This is Connect Uganda. We are your number one stop for Ugandan music, news and culture. We are also home to Uganda's leading internet radio station that plays the best Ugandan and African music of the 70's, 80's, 90's and today. We hope you enjoy your stay.

Happy Holidays from Connect Uganda Radio

Listen to Connect Uganda Radio

Welcome, Guest
Please Login or Register.    Lost Password?

Re:Abaganda be Nkole
(1 viewing) (1) Guest
Go to bottomPage: 1
TOPIC: Re:Abaganda be Nkole
#11921
Re:Abaganda be Nkole 2 Years, 10 Months ago Karma: 6
Battottola ebizibu by’okubeera mu nsi nga buli w’otuuka bakuyisa nga mugwira
Mzee Asuman Kyaluzzi ow’e Lukaka ekiri mu ssaza ly’e Bukanga e Isingiro mu Ankole mweralikirivu. Musajja Muganda akaddiyidde mu Ankole. Yadde akimanyi ali ku mawanga kyokka ne mu Buganda tayinza kulaga gy’asibuka kuba nayo bamuyita Munyankole!

Agamba nti embeera gy’alimu eringa ssemusota guli mu ntamu, kuba gy’ali bamuyita Muganda, era oluusi boogera bamusongamu emimwa, ate nga ne mu Buganda nabo bamuyita Munyankole!
Kubamu akafaananyi ng’oli ku mawanga gy’okaddiyidde, ng’abaayo bakuyita mugwira kyokka nga ne gy’otwala okubeera ewammwe tolinaayo Butaka.

Etteeka ly’ettakaEno embeera abangi bagirowooza ku bankubakyeyo b’e Bulaaya ne Amerika, naye ne wano mu Uganda w’eri. Ennaku zino gye waliwo okukubaganya ebiriwoozo ku tteeka ly’ettaka, Abaganda abali mu Ankole basula ku tebuukye.

Anti Abanyankole kaswa babalaba nga ‘bipingamiizi’, nti bagezaako kulemesa Pulezidenti Museveni! Kyokka nga basajja battu ne bakazi battu bwe batuuka e Buganda nayo babalaba nga Banyankole!
Bw’aba atudde ku kirago ekisensufu, mu kkanzu ye eya laasi n’emikalabanda gye wabbali olaba omusajja Omuganda awedde emirimu..

“Kitange Nalugenda ne Mmange Tawuusi banzaalira wano ku mulembe gwa Ssekabaka Chwa II.
Abaganda abasinga okujja eno bajja lwa ntalo, abalala bajja kunoonya bannaabwe abaali bazaaye. Abasinga tebadda Buganda, naye nga bakimanyi nti bali ku mawanga,” Kyaluzzi bw’agamba.
Agamba nti kuva buto nga mukomazi, ate nga mulimi. Embugo ze ng’azitunda Mbarara, era omusolo yatandika okuguwa nga wa myaka 15.

Mu ssaza ly’e Bukanga Abaganda bangi nnyo, era ensuku n’okukomaga gwe mulimu omukulu. Bakuuma butiribiri Ebika byabwe n’ennono z’Abaganda ezisinga, era okwanjula n’embaga bagendera ku bulombolombo ng’Abaganda.

Kabaka bamwagala wamu n’okulaba ku Mulangira Nakibinge era ye Kyaluzzi agamba nti yandyagadde okufa ng’abalabyeko.

“Eno batuyita Baganda era oluusi batuvvoola n’okutusosola. Naye ng’Abaganda ebyo tebituluma kuba twawulawo ekikulu n’ebintu eby’ekito ng’ebyo,”Kyaluzzi bw’anyumya.

Ssaalongo Katongole naye abeera Lukaka. Ekimuluma kuba nga gye bali tebalina Butaka butuufu.
“Tuwangaalidde eno naye si waffe tukimanyi nti tulina gye twava y’ensonga lwaki tuba n’ekiiko z’Ebika buli mwaka nga twejjukanya obuvo bwaffe,” bw’agamba.

Abaana tubajjukiza gye baava, ne tusaba abasobola okulondoola gye baava bakikole basobole okuzaawuka,” Katongole bw’annyonnyola.

