OMUYIMBI GRACE Ssekamatte owa Eagles eyawasizza omukazi eyamusiramudde bimwonoonekedde Munnayuganda ali e London bwavuddeyo n’akaayanira omukazi.
Omusajja Farouk Kigenyi (38) ng’abeera London w’osomera bino ng’agenze kwekubira nduulu mu b’obuyinza basobole okumuyamba bayingire mu nsonga ze ne mukyala we Sophia Nakiwala (28) gwalinamu abaana babiri eyamudduseeko n’amulekera abaana babiri okuli Rayan Kigenyi (3) ne Alma Kigenyi (2) najja e Uganda n’afumbirwa omuyimbi wa Eagles Grace Ssekamatte.
Mikwano gya Kigenyi bategeezezza Bukedde nti Farouk ye yasooka e London. Olw’okuba alinayo abeng’anda ze, oluvannyuma yasindikira omuwala ono Nakiwala tikiti naye n’amwegattako. Bamaze bonna ebbanga ddene mu bufumbo era bafuniddemu abaana babiri.
Sophia abadde mukyala mucakaze ng’ayagala nnyo endongo era emirundi mingi aba Eagles Production gye babadde bagenda e London nga Sophia tagwa bivvulu byabwe. Wano Ssekamatte we yamulabira n’amusaba omukwano okukkakkana ng’amuleese ne mu bakulu gye yakyadde ku Mmande.
Gye buvuddeko katono Sophia yategeezezza bba Farouk nga bwe bagenda okwabya olumbe lwa jjajja we era wiiki eno mwe yayanjulidde Ssekamatte .
Bba yamugulidde tikiti okujja okwabya olumbe era ye yamuleeseeko ku kisaawe okulinnya ennyonyi.
Amawulire ga mukazi we okwanjula agasomedde ku mukutu gwa kompyuta Bukedde bwe yagafulumizza eggulo. Farouk ne Sophia baafuna obutuuze e London.