NA`BBA AKAWUNGA NEBANGOBA KU SOMERO.
CATHERINE Kusaasira bw’akunyumiza obulamu bwe obw’essomero, toyagala amale.
Mu myaka kkumi, yasomera mu masomero musanvu. Nnabadde nkyewuunya ekyo, ate n’akantema nti: Bwe nnali ku Progressive Citizen’s College e Lubaga mu S.2 nnali ne bannange ne tubba akawunga k’abaana ba ‘Day’ (ategeeza abasoma nga bava eka) ate nga nze nnali mu kisulo.
Baamugoba adde eka okumala ekiseera kyokka mw’eryo essomero teyaddayo.
Gano ge gamu ku masomero Kusaasira mw’asomedde:
Yatandikira mu Blessed Martyrs Pulayimale eno yavaayo mu P.3 n’adda e Kitala gye yava okugenda e Namirembe Infant n’amalirayo P.7.
Siniya yagitandikira Dynamic ku Lubaga Road, siniya eyokubiri ku Progressive Citizen’s mu 1998, ate siniya eyokusatu n’agisomera ku Pride Academy. Eno Benon Kibuuka ne John Ssegawa baali basomesa be.
Mu 2000 yagenda mu St. Baliku-ddembe e Mitala Maria gye yatuulira S.4 ne S.5. Teyasoma S.6 nga kitaawe afudde n’ayingirira ebidongo. Kati y’omu ku bayimbi ab’amannya mu ggwanga.
Kale bagoba waki,ekyo kyali kilabibwa nayonka nti emeele gyeyalyanga yagwelanga mukabina,awo bali balina kulaba nga bamwongeza okulaba nga ebitundu bye byonna ebyomubili bifuna ekibimala.Naye oba ba edimasita baba ki???