Yakubu Ndugwa, kaawonawo wa Ssematalo owookubiri namusanze Kitooma, mayiro nga 4 okuva e Lugaaga. Yazirwanako mu Madagascar n’e Abyssinia. Agamba nti yadde bamuzaala Bukanga naye akuze akimanyi nti musajja Muganda.

“Ssematalo owookubiri bwe yatuuka mu 1939, Kabaka bwe yayita abasajja Abaganda bagende balwane naffe baatukima ne twolekera Mogadishu. Bwe yaggwa mu 1945, bannaffe abamu baasigalayo e Buganda naye nze ne nkomawo,” bw’ajjukira.

Kitaawe Ausi yamugamba nti baava Kooki n’ekibinja kya Kawuuzi nga badduka entalo z’eddiini mu myaka gya 1800.

“Ssiggwaamu maanyi nti baatwerabira kuba eno Omugave Ndugwa alinayo omusigire, ye bw’aba wa kujja eno tatuuka alina eyo gy’akoma. Kirinsanyusa jjajjaffe Ndugwa bw’alijjako e Bukanga asisinkane ku bazzukulu be,” bw’agamba.

E Lugaaga nasisinkanye nnamukadde Irene Aligaweesa, nnyina omuto owa nnaggagga w’omu Kampala, Gordon Wavamunno .

“Obutaka bwaffe buli Mityana Kisozi, jjajja gye yava, ne badda e Katwe awo entalo z’eddiini we zaatandikira mu 1896 ne baddukira e Kooki.

Jjajja yatugamba nti yabeerako mu Lubiri lwa Kamuswaga.
Ye kitange yazaalibwa eno Misenyi gye yava n’adda e Kihanga ewa Juma Kyabalongo eyali akulira Abaganda bonna mu kitundu ekyo .

Jorvan Wavamunno ye yali yava Kooki, eno yajja kunoonya mirimu ng’amaze okusoma e Kako mu myaka gya 1930 naye teyaddayo.
Nze namusanga alina abaana abakulu abo ba Wavamunno.

Mmengo yatwerabira
Eno Wavamunno yavaayo mu 1957 nga mulwadde n’agenda e Kampala batabani be okumujjanjaba era gye yafiira mu 1979 nazikibwa ku biggya byabwe e Kooki Kanoni.
Yadde nneddira Nsenene naye nkaddiye kutuuka wano sirabanga ku mukulu wa Kika kyaffe. Okuva lwe twajja eno twaboolebwa naye tukimanyi nti Kabaka Mutebi ye Kabaka waffe. Ewaffe e Mityana nnakoma kugendayo mu 1945,” bw’ajjukira.

Juma Lwanyaaga atemera mu myaka 90 we Kyalubambura. Agamba: Ndi mweraliikivu nti emyaka gimpuubidde akawero kyokka entalo z’ettaka zibaluseewo. Eno nkimanyi Abanyankole bajja kungobayo, naye ebyembi taata yandagirira ettaka lyaffe gye liri naye ssaaliwondera!

Nnagamba mutabani wange omukulu tugende e Kyaggwe mu Lumuli tunoonye kitange gye yava akyambuzaabuza. “

Kyokka nga bwe kiri ku Baganda bonna gye baba, tebeerabira lulimi era ebisoko babyongeramu buli olukya!
Lwanyaaga agamba nti kitaawe Ssenkaatuuka yali muserikale ku Wankaaki mu Lubiri lwa Ssekabaka Mwanga II E Buganda yaddukayo bwe yasiramuka Kabaka n’anyiiga era n’alagira okutta buli akyusizza eddiini.

“Mu Buganda nnasemba kugendayo ku Mulembe gwa Ssekabaka Muteesa II nga tutwala maliba ga Bayindi. Nnabeerako e Buddu e Kasooka mu ggombolola y’e Bukoko naye ssaalyayo kibanja,” bw’ajjukira.
Ekibbattaka

E Bukanga ekibbattaka tekinnatuuka, naye ekisinga okubeeraliikiriza be Banyankore ababasongamu ennwe olw’okuba Baganda.

“Eby’okubba ettaka bikyali mu Buganda yokka ate ng’eno batono abalina ebyapa.
Naye ng’Abaganda twekunze naffe tufune ebyapa. Muli mpulira nnyolwa, bwe balituuka okutugoba ku ttaka eno, ffe abagwira si kwe balitandikira?,” Lwanyaaga bw’abuza.

