This is Connect Uganda. We are your number one stop for Ugandan music, news and culture. We are also home to Uganda's leading internet radio station that plays the best Ugandan and African music of the 70's, 80's, 90's and today. We hope you enjoy your stay.

Happy Holidays from Connect Uganda Radio

Listen to Connect Uganda Radio

Welcome, Guest
Please Login or Register.    Lost Password?

LAND ISSUE WILL CAUSE WAR
(1 viewing) (1) Guest
Go to bottomPage: 12345678...19
TOPIC: LAND ISSUE WILL CAUSE WAR
#4818
LAND ISSUE WILL CAUSE WAR 4 Years, 3 Months ago Karma: 0
Museveni akalambidde ku tteeka ly’ettaka



Bya Richard Kayiira

ENKAAYANA z’ettaka wakati wa Mmengo ne gavumenti eya wakati zongedde okukaluba, Museveni bw’agambye nti ab’e Mmengo bye boogera tebimutiisa n’awera nti ebbago ly’etteeka ly’ettaka lye bawakanya lijja kugenda mu maaso, kyokka ne Mmengo n’emuddamu nti ‘okufa n’obutanyagwa’ tebagenda kudda mabega mu lutalo lw’ettaka.



Museveni yeerayiridde nti ne bwe kinaaba kyetaagisa kalulu ka kikungo okusalawo ku nsonga z’ettaka mwetegefu okukagendamu kubanga by’akkiririzaamu biyamba abantu bangi abanyigirizibwa.



Minisita w’e Mmengo ow’ebyamawulire naye agambye nti, “bw’aba ayagala kalulu ka kikungo ku ttaka kiri gy’ali, naye tetugenda kuzinga mikono.



Ka tugende tusomese abantu, w’anaategekera akalulu k’ekikungo k’ayogerako ng’abantu ba Ssaabasajja basomeseddwa era nga bamanyi eky’okukola.” Museveni bwe yabadde asisinkanye ab’akakiiko ka Palamenti akakola ku nsonga z’Obwapulezidenti mu makaage e Nakasero mu kiro ekyakeesezza Olwomukaaga yabategeezezza nti Mmengo kaweefube gw’eriko ow’okusimbira ebbago ly’etteeka ly’ettaka ekkuuli tamutiisa era n’awera nti ne bwe banaasimba nnakakongo etteeka lijja kuyitamu.



Bino okubeerawo nga Katikkiro Emmanuel Ssendaula yaakatongoza akakiiko akagenda okutalaaga Buganda nga kasomesa abantu ku by’ettaka era mu kiseera ky’ekimu eyali Katikkiro Dan Muliika naye n’alangirira olutalo lw’ettaka.



“Etteeka ddungi, likuumira ow’ekibanja ku ttaka n’atamala gasengulwa ate ne litongoza obwannannyini bwa nnannyini ttaka ku ttaka lye.” Museveni bwe yagambye. Yannyonnyodde nti NRM ezze etambula n’omuntu wa bulijjo era okuleka abeebibanja okukkaanya ne bannannyini ttaka nga Mmengo bw’eyagala kuba kulya mu baabibanja lukwe n’agattako nti okwo kubeera ‘kweyimbamu muguwa’ mu lulimi olw’ebyobufuzi. Kyokka Lubega yagambye nti, “Ababba ettaka lyaffe bantu ba Pulezidenti ab’omunda, era etteeka lino tuliraba ng’eribatemera oluwenda okwongera okulibba.



Tujja kulirwanyisa okutuusa ku ssaawa esembayo kubanga amateeka gakolebwa kuyamba bantu sso ssi kubatulugunya.” Akulira akakiiko akateekeddwaawo Mmengo okusomesa ku by’ettaka Betty Nambooze yayongeddeko nti, “Pulezidenti mupakasi w’abantu abaamulonda, kimukakatako okukyusa mu bye baba tebayagala.



Akalulu kali mu ggiraasi kubanga Buganda by’eyagala bimanyiddwa era tebikyuka, n’obuwagizi bw’abantu bweraga kyere, okuggyako ng’obululu babbye bubbe.” Museveni yategeezezza nti ne mu biseera by’abafuzi b’amatwale, Gavana ye yalina obuyinza okusalawo ku kusengula abantu ne yeebuuza nti, “Ate olwo nze eyaalondebwa abantu nnyinza ntya okumala galeka bantu bange kusengulwa kyeyonoonere batyo?” Yagambye nti gavumenti terina ntegeka kussa ‘regional tier’ mu nkola kubanga ebitundu ebirala tebigyagala ate nga ne Buganda eyasooka okugyaniriza yagyekuba.



Yasuubizza nti agenda kusisinkana Kabaka boogeraganye ku nkolagana ya Mmengo ne gavumenti eya wakati n’agamba nti ayagala n’okumutunuza mu nkola y’emirimu gya leediyo ya CBS gye yagambye nti yeefunyiridde ku ky’okukuma omuliro mu bantu nga yeesigama ku bulimba n’okuvumirira enteekateeka za gavumenti.



Published on: Sunday, 11th November, 2007 FROM BUKEDDE
omumbejja
Gold Forum Member (Kaasangwaawo!!!)
Posts: 1834
graph
User Offline Click here to see the profile of this user
You need to be a member of Connect Uganda to contribute.
I AIM TO PLEASE SOME TIMES
 

Join Connect Uganda on.......

Facebook: connectuganda MySpace: connectuganda YouTube: connectuganda
 
#4819
Re:lAND ISSUE WILL CAUSE WAR 4 Years, 3 Months ago Karma: 0
Lwaaki ettaka lya Buganda lye likayanirwa lyokka? bayinza okukulowozesa nti mu Uganda esangibwaamu Buganda yokka lwaaki bannafe abekisa mukugaba ebitali byaabwe tebagendako mu West oba awalala wonna. Luno lufukidde ddala lukokobe era kati kino kituwe okuyiga.
omumbejja
Gold Forum Member (Kaasangwaawo!!!)
Posts: 1834
graph
User Offline Click here to see the profile of this user
You need to be a member of Connect Uganda to contribute.
I AIM TO PLEASE SOME TIMES
 
#4834
Re:lAND ISSUE WILL CAUSE WAR 4 Years, 2 Months ago Karma: 0
Bagamba nti akanaafa tekawulira ngombe. Bwolaba omuntu akalambidde kukikyaamu, manya nti gyalaga takyalengerayo.
Jona
Junior Forum Memberr
Posts: 97
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
You need to be a member of Connect Uganda to contribute.
 
#4913
Re:lAND ISSUE WILL CAUSE WAR 4 Years, 2 Months ago Karma: 0
olunata wambwa.................. owempaka....................nantabulirirwa.................ne gyotega amaggwa olimbulira.
robster
Expert Forum Member
Posts: 400
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
You need to be a member of Connect Uganda to contribute.
 
#4934
Re:lAND ISSUE WILL CAUSE WAR 4 Years, 2 Months ago Karma: 0
Tubeere bumu mu kulwanirira ettaka ne federo



ABAGANDA baabadde e Bulange okusomesebwa ku bikwata ku ttaka mbeebaza. Abamu tubadde tetumanyi wadde konsitityusoni y’eggwanga etukkiriza okulwanyisa abo babagezaako okutulemesa.



Ssekabaka Muteesa II yatulagula ng’ali mu buwang’anguse nti bannaffe betwakola nabo endagaano baggya kufuba okutwala ettaka lyaffe n’amaanyi era ekyo bwe kirikolebwa Abaganda mujja kufuuka emmomboze mu ggwanga lyaffe.



Okulwanyisa abantu abaagala okutwala ettaka lyaffe nsaba tubeere bumu nga tulirwanirira ne federo, enjawukana zaffe mu by’obufuzi tuziteeke wabbali tubeere kitole.



Kino kye kiseera okusindiikiriza ababbi mu ngeri etamenya mateeka ng’okugoba ente mu kibanja kyo, n’obutaddayo ku sembeza muntu anaakufuukira serwajja okwota, lowooza nnyo ku baana bo n’abazzukulu gyobasuubira okudda.



Yusuf Nsubuga

Nsambu

Omukungu wa C.P.from bukedde
omumbejja
Gold Forum Member (Kaasangwaawo!!!)
Posts: 1834
graph
User Offline Click here to see the profile of this user
You need to be a member of Connect Uganda to contribute.
I AIM TO PLEASE SOME TIMES
 
 
#4935
Re:lAND ISSUE WILL CAUSE WAR 4 Years, 2 Months ago Karma: 0
Ab’e Mawokota baananye nga batwala amakula

Kabaka akubirizza Bannamawokota okukuuma ettaka.



Yagambye nti ettaka bye bimu ku by’obugagga Buganda by’erina. Yabyogeredde ku kisaawe e Buwama kwe yakwasirizza Bannamawokota ekikopo ky’okuwangula emipiira gy’amasazza ga Buganda.



Wano nga bannamawokota batwalira Kabaka amakula.



Published on: Tuesday, 13th November, 2007
omumbejja
Gold Forum Member (Kaasangwaawo!!!)
Posts: 1834
graph
User Offline Click here to see the profile of this user
You need to be a member of Connect Uganda to contribute.
I AIM TO PLEASE SOME TIMES
 
Go to topPage: 12345678...19
Please wait while JT SlideShow is loading images...
Photo Title 1Photo Title 2Photo Title 3Photo Title 4Photo Title 5

Listen to Connect Uganda Radio


Listen to CBS, Simba, Kaboozi etc.

Banner

To access your Connect Uganda account please enter your username and password below.



Banner
Banner
Banner
Connect RSS feed
(C) 2004 - 2012 Connect Uganda Music Radio