Abaagwa ku kabenje bawungidde e Mulago
Bya Deborah Nanfuka
ABASAJJA babiri baafunye obubenje ne batabuka emitwe nga kati bali mu ddwaaliro e Mulago babuliddwaako abaabwe. Jordan Gabunga yatuusibwa mu ddwaaliro mmotoka ya poliisi oluvannyuma lw’okutomerwa mmotoka kati omutwe gwe gwatabuka.
Omulala mujaasi wa UPDF, Ivan Musenze amaze ennaku nnya ku kitanda mu waadi 3A nga talina ayamba.
Dr. Michael Muhumuza akulira waadi 3A ey’abagudde ku bubenje agamba nti ekizibu ekisooka abalwadde tebakyaweebwa mmere yadde obuugi ekikosa obulamu bwabwe kubanga tewali abayamba.
Ekyuma ekikebera obwongo kya ssente okukigendamu kati abo abatalina ayamba oluusi basanga obuzibu .
Abaabwe basabibwa bagende e Mulago babayambe.
Oba banange bulikya nga naffe tulina obujanjabi obwomutindo nga munsi zinno gyetwadukila??Kubanga eno omuntu nebwaba taliko babbe afuna obunjanjabi naye kale laba ekili ewaffe...
Africa teli ayamba.