This is Connect Uganda. We are your number one stop for Ugandan music, news and culture. We are also home to Uganda's leading internet radio station that plays the best Ugandan and African music of the 70's, 80's, 90's and today. We hope you enjoy your stay.

Happy Holidays from Connect Uganda Radio

Listen to Connect Uganda Radio

Welcome, Guest
Please Login or Register.    Lost Password?

ABAGANDA MUGOGGONOKE...
(1 viewing) (1) Guest
Go to bottomPage: 1
TOPIC: ABAGANDA MUGOGGONOKE...
#12117
ABAGANDA MUGOGGONOKE... 2 Years, 9 Months ago Karma: 0
Kyasaanyu okulaba nga eriyo abatandise okufuna endowooza ng`eyange. Empalaggana mumawanga kyekiseera ekokome, tutandike okukwatiza awamu. Okusobola okukulaakulanya nyaffe Uganda.

bya:- "" Beti Namisango Kamya ""

Besigye bw’alaga obukyayi ku Baganda kati kiriba kitya nga ye Pulezidenti? | Print | E-mail
Written by Beti Kamya
Sunday, 26 April 2009 13:35
Dr. Kiiza Besigye mu lukung’aana gye buvuddeko. Beti Kamya agamba Besigye mubi okusinga Museveni.
EYO gye ntambulira ensangi zino, ntera okusanga abantu nga beekubagiza, bagamba nti “Obote teyagenda, ne Amin teyagenda byonna ne babireka? Ne Museveni naye mumuleke ajja kugenda abirekewo ffe ka tumusseeko abiri!”

Ntera okubabuuza nti Obote oba Amin bwe baagenda ggwe oba mmwe mwabatwala era mmwe mwabaddira mu bigere era mmwe mwafunamu? Obote yalumya nnyo Abaganda, naye Amin gwe yakozesa ye yamuggyako, olw’ensonga ze ye ng’omuntu, sso si lwa kuwoolera ggwanga lya Baganda.

Abaganda baayaniriza nnyo Amin olw’okubagobera Obote naye be baafunamu? Balugwala, Bakakwa, Banubbi na Baluulu be baasinga okufumunamu.

Obote ng’ayambibwako mukwano gwe Julius Nyerere eyali Pulezidenti wa Tanzania, baggyako Amin olw’ensonga zaabwe ezitaali ku Buganda, newankubadde baakulembeza Polof. Yusuf Lule okutimba Abaganda bbula basobole okubaaniriza.
Ekyaddirira, Baganda kubonaabona nnyo na kutirimbulwa nga balangibwa bikolwa bya Museveni, eyali agenze mu nsiko olw’ensonga ezize ezaali tezikwata ku Buganda.

Museveni bwe yawangula Abaganda be baasinga okusanyuka n’okumwaniriza gy’obeera nti yali alwanirira bbo. Bw’otunula mu gavumenti ya Museveni ey’emyaka 23 Baganda be basinze okufunamu?

Waliwo abajja okuddamu amangu nti “teyatuddiza Obwakabaka?” Naye njagala okubategeeza nti Obwakabaka bwe yatuddiza bulinga omwana enfuuzi gwe baddiza enju ya kitaawe naye ne batamukkiriza kulima mmere ku kibanja ekyo, ng’ekigenderwa nti era enjala erimutta enju n’agirekawo!

Ennaku zino, waliwo ate omuntu omulala, eyatabuka ne musajja munne Museveni, olw’ensonga ezitakwata nnyo ku Buganda, naye bw’agamba nti ‘Ajja kugenda, ku luno agenda...’, Baganda be basinga okumuwaana nga beevulunga mu ttiyagaasi, naye okugabana akatono akaaliwo bwe kwatuuka, Abaganda baaseerebwa, ate abaayogerako nga beemulugunya baatulugunyizibwa era ne bagobwa mu kibiina!

Mulowooza nti oyo bw’alituuka mu Gavumenti ng’alina obuyinza obwannamaddala alifa ku Baganda?
Abaganda mulekere awo okulowooza nti ebintu bijjanga kwekola byokka, oba abalala babikole, mmwe mulyoke mukaayanire omugabo omunene. Bwe tuba twagala okufuna omugabo ogutusaanidde ku mugoyo gwa Uganda, tuteekwa okubissaamu engatto, tuyingire eddwaaniro, tulwane nga tuli mu maaso, era tufube nnyo okulaba nti ffe tufumita ensolo, awo bannaffe banaagambanga nga ffe bwe tugamba kati nti ‘bali be baafumita ensolo yaabwe muleke be baba bagigaba’.

