| |
This is Connect Uganda. We are your number one stop for Ugandan music, news and culture. We are also home to Uganda's leading internet radio station that plays the best Ugandan and African music of the 70's, 80's, 90's and today. We hope you enjoy your stay.
Listen to Connect Uganda Radio
Re:Yeewuunya Abaganda okuyiting’ana ‘Bayuda’ (1 viewing) (1) Guest
 | | |
|
TOPIC: Re:Yeewuunya Abaganda okuyiting’ana ‘Bayuda’
|
|
Re:Yeewuunya Abaganda okuyiting’ana ‘Bayuda’ 2 Years, 7 Months ago
|
Karma: 6
|
|
MINISITA ayogerera Mmengo Peter Mayiga yagaanye okwanukula akayimba ka Kamiriyooni Abataka kebaayimbidde Kabaka nti “Bayuda tuyita nabo tubamanyi butabagamba.”
Mayiga agamba nti e Mmengo teri ‘Bayuda’ wabula ekiriyo be bantu abatamidde omwoyo ogw’okulwanirira Ebyaffe kyokka nga buli omu akutte kkubo lirye mukubirwanirira era nga buli omu asuubira nti ekkubo erirye ly’ettuufu era banne abatakutte lirye be batunze Buganda ewa Museveni.
Katikkiro Walusimbi y’omu ku basongeddwamu olunwe abatunze Buganda ewa Museveni kubanga ekkubo ly’akutte lya kuteeseganya era n’okutwala ebyo ebiddizibwa Mmengo sso si kubizira era si kwesulubabba bya kuteesa.
Ye kwo okuteesa okwogerwako kwe kuluwa? Tekulabikako wabula kwafuuka kwa kusuubiza mu kakodyo ka jjo jjuuzi ne kubeera awo kutting’anye abantu!
Awo abayeekera Walusimbi ku ky’okwagala okuteesa ne Museveni we beesiimidde. Anti okuteeseganya bwe kufuuse okwokwogerako obwogezi nga tekubaawo, olwo nabo ne bafuna obudde obumatiza Kabaka nti ebyokuteesa ne Museveni bya kuguyaaguya bantu.
Mu ngeri eyo ennaku eri ku Walusimbi ggwe wamma yeeyo eyoza lumonde. Kubanga musajjawattu abuzeeko mukamwana. Eyalimukamwanye ye mukwano gwe Museveni era ekyo yalikikoze nga abaako ebintu eby’omuzinzi byaddizza Mmengo era n’ezo ensimbi eziwera obuwumbi omunaana bwe yamusaba, yalibadde azimuweerawo bulamba sso si kumuwaako obuwumbi obubiri ate nabwo n’asalawo okubumuwa mu ngeri eya culuculu ey’olukudumu etavumula nnyonta Abaganda gye balina.
Wabula munno takusinza mutwe ate ggwe n’oguyita empumi. Kale laba Museveni Abaganda bw’abalogeredde eby’okwogera mu ddoboozi erimu nga bamubanja ebyabwe ne babivaako ne bafuuka nga bali abaali bazimba omunaala ogubatuusa mu ggulu naye ennimi ne zibatabukako buli omu n’atandika kwogera lulwe n’ekyaddirira eby’okuzimba omunaala ne bitabuka era ne babivaako!
Wo ayi Mzee Zedde ng’alabye ennaku. Mayiga yagambye nti ekiri e Mmengo kisa kinegula abaayo bonna newaakubadde bali mu mulimu ogw’okuzimba omunaala ogunona ebintu bya Buganda, kyokka ennimi zitabuse kati buli omu ayogera lulwe!
Nedda bassebo mutuyambe buyambi eby’okuyitang’ana Bayuda mubiveeko muddemu okwogera olulimi lumu muzimbe omunaala ogunaggyayo ebyaffe.
Tubeegayiridde bannaffe.
|
|
JeenaJulia
Gold Forum Member (Kaasangwaawo!!!)
Posts: 1759
|
|
I AGREE TO DISAGREE...FEEL FREE TO DISAGREE.
|
|
Join Connect Uganda on.......
|
 | | |
|
Press (Ctrl+D) to add the page!
You have to do this manually!
Please fill the form below
|  |
|
Listen to Connect Uganda Radio
|
|
Connect RSS feed
|
|