Sulaiman Ssozi agamba nti azaaliddwa Kyalubambula naye jjajjaawe Kawuuzi e Nkole yagendayo mu 1886 n’attibwa mu 1892 ne bamuziika ku Muzigiti gwayo.

Anyumya nti Abaganda baasinga kweyiwa mu Bukanga mu 1928, Katikkiro w’e Nkore , Mbaguta eyaliwo ku mulembe gw’Omugabe Kahaya bwe yalonda Karim Kizito Omuganda okukulira essaza lino.
“Ku masaza g’e Nkole 10 twafunako asatu, era mu Mbarara Abaganda bangi. E Bunyaruguru bangi nnyo, kuba ate abeeyo baagendayo mu mulembe gwa Ssekabaka Jjemba, Kyabaggu ne Ssuuna II,” Ssozi bw’anyumya ebyafaayo.

Hajji Haruna Kakande omu ku bakiise ku kakiiko k’ebyettaka mu disituliki y’e Isingiro agamba nti, “ Twekengera obuzibu obuyinza okubalukawo ku by’ettaka olw’abantu abeeyongera mu bitundu buli lukya .
Twatandika okukubiriza abantu okukubisa ettaka lyabwe mu byapa,” bw’agamba.

E Kabale, omuyizi Jamil Lwasa agamba nti obusosoze eri Abaganda bungi. “Ekisooka abantu b’eno buli w’ogenda bakussaako amaaso, bakubega era boogera lwatu nti ‘Omuganda talifuga Uganda’. Basaasaanya pokopoko nti tulya abantu! Ekibi Abaganda tebaagala kuva Buganda, bandizzeeko eno ne bamanya ensi nga bw’erimu ennaku olwo ebyobufuzi bandibadde babiraba bulala era nga tebeeyawulayawula nnyo,” Lwasa bw’agamba.

Ensibuko yaabwe
Abaganda b’e Nkole beesunga buli omu okumanya ensibuko yaabwe, okugendako ku butaka bwabwe.
Beesunga okulaba ku Ssaabasajja Kabaka ng’agenze okubalambulako, ate Abasiraamu beesunga okulaba ku Mulangira Kassim Nakibinge.

Bw’oba ova e Kampala ng’ogenda Mbarara, yadde Olunyankore balwogera naye Oluganda lwe lusinga kubanga lulimi lwa busuubuzi mu Uganda.

Ate mu bumotoka obugenda e Lugaaga obutikka akabindo ka bantu munaana, mubaamu olulimi lumu lwokka -Luganda.

Era nnagenze mpuliriza nnyimba z’omugenzi Basudde , wansi mu Nkole!
`
Eno mu Buganda tulina ba Serwajja-okwota,simanyi bagundi gundi..oba kati baganda baffe eluda eli bo babayita batya???
JeenaJulia
Gold Forum Member (Kaasangwaawo!!!)
Posts: 1759
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
You need to be a member of Connect Uganda to contribute.
I AGREE TO DISAGREE...FEEL FREE TO DISAGREE.
 

Join Connect Uganda on.......

Facebook: connectuganda MySpace: connectuganda YouTube: connectuganda
 
#11933
Re:Abaganda be Nkole 2 Years, 10 Months ago Karma: 9
movement of people----whenever you move from your home village---to another village you will not have the same naming----due to the inhabitants of your new location--for uganda--in Entebbe--there is--mukitoro.mu kinyoro etc---why beacause mukitoro most are batoro---mu kinyoro most are banyoro--mu kiziba most are baziba---kirimaboga-mostly are from mombasa----etc---but the fact is that the new location will be your home and your identity will be respected--and the villages are renamed due to your presences--so i think abaganda be nkole--the places they live in could also be named due to their origins-i hope it will help them when problems arise.Akuume God
rambuka
Gold Forum Member (Kaasangwaawo!!!)
Posts: 1414
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
You need to be a member of Connect Uganda to contribute.
Unity through diversity
 
Go to topPage: 1
Please wait while JT SlideShow is loading images...
Photo Title 1Photo Title 2Photo Title 3Photo Title 4Photo Title 5

Listen to Connect Uganda Radio


Listen to CBS, Simba, Kaboozi etc.

Banner

To access your Connect Uganda account please enter your username and password below.



Banner
Banner
Banner
Connect RSS feed
(C) 2004 - 2012 Connect Uganda Music Radio