This is Connect Uganda. We are your number one stop for Ugandan music, news and culture. We are also home to Uganda's leading internet radio station that plays the best Ugandan and African music of the 70's, 80's, 90's and today. We hope you enjoy your stay.

Happy Holidays from Connect Uganda Radio

Listen to Connect Uganda Radio

Welcome, Guest
Please Login or Register.    Lost Password?

Kyannaku ensonga z’ettaka okubaamu obukyayi n’etti
(1 viewing) (1) Guest
Go to bottomPage: 1
TOPIC: Kyannaku ensonga z’ettaka okubaamu obukyayi n’etti
#7709
Kyannaku ensonga z’ettaka okubaamu obukyayi n’etti 4 Years ago Karma: 0
Kyannaku ensonga z’ettaka okubaamu obukyayi n’ettima



Akaseera ke tulimu kazibu ddala mu byafaayo bya Buganda.



Naye eng’ombo bannaddiini Abaminsane gye baatuwa nti ‘Katonda n’Obuganda, omwoyo gumu n’emmeeme emu’ ejja kutuyamba okuwangula olutalo lw’ettaka!



Abaganda teri ateekwa kubanenya nga balwanirira ennono n’obuwangwa bwabwe ebiri mu makulu g’ettaka. Kye tuliko kya bwannannyini era ne Ssemateeka tavumirirangako nnono, buwangwa n’obwannannyini !



Bino byonna byaliwo mu Buganda nga Uganda n’ebibiina byonna nga mw’otwalidde ne NRM tebinnabaawo. Kabaka, Mmengo, Abaganda ne bannaffe abatali Baganda abatulumirwa mu kino batuufu mu kye bakola.



Kituufu Mmengo eddizibwe obuyinza obumala ku by’ettaka ne ku by’okukulaakulanya Buganda. Kino kiyambe okuleeta entabagana wakati wa bannannyini ttaka n’abebibanja ate n’okuyamba Buganda n’abantu baayo bonna okukulaakulana.



Ggwe ate oba y’ebonyeebonye n’entalo ezizze zibaawo ku lw’obulungi bw’okununula Uganda okugiggya mu ffugabbi era ne yeekakasa nga bw’esobola okuba ekyonziira ku lwa Uganda, awo ate lwaki teyongerwa ku buyinza eyambe ku kutumbula Uganda ?



Eby’okutiisatiisa Mmengo oba Abaganda ku nsonga y’ettaka bikyamu nnyo! Totiisatiiisa oli ng’ali ku mulamwa gw’ekituufu ate nga kikye kya nnono na buwangwa.



Kabaka taba mukyamu okwekubiira ku bantu be, gavumenti ye n’olukiiko lwe nga kimanyiddwa bulungi nti na bali bwe bagasimbaganye nabo bagenda kwebuuza ku gavumenti yaabwe kko n’olukiiko lw’eggwanga?



Olukiiko luno luli mu mateeka matuufu ng’ekintu ekitaasa obuwangwa era guno gwe mulamwa gw’Olukiiko lwa Buganda. Mulimu gwa Palamenti okuwuliriza Olukiiko kubanga Palamenti temanyi bulungi byannono na buwangwa bwa Buganda ng’Olukiiko lwa Buganda bwe lubimanyi.



Bino ebiriwo ku by’ettaka si byabufuzi nti biriwo kutabulatabula wabula bya bwannannyini mu bw’obuntu ne mu buwangwa. Abantu baddembe okulwanirira ebyabwe era mu kukola kino NRM eba nkyamu okugamba nti bagirwanyisa.



Bano abali ku kakiiko akatangaaza ku by’ettaka be bantu Uganda yonna b’emanyi nga beesimbu mu kulwanirira Bannayuganda mu buli kintu.



Y’ensonga ne bannaffe bangi abatali Baganda kwe basinziira okusemba ebyogerwa abantu bano be bamanyi ng’ab’amazima. NRM ky’esaanye okukola kwe kubawuliriza n’okubeebuuzaako mu kifo ky’okugezaako okubatwala ng’abalabe abagivuganya.

NRM yeetaaga Buganda kubanga awatali yo teyandibaddewo.



Yandibadde mu bbanga ssinga yali terina buwagizi bwa Baganda munda mu Uganda n’ebweru waayo.



N’olwwekyo tekigasa kumala googera ebintu ebikoona Abaganda oba ebijingirira ebyafaayo oba ensalo za Buganda oba yadde okuggya Buganda ku maapu entongole.



Ensalo za Buganda zirimu ago amasaza gonna agakola Buganda era Buganda g’ezze ezimba ku ntuuyo zaayo. Okukola maapu okutali Buganda kyoleka nga Buganda mpozzi bwe baagala eveewo awo n’eby’ensalo zaayo kko n’ettaka lyayo bidobonkanyizibwe anti olwo biriba tebikyali mu kintu ekiyitibwa Buganda wabula ekiyitibwa amannya amalala.



Awo nga bakutegeeza nti oba oyagala Buganda ginonye gy’eri! Awo nga n’eby’ennono birugenze, kko n’ettaka wamu ne mayiro 9,000.



Olwo ziriba tezikyanoonyezebwa ku maapu ya Buganda wabula nga ziri ku maapu endala ey’abalala abaliba beewagiseewo mu linnya eddala eriridda mu kifo kya Buganda !



Gye buliva ne gye buligenda buli maapu yonna essibwawo, ekwatagana n’enkola (policy) y’ebyobufuzi. Era kino ky’ekigendererwa mu kuggyawo ekigambo Buganda bateekewo ekigambo Central olwo baliba badibizza eggwanga Buganda n’obwakabaka bwalyo, obuwangwa bwalyo nga mwe muli n’ettaka.



Abantu balibasomesanga Central Region sso si Buganda Kingdom. Era eyo Central Region eribanga ya kifuba ku Baganda kubanga erijjirira kumalirawo ddala buli konna akeekuusa ku Buganda!



Abamu tuwulira batandise n’okugamba nti Uganda yali ezzaawo abafuzi ab’ensikirano mbu teyazzaawo Bakabaka. Weebuuze nti wano mu Buganda omufuzi ow’ensikirano y’ani oyo ate atamanyiddwa nga Kabaka?



Ffe abaagala Uganda ne Buganda tulabe nti ettaala eno teggwaamu mafuta kutuzza nate mu nzikiza.



Dr. Kkolokolo akolera Paris mu Bufalasa.



Published on: Thursday, 17th January, 2008 from bukedde
omumbejja
Gold Forum Member (Kaasangwaawo!!!)
Posts: 1834
graph
User Offline Click here to see the profile of this user
You need to be a member of Connect Uganda to contribute.
I AIM TO PLEASE SOME TIMES
 

Join Connect Uganda on.......

Facebook: connectuganda MySpace: connectuganda YouTube: connectuganda
 
#7771
Re:Kyannaku ensonga z’ettaka okubaamu obukyayi n’etti 4 Years ago Karma: 0
www.monitor.co.ug/artman/publish/oped/20...lost_over_land.shtml



2011 elections to be fought and lost over land

THINKING OUTSIDE THE BOX: JOACHIM BUWEMBO



Uganda’s next general elections will be won and lost over land. Of course these days in East Africa, it is prudent when predicting an election outcome to add the assumption that the results announced will be the same as the ballots cast.



The NRM administration has decided to bring the land matter up again and this time it seems to have caught everyone’s attention. Although land was vigorously debated in the Constituent Assembly of 1994-95, the public did not get very concerned. Then came Benedict Mutyaba’s committee in 1998. Again, not many paid attention. But this time, it looks as if the very survival of the nation and individuals depends on the land debate.



Usually when the Executive brings a bill, there is an obvious political gain envisaged. This time, none is obvious from what is written in the bill. But a lot is being imputed, read between the lines and suspected.



Right now it does not seem to matter so much what is in the bill. What seems to matter more is the anxiety over land because of recent events like attempted resettlement of so-called Balaalo, discovery of oil in Bunyoro, government’s hell-bent determination to give away part of Mabira central forest reserve to an investor who stands to earn $500 million first from clearing the wood before planting sugar cane and the search for land in Acholi before the internally displaced people have fully gone back home. If the Executive is surprised at the vehement opposition to its innocent bill, these are some of the facts.



The reasons why almost everyone in Uganda is now keen on land are not hard to see. The 2002 census showed that the North has the fastest population growth rate, followed by the East, while Masaka’s population growth is virtually zero. So land now matters very much to the North, where millions have been living in camps and are now just planning to return home to the only resource they have by virtue of being children of the soil, the land.



In the East, many have also been in camps. In addition, the Eastern settlements are highly mixed in ethnic composition. That is why there have been heightened demands for little districts in the region to cater for different tribal interests. Ugandans in such areas are bound to get very keen on land policy debates as they want to know their entitlements and securities over the little and large plots they may have acquired or are planning to acquire.



In the West, land is very important partly due to the high population densities. In a place like Bushenyi, people got wise to the need to manage land for development and investment a long time ago. What may not be obvious to many is that an average Bushenyi person understands the value and harnessing of land better than their counterpart anywhere else in Uganda. Bushenyi people should make the loudest noise over land policies since they have invested more sweat, time and money in it than the rest of us.



In the Central region, land has become everything especially because of recent debates, which are not the subject of discussion here. In the next election campaigns, the likely trend will be a single, unified stand on the land question, which will be the only question, in Buganda. Here we are talking about 25 to 31 percent of the votes.



In all, the agenda for the 2011 general election has been set. Whoever comes out with the smartest, most just-sounding land policy proposal will carry the day. (Whether they implement it on winning the elction is another mater.) Even if the land bill is passed in the next few weeks, upholding or amending it will be the major subject of the next elections.



In political power terms therefore, the NRM Executive has handed the Opposition groups the perfect, non-tribal rallying point. NRM also has the opportunity to refine and present the land reform proposals to their most attractive form and actually deliver them to the voters as law.



The land issue is not as narrowly tribal as it may be portrayed by some. There has been more blood shed over land in Bunyoro and the North than in Buganda for instance. Nobody in Uganda wants to see their access to land curtailed by perceived outsiders. People who have never bothered when their taxes, loans and grants are stolen will not accept to have their access to land tampered with.



If someone who steals public funds buys ten luxury vehicles, the people somehow do not get angry with him because he did not take the cars from their garage. But when someone inexplicably fences off several hundred acres, people start asking how and why.



This is because with customary land in Uganda, which I am advised is the akenda (disputed 9,000 sq.miles) in Buganda, you always expected it to be there when the time comes for you to need it. If a smart political group designs a comprehensive, clearheaded and just plan for land and sells it to the people, it will win their hearts hands down.



Mr Buwembo is managing editor, Daily Monitor.

jbuwembo@monitor.co.ug
Kasimaggwa
Baby Forum Member
Posts: 30
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
You need to be a member of Connect Uganda to contribute.
 
#9050
Re:Kyannaku ensonga z’ettaka okubaamu obukyayi n’e 3 Years, 9 Months ago Karma: 0
Amagye tegajja kukkiriza bya ttaka lya mayiro 9,000

Tuesday, 11th March, 2008

E-mail article Print article



Tinyefuza ku Palamenti eggulo.

Bya Ahmed Mukiibi



GEN. David Tinyefuza aweze mu palamenti ng’amagye bwe gatajja kukkiriza Mmengo kuzza ggwanga mu kye yayise gasiya w’okuddiza Buganda mayiro akenda.



Yabadde tasalikako musale n’asomera palamenti ebiwandiiko bisatu okusambirira ebya mayiro akenda kwe yagasse maapu eraga Buganda bwe yali ng’endagaano y’olwenda tennakolebwa nga yalina amasaza Kyadondo, Busiro, Gomba, Busujju, Ssese ne Mawokota kyokka n’egenda nga yeekomya ettaka ly’ebitundu ebirala.



“Mmengo boogera ki abo? ‘nonsense (bya bugwagwa), rubbish (gasiya). Tetujja kukkiriza gasiya oyo. Njagala okulabula Mmengo nti amagye gajja kubabetenta…..”, bwe yategeezezza wakati mu kuwakanyizibwa naddala mu babaka abava mu Buganda.



Yabadde mu byambalo by’amagye nga yeenanise enjota n’agamba nti amaanyi g’ayogeza agajja mu katundu 209 aka Konsitityusoni akawa UPDF gy’akikiirira obuyinza okunyweza enkolagana wakati w’amagye n’abantu baabulijjo.



Waabaddewo ababaka abaagezezzaako okumulemesa okwogera ate olwo kwe kukangula ku ddoboozi nti “ ndabula abalina endowooza y’okwefuula ab’ekitalo okusinga Bannayu-ganda abalala n’abalina endo-woozo y’okuleeta ekittabantu nti UPDF ejja kubabetenta.’’



Mu kiseera kino palamenti yonna yabadde ejagaladde ng’ababaka abava mu Buganda bayimiridde baleekana okulemesa Tinyefuza ekyatuusizza Sipiika Edward Ssekandi okukoma ku Tinyefuza nti olulimi lwe yabadde akozesa lukyamu. Terukkirizibwa.



Kyokka Tinyefuza yagenze mu maaso nti olutalo lw’aliko lwa byankyukakyuka ssinziggu era amaliridde okulumaliriza. “ Buvunaanyizibwa bwaffe obuviira ddala mu Konsitityusoni era tumaliridde okutuukiriza misoni eno”.



Okutegeera ebya mayiro 9000, yagambye nti ababaka bateekeddwa okutunulako mu byafaayo. Akavuyo kaaleetebwa bafuzi b’amatwale be yayise emiwulenge abaanyaga ettaka ku bannansangwa ne baligabira Abaganda abaalya mu bannaabwe olukwe. Kwe kulaga nti Kabula, Mawogola, Buddu, Kkooki, Singo, Bugerere, Buruli, Rwemiyaga, Buwekula tegaali masaza ga Buganda wabula Abazungu baagatonera Abaganda olw’okubayamba okulwayisa Bunyoro.



Ababaka Erias Lukwago, Jerome Kaddumukasa, Issa Kikungwe, Matthias Nsubuga, Latif Sebaggala, Mutumba Mudduawulira, Moses Kabuusu, Ibrahim Kaddunabi nabo baavudde mu mbeera nga baagala Sipiika amukomeko.



Kyokka Tinyefuza yayongedde: mpulira abatiisatiisa nti bannannyini ttaka bagenda kusitula olutalo. ‘what a joke’ (eyo mboozi) kubanga bannannyini ttaka abolubatu tebayinza kusobola bukadde na bukadde bw’abantu babulijjo be baludde nga banyigiriza.
omumbejja
Gold Forum Member (Kaasangwaawo!!!)
Posts: 1834
graph
User Offline Click here to see the profile of this user
You need to be a member of Connect Uganda to contribute.
I AIM TO PLEASE SOME TIMES
 
#9080
Re:Kyannaku ensonga z’ettaka okubaamu obukyayi n’e 3 Years, 9 Months ago Karma: 0
Abatwalira amateeka mu ngalo bakangavvulwe



EKIBINJA kya bakanyama abaddukanya essamba y’Omuyindi kyalumbye amaka g’abasenze ababadde balemedde ku ttaka lya mukama waabwe e Bukoba mu ggombolola y’e myanzi mu Mubende ne balwanagana okukkakkana nga ssentebe w’ekyalo bamusse.



Okulwanagana kuno nga tekunnabaawo, abatuuze nabo baazinze ssamba eno ne batemaatema ebisolo n’okusaawa ebirime nga bagamba nti bakooye okubakijjanya nga babagoba mu bibanja byabwe.



Gye buvuddeko, nnannyini ttaka e lwabenge mu Masaka yatutte abajaasi ne bakuba abatuuze amasasi agaalumizza babiri ng’abalanga okugaanira ku ttaka lye yagula.



Ate e Jjokolera mu ggombolola y’e Nangabo, ssentebe yalangiridde mu kuziika omu ku batuuze nga bwe waliwo mutuuze munne eyawadde omugenzi obutwa mu mwenge. Kino kyasaanudde abatuuze ne balumba Muky. Robinah Ndagire gwe baakumyeko omuliro ne bamwokya ng’alaba. Ndagire yasimatusse okufa kubanga ow’ebyokwerinda ku LC I yamutakkuluzza ku batuuze n’amutwala mu ddwaaliro gy’anyigira ebiwundu.



Ebikolwa bino byoleka obumenyi bw’amateeka obukolebwa abantu nga batwalira amateeka mu ngalo.



Poliisi y’evunaanyizibwa ku mateeka naye abantu abamu tebagiroopera olw’obutagibeeramu bwesige
ate abalala balowooza nti be bateekwa okulamula ababeera babasobezza.



Eggwanga teriyinza kubeerawo ng’abantu batwalira amateeka mu ngalo bwe batyo. N’olwekyo abakikola bateekwa okukwatibwa bakangavvulwe, ate n’abakulembeze basomese abantu nti kikyamu. Ne Poliisi esse amaanyi ku misango egigirooperwa.

FROM BUKEDDE











Kati luno lwelutalo olwokubiri olukoleeze mu kagenderere buli omu bwanakozesa ekifuba ngazze okusengula ebyaalo nabe bibanja, banyini nsi kuba mujjukire bino byonna bikolebwa mu Buganda towulirayo walala webikolebwa, ngo jeeko nti ababikola baliko ewaabwe gyebaava nebwebaba bayindi mu Buