Mean) 3 Years ago
|
Karma: 0
|
|
Simon Cowell being mean - Article taken from Bukedde of today:
ABASAJJA abasinga baafuuka bayaaye era obukodyo bwabwe tebuggwayo.
Oyinza okulowooza nti munno akwagala ng’ate ye alina ensonga ze ndala z’atasobola kukubuulira
Kino kyatuuse ku muwalajjana Terri Seymour 33, eyayawukanye ne muganzi we Simon Cowell 49 abe Bungereza.
Baludde nga baagalana naye omusajja tayogeera ku byakuzaala ng’ate omuwala awulira y’essaawa afuneyo ku zzadde wabula omusajja si by’aliko.
Omuwala ono yasazeewo baawukane ne munne gwe bamaze naye emyaka mukaaga nga bali mu mukwano omuzibu.
Agamba nti afunye obweraliikirivu olw’okuba nti munne gw’ayagala bwatyo tayagala batandike maka ng’ate talina nsonga ya maanyi gy’amuwa.
Terri amaze ebbanga ng’amanyi nti Simon ye mulenzi yekka gw’ayagala newakubadde abadde talina byamaanyi by’amuwa naye kino awulira nga kimuyitiriddeko.
Agamba nti “Simon abadde muntu mulungi era nga mmwagala naye sisoboola kukyebeera nti sigenda kubeera na famire yange ku bwange okutuusa okufa. Kino sikisobola”.
Agattako nti nkimanyi abantu bangi abasanze obuzibu buno n’abaagalwa baabwe naye nga tebamanyi kyakukola naye ye abaawukanyeeko kubanga alina okufuuna abaana ababe ku bubwe.
Kati nasazewo twawukane nsobole okufuna essanyu ly’abaana.
|
|
|
|
|
|
Join Connect Uganda on.......
|
Re:Gwoyagala bwaba tayagala kuzaala, okola ki (Mean) 2 Years, 11 Months ago
|
Karma: 0
|
|
mwana nga omuleka
|
|
|
|
|
|
|
Re:Gwoyagala bwaba tayagala kuzaala, okola ki (Mean) 2 Years, 11 Months ago
|
Karma: 0
|
|
nebyambera mulungi kalala ,awo genda n'omubi nga azaala
|
|
|
|
|
|
|
 | | |
|
Press (Ctrl+D) to add the page!
You have to do this manually!
Please fill the form below
|  |
|
Listen to Connect Uganda Radio
|
|
Connect RSS feed
|
|