Nze bannange eby’okukolima n’okunenya abantu abalala nnabita. Kati nnenya Baganda nti abaffe, bannaffe bwe baali baziga ensolo yaabwe, ne bagiyigga, ne bagitta, ne babayita obuyisi okubasitulirako, mmwe mwali ludda wa?

Nsaba buli Muganda ensonga zino aziroowo-ozeeko nnyo, azitwale ng’ekikulu, amaanyi tugateeke mu kuzimba ekintu nga kyaffe, nga ffe tukivuga, nga temuli ayogera ludica, ng’omulamwa gwa kuzzaawo kitiibwa kya Nnyaffe Buganda, awatali kutya nti ate bannaffe banaatulaba batya, oba banaagamba ki? Kubanga nabo bwe baba bagoba ebyabwe, Abaganda kye balowooza tebakifuula nsonga.

Ebyokulabirako bingi. Pulezidenti Museveni bwe yava mu nsiko, yunivasite eyasooka yagizimba Mbarara nga taswaddeeko nti ab’e Luweero gye nnalwanira banaagamba ki? Ekyaddirira yakung’aanya Abalaalo abaali babundabunda nga banoonya amazzi n’omuddo gw’ente zaabwe n’abawa ettaka lye yawamba kifuba okuliggya ku bannyiniryo mu nteekatteka eyayitibwa Ranch Restructuring Scheme, mu nkola efaana n’eya Robert Mugabe owa Zimbabwe.

N’alyoka abazimbira essomero eriyitibwa Kanyaryeeru School erisangibwa mu Disitulikiti y’e Kiruhura, Pulezidenti Museveni mw’asibuka.

Olwo n’alyoka abateerawo sikaala z’okusoma ezigabirwa mu maka g’obwapulezidenti (State House Scholaship Scheme). Bino byonna Pulezidenti Museveni abikoze ng’akaze amaaso awatali kukwatibwa nsonyi nti Bannayuganda abalala banaagamba ki.

Abaganda, Abanyoro, Abachooli oba Abateeso abatalina ttaka, abaavu abatasobola kuweerera baana baabwe tebaliiyo?
Nga teyabafaako? Olaba na kati, talina nsonyi kuba nti abakulembeze b’amagye nga 10 ab’oku ntikko baana ba ku kaalo newankubadde olutalo yalulwanira mu Buganda?
Abanyoro bwe baagoba Abaganda e Bunyoro walaba bafaayo yadde okukwatibwa ku nsonyi? Ekyali e Buluuli jjuuzi nga balemesa Ssaabasajja okukyalayo tekyandikwasizza omuntu wabulijjo ensonyi okukikola munne?

Muve mu by’okuzannya n’okuyimba “atamukutte y’agamba nti yaaye…!” Ffe twawandiisizza ekibiina ekiyitibwa Uganda Federal Alliance (UFA) ng’ekigendererwa kyakyo kukung’aanyizaamu bantu bonna abakkiririza mu nkola eya federo, era n’okubakunga okulwanirira enkola eno n’amaanyi gaabwe gonna.

Gye tugenda nze nneengerayo, watangaavu naye okutuukayo kijja kwetaagisa obumu, obuvumu, obumalirivu n’okukkiriza nti kisoboka.

Mbasaba muyingire ekibiina kyaffe ekiggya kye bayita “Uganda Federal Alliance”, tuli kumpi kukirangirira.

Beti Namisango Kamya mubaka wa Lubaga North mu Palamenti.
teta
Baby Forum Member
Posts: 10
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
You need to be a member of Connect Uganda to contribute.
 

Join Connect Uganda on.......

Facebook: connectuganda MySpace: connectuganda YouTube: connectuganda
 
Go to topPage: 1
Please wait while JT SlideShow is loading images...
Photo Title 1Photo Title 2Photo Title 3Photo Title 4Photo Title 5

Listen to Connect Uganda Radio


Listen to CBS, Simba, Kaboozi etc.

Banner

To access your Connect Uganda account please enter your username and password below.



Banner
Banner
Banner
Connect RSS feed
(C) 2004 - 2012 Connect Uganda Music Radio