| |
This is Connect Uganda. We are your number one stop for Ugandan music, news and culture. We are also home to Uganda's leading internet radio station that plays the best Ugandan and African music of the 70's, 80's, 90's and today. We hope you enjoy your stay.
Listen to Connect Uganda Radio
The Bamuva Bulaaya Reality Show (1 viewing) (1) Guest
 | | |
|
TOPIC: The Bamuva Bulaaya Reality Show
|
|
The Bamuva Bulaaya Reality Show 4 Years, 3 Months ago
|
Karma: 0
|
|
Eno show nayo yalangibbwa ku Family show eya sabbiiti eyise. Nga egenda kubeera ku TV e Uganda, nga emyaaka egitwalibwa giri wakati wa 18-35. Bajja kumala omwezi gumu mukifo ekyekusifu, nga kamera zibagoberera. Bajja kutumibwa okukungaanya ebibbo bye ntuntunu, katugambe, nokuyigga. Kwekugamba badde mu bulamu nga obwa ba jajja ffe. Abagala okwegatta mu mudido guno balina okubeera nga bogeera wakiri olulimi lumu olwe kinna Uganda. Waliwo website gyogendako okufuna details, katugambe ndowooza
nga abagala omumanya, nti okubeera muva bweeru aweebwa ebibuzo bya culture yokubutaka, oteekwa okuba nga ebweeru wakamala yo bbanga ki? Ebirabo ebyokugabibwa bya kyaama, bijja kubaawo naye tebijja kwogerebwa, kubanga ekintu ekikolebwa kya kwejjukanya culture. Mbu-rrrrruuuuu. Awo ggwe entegeka eyo ogiraba otya?
|
|
Meli
Gold Forum Member (Kaasangwaawo!!!)
Posts: 1438
|
|
Ayiisa Kuba Mwagale
|
|
Join Connect Uganda on.......
|
Re:The Bamuva Bulaaya Reality Show 4 Years, 3 Months ago
|
Karma: 0
|
|
Meli mbadde ngamba wandyegasemu oba ogambe ababulamu okugendako ewanabikande baba bafunye omukisa nanti bagendanga kukyalira ensiko nga banonya entuutunu nensali nga byogabye olowoza tekigase nyo abobuyembe bwekovu oba bano ba twakulira bulaya tetulina wetukyalira wa NABIKADDE????
|
|
robster
Expert Forum Member
Posts: 400
|
|
|
|
|
Re:The Bamuva Bulaaya Reality Show 4 Years, 3 Months ago
|
Karma: 0
|
|
Muvabulaya show erabika ejja kuba nungi naye obuzibu bwenajilabyemu yetaga bagaga kuba omuntu omwavu anonya sente zokusasla bills anava wanno agende e uganda amaleyo omwezi mumalamba nga ate enyumba gyalesewano ayina ogisasula nemisolo emilala. Balibade batutangazamu bulungi nti omuntu anagenda nga bwebagamba omuwa air ticket nomusasulira ku bills ezimu awo ogenda oli mugumu.
|
|
|
|
|
|
|
Re:The Bamuva Bulaaya Reality Show 4 Years, 3 Months ago
|
Karma: 0
|
|
Zino ensi engagga ezatandika zi shows bwezityo nezizizannyira munsi ezitari zimu, zesobola mubuli kimu oli nebwabojjebwa omusota baba namalagalaga, oba helicopter eziri obulindaala ngate nazo zirimu abasawo. Naye kati oli akwetikke nga nenju sinsassule ofunire eyo obuzibu bakusse bussa kunyonyi okomewo, wejjanjabe mukiseera ekyo mwotokolera tosasulwa songa zo bill ziyiika, ate nga nekirabo tofunye . Nzendowooza zandyetabyweemu bantu abavudde ebulaaya ngabaddirayo ddala obe ngobuvunanyizibwa olina bweeka wokka. Nebyentuntunu kati balina gendera ddala wala eyo gyebukaaba mpa akataaba mpozzi yetenakwatibwaako.
|
|
omumbejja
Gold Forum Member (Kaasangwaawo!!!)
Posts: 1834
|
|
I AIM TO PLEASE SOME TIMES
|
|
|
Re:The Bamuva Bulaaya Reality Show 4 Years, 3 Months ago
|
Karma: 0
|
|
Nze ndowooza okusooka byonna eno show ekikulu kwekuleeta abantu abamaze emyaka egisukka mu 15 ebweeru. Waliwo na abantu abakamala emyaaka esatu naye nga oluganda balwelabira dda. Nze ndowooza show eya bampaane ejja kukoya mangu. Abalabi bajja kuba nga bebuuza oyo yakamalayo bbanga ki? Kuba nga okwo kwekusinziira okwelabira nokusobola okulaba omuntu bwagenda mu bintu byakola. Nekirala ndowooza bagambe nti oli ateekwa okuba nga yafuluma nga tannaweza katugambe abiri, oba abiri kale mwetaano. Omuntu bwasukka awo neyelabira ebintu byeyalkuliramu abeera mulwadde bulwadde. Nze ndowooza ne range yemyaaka bagijjewo. Social spectrum yonna ebeere represented. Naye Rob lwaki osindikayo nze? Olowooza kynagu okukungaanya ekibbo kyentuntunu mu nsiko? Nze sirabanga ku mutuntunu guvaako kibbo kiramba!! Yadde nno ekikopo, ebirala nga mpuune buwuunyi nti; hmmn hmmn.
|
|
Meli
Gold Forum Member (Kaasangwaawo!!!)
Posts: 1438
|
|
Ayiisa Kuba Mwagale
|
|
|
Re:The Bamuva Bulaaya Reality Show 4 Years, 3 Months ago
|
Karma: 0
|
|
Meli munaye wanno mu supermarket entutunu wezili nebwoyagala kidomola nzikutusako eyo e Malta. Naye robster kyagamba kitufu walibade gwe meli no omumbejja mwetabamu ne Jeena julia .
|
|
|
|
|
|
|
 | | |
|
Press (Ctrl+D) to add the page!
You have to do this manually!
Please fill the form below
|  |
|
Listen to Connect Uganda Radio
|
|
Connect RSS feed
|
|