This is Connect Uganda. We are your number one stop for Ugandan music, news and culture. We are also home to Uganda's leading internet radio station that plays the best Ugandan and African music of the 70's, 80's, 90's and today. We hope you enjoy your stay.

Happy Holidays from Connect Uganda Radio

Listen to Connect Uganda Radio

Welcome, Guest
Please Login or Register.    Lost Password?

Buganda rejects Kampala takeover
(1 viewing) (1) Guest
Go to bottomPage: 123
TOPIC: Buganda rejects Kampala takeover
#12613
Buganda rejects Kampala takeover 2 Years, 7 Months ago Karma: 0
www.monitor.co.ug/artman/publish/news/Bu...takeover_87222.shtml

Haji Nsubuga said; "This is intended to slay Buganda's strength by taking away the kingdom's 'heart' [Kampala]. Even the current size of Kampala was extended by the central government with a similar intention." He added; "In 1962, Kampala District never existed but it was created recently. The official capital city was separate from the commercial city and Mengo municipality."

According to the proposal, Kira Town Council to the east of Wakiso, will be added to Kampala. To the south-east, areas of Kajjansi, Sseguku, Lubowa, which are part of Wakiso, will also be added to the city; so will Makindye Sabagaabo Sub-county in Wakiso District. The city will also expand to Gayaza and Kawanda on Bombo Road. Rubaga Division will be changed into Mengo Municipality in order to cater for the various Buganda cultural sites in this area.

This may include areas around Lubiri, Bulange, Kabaka's Lake and the northern side of Masaka Road, Wankulukuku, Kasubi and the southern side of Hoima Road up to Bakuli area would be pushed out of Kampala into Wakiso, largely to also cater for Buganda's cultural sites.

According to Article 5 of the Constitution, the city, although located in Buganda, belongs to Ugandans. It is not counted among the districts of Buganda. Therefore, under this, Buganda cannot be in control of the cultural sites in an area that constitutionally does not belong to them.


Hmmm - with this issue still going back and forth, I've been led to understand that the Kabakanjagala Road running between the palace and Bulange has not been worked on because this falls on Kabaka's land and is not under KCC's principality!
Bikolwa
Junior Forum Memberr
Posts: 160
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
You need to be a member of Connect Uganda to contribute.
 

Join Connect Uganda on.......

Facebook: connectuganda MySpace: connectuganda YouTube: connectuganda
 
#12614
Re:Buganda rejects Kampala takeover 2 Years, 7 Months ago Karma: 6
Enkulungo ya Kabakanjagala egenda kuddaabirizibwa

MMENGO ekoze endagaano ne leediyo ya Ssuubi 104.9 FM okulabirira enkulungo y’oluguudo lwa Kabakanjagala eyitibwa Nantawetwa.

Oluguudo oluyita mu nkulungo eno luva ku wankaaki wa Bulange ne lutuuka ku wankaaki w’Olubiri lw’e Mmengo.
Mu buwangwa bwa Buganda, Kabaka teyetooloola nkulungo eno agiyita wakati era nga y’evaako n’erinnya erya Lukoma Nantawetwa.

Akulira Ssuubi FM, Mw. Ahmed Boogere Masembe yagambye nti beetegefu okutuukiriza obuvunaanyizibwa obubaweereddwa okulongoosa enkulungo eno.

Yagambye nti enkulungo eno ebadde mu mbeera mbi kwekugenda e Mmengo ne boogera ne be kikwatako abaabawadde olukusa okugirabirira.

Yagambye nti baakugissaako ebyuma eby’amaanyi munda waayo bagisseemu amayinja n’ensuwa emmumbe obulungi nga byonna byoreka obuwangwa bwa Buganda. Bagenda kugissaako geeti, Kabaka mwanaayitanga nga bino byonna bigendereddwamu kukuuma kitiibwa kya kifo kino.
JeenaJulia
Gold Forum Member (Kaasangwaawo!!!)
Posts: 1759
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
You need to be a member of Connect Uganda to contribute.
I AGREE TO DISAGREE...FEEL FREE TO DISAGREE.
 
#12617
Re:Buganda rejects Kampala takeover 2 Years, 7 Months ago Karma: 0
JJ thank you for this update - it is very much appreciated.

Mbadde nsaba ompabulemuko (sp) nyabbo. Mukutuuka ku nzikirizaganya eno, bassobodde okutubulira ddi enkulungo eno lwe'natandikibwako?

Ensonga embuzisa eva kukwagala kumanya ate era okumanyisa abo abo abemulungunya nti ssente abazaana bazisonda okukwatirira oba okuwagira ekitiibwa kya Buganda, wabula nezija zibuzibwabuzibwa natte mpozi mubirara...era eno yandiba emu kumabwa agatawanya obuganda...
Bikolwa
Junior Forum Memberr
Posts: 160
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
You need to be a member of Connect Uganda to contribute.
 
#12619
Re:Buganda rejects Kampala takeover 2 Years, 7 Months ago Karma: 6
Bikolwa wrote:
JJ thank you for this update - it is very much appreciated.

Mbadde nsaba ompabulemuko (sp) nyabbo. Mukutuuka ku nzikirizaganya eno, bassobodde okutubulira ddi enkulungo eno lwe'natandikibwako?

Ensonga embuzisa eva kukwagala kumanya ate era okumanyisa abo abo abemulungunya nti ssente abazaana bazisonda okukwatirira oba okuwagira ekitiibwa kya Buganda, wabula nezija zibuzibwabuzibwa natte mpozi mubirara...era eno yandiba emu kumabwa agatawanya obuganda...



Hehehe u have me now...

Basumulula ate gwe ossuna...just keep watching this space for the details.
JeenaJulia
Gold Forum Member (Kaasangwaawo!!!)
Posts: 1759
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
You need to be a member of Connect Uganda to contribute.
I AGREE TO DISAGREE...FEEL FREE TO DISAGREE.
 
#12621
Re:Buganda rejects Kampala takeover 2 Years, 7 Months ago Karma: 9
Thanks to these donors---but deep down the central government has a un conditional responsibility to build this road-----under the statue of the constitution of development-in ugandas constitution-Akuume God.
rambuka
Gold Forum Member (Kaasangwaawo!!!)
Posts: 1414
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
You need to be a member of Connect Uganda to contribute.
Unity through diversity
 
 
#12670
Re:Buganda rejects Kampala takeover 2 Years, 7 Months ago Karma: 6
Kampala tetugenda kumutikka ku ttipa tumutwale - Museveni

Ekibuga Kampala kiri mu Ssemateeka ng’ekibuga kya Uganda ekikulu. Kiri mu Buganda naye nga kijja kufugibwa butereevu Gavumenti eya wakati.
Ab’e Mmengo bennyini be baasaba okuzzaawo munisipaali y’e Mmengo esalibwe ku kibuga Kampala. Era ne kikaanyizibwako munisipali y’e Mmengo bw’enaasalibwa ku Kampala, wabeewo ekitundu ekirala ekinaaziba ekituli ekyo. Kati bwe tuba nga twakkiriziganya ku nsonga eno, olwo obuzibu buli ludda wa?

Twakkaanya nti Kampala bw’anaggyibwako ekitundu okuzzaawo munisipaali y’e Mmengo, ajja kuliyirirwa n’ekitundu ekirala. Sirowooza nti waliwo obuzibu bwonna. Ate kye mulina okumanya nti tewali agenda kutikka Kampala ku ttipa amusengule mu Buganda amutwale mu kitundu kya Uganda ekirala. Agenda kubeera wansi wa Gavumenti eya wakati nga bwe kiri mu Ssemateeka.

Mpulira nti omulimu gwa bannamawulire kumanyisa, kusomesa na kusanyusa bantu. Nsaba abantu mubasomese baleme kuwubisibwa bantu nga (omumyuka owookubiri owa Katikkiro wa Buganda era Minisita avunaanyizibwa ku by’ennono , embiri amasiro n’obulambuzi, Haji Yusuf Nsubuga Nsambu). Kyennyamiza nnyo.

Nneewuunya Nsambu okuvumirira ekya Kampala okubeera ekibuga ekikulu ekya Uganda n’okubeera wansi wa Gavumenti eya wakati. Takimanyi nti Abazungu okulondawo Kampala okubeera ekibuga ekikulu, baawa nnyo Buganda enkizo okuva ku bitundu bya Uganda ebirala? Balina akatale mwebasobola okutunda ebirime byabwe n’ebintu ebirala eby’ettunzi. Nze ndowooza singa Kampala yali mu ssaza ly’e Nyabushozi oba okumpi n’ewange e Rwakitura, nandimufudde katale kubanga ewaffe liita y’amata egula 100/- oba 200/- naye e Kampala bang’amba nti egula 1,000/-.

Bannayuganda bonna n’abantu abali mu Kampala kati abawerera ddala obukadde busatu tebalima , tebalunda kyokka balya era banywa. Ekyo kitegeeza nti abantu b’omu Buganda abaliraanyeewo guno bandigufudde mugano okutundayo ebyabwe.

Abantu nga Nsambu mu kifo ky’okutemya ku bantu okukozesa omukisa ogwo ne babakumamu bukumi muliro ndowooza be balabe ba Buganda abasooka.

Ku ky’okugamba nti olukiiko olufuzi olwa NRM lusobola lutya okuggyawo okunsusulamu abaneesimbawo ku kaada ya NRM nga bayita mu bukiiko ne lusalawo bansunsulwe butereevu bannamuvumenti bonna n’abantu okulekera awo okulonda Lord Mayor wa Kampala ne bameeya b’omu Kampala abalala wabula balondebwe bakansala bokka nga bwe biri mu bbago, sibimanyi bulungi naye kansabe minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’Obwapulezidenti, Beatrice Wabudeya annyonnyole.

Wadde olukiiko olufuzi olwa NRM lwasazeewo abaneesimbawo bansusulwe butereevu, kino tekinnaba kukakasibwa lukiiko ttabamiruka. Yalabudde nti ebya NRM bireme kutabiikirizibwa mu bya Kampala. Wano Pulezidenti we yamuliiridde ekimuli n’atandikira we yabadde akomye nti :

Ndowooza bagamba nti ate oba tuzudde nti okunsusulamu nga tukozesa obukiiko kulimu emivuyo, ate lwaki twagala Meeya wa Kampala alondebwe bukiiko mu kifo ky’abalonzi bonna. Bino bikyali birowoozo era tukyebuuza abantu kye baagala kye tujja okukolerako.

Mu Ssemateeka wa 1962, okulonda kwalimu obuzibu. Buli kibiina ky’alina akasanduuke akaakyo. Tewaaliwo nsalo za nkalakkalira ez’okusalamu ebitundu ebikiirirwamu ababaka mu Paalmenti. Eky’okulabirako disitulikiti ya Ankole yali nnene nnyo ng’ekitundu kya Kabagole kiri mu mayiro 90 okuva e Mbarara. Bwe bamala okulonda, obusanduuke babutwala ku kitebe eyo gye busumululirwa obululu ne bubalibwa era ng’oluusi kitwala ennaku ssatu.

Ffe bwe twajja ne tugamba nedda akasanduuke kajja kubeera kamu ak’abeesimbyewo bonna. Era n’akalulu kajja kubeera kamu. Essaza ky’ekitundu ekijja okukiikirirwa. Kyokka essaza eddene nga Bukoto eryalimu abantu nga 360,000, lisobola okukiikirirwa ababaka nga bana naye nga tewali kulyebula mu magombolola. Kati ate tugenze wala.

Mu Ssemateeka wa 1962, awaakubirwa obululu baazimbang’awo akasiisira alonda ne yeekweka eyo nga temumanyi by’akolerayo. Naye kati akikolera mu lujjudde wadde aba yeesudde akabanga nga tetumanyi gw’alonda. Bw’agezaako okuvuubiikamu obululu obusukka mu kamu tumulengera ate abeesimbyewo bonna bali ku kalulu kamu. Okulonda oluggwa ku ssawa 11.00 ng’obululu bubalirwawo mu maaso g’ababaka b’abeesimbyewo era nga bulangirirwawo.

Kati abalala we babadde babbira naddala ab’oludda oluvuganya mu Kampala ne mu bukiikakkono bwa Uganda, kwe kwewandiisa emirundi egisukka mu gumu. Naye ekyo nakyo tukisalidde amagezi. Eyeewandiisa ng’omulonzi tajja kukomanga kukubwa kafaananyi kokka naye ajja kuggyibwako kalonda mungi amukwatako. Bw’anaagezang’ako okwewandiisa ogwookubiri, nga kompyuta emwekengera nga tumugwamu.

Ebya kkooti ey’oku ntikko okulagira okwongera okugogola okulonda sibimanyi naye Minisita Wabudeya ajja kubuuza Minisita w’Ebyamateeka Dr. Khiddu Makubuya amubuulire w’atuuse akomewo ababuulire.
Ebyo Pulezidenti Museveni yabyogeredde mu lukung’aana lwa bannamawulire e Nakasero.

Abaali mu nteeseganya
Enteeseganya ku Kampala ne Mmengo zaali mu maka g’Obwapulezidenti e Masaka mu 1995. Zaakulemberwamu Pulezidenti Museveni. Abalala waaliyo ayali omumyuka wa Pulezidenti, Specioza Kazibwe, omumyuka wa Ssentebe wa NRM Alhaji Moses Kigongo, eyali Katikkiro wa Uganda, Kintu Musoke, eyali Minisita wa Gavumenti ezeebitundu Bidandi Ssali n’eyali omubaka w’essaza ly’e Mawogola Sam Kuteesa.

Okuva e Mmengo waaliyo:
Eyali Katikkiro Joseph Mulwannyamuli Ssemwogerere, eyali omulamuzi John Katende, eyali omumyuka asooka owa Katikkiro era eyali Ssaabalangira Besweri Mulondo. Enteeseganya zino zaddamu mu 2005 nga mwalimu Mulwannyamuli, Katende, Apollo Makubuya, Peter Mayiga, John Kintu Wasajja n’Omutaka Ndugwa Grace Ssemakula n’eyali Ssentebe w’Abataka.

Bwojja nti kutippa agyako, taata Natasha lwaki otufeera?
JeenaJulia
Gold Forum Member (Kaasangwaawo!!!)
Posts: 1759
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
You need to be a member of Connect Uganda to contribute.
I AGREE TO DISAGREE...FEEL FREE TO DISAGREE.
 
Go to topPage: 123
Please wait while JT SlideShow is loading images...
Photo Title 1Photo Title 2Photo Title 3Photo Title 4Photo Title 5

Listen to Connect Uganda Radio


Listen to CBS, Simba, Kaboozi etc.

Banner

To access your Connect Uganda account please enter your username and password below.



Banner
Banner
Banner
Connect RSS feed
(C) 2004 - 2012 Connect Uganda Music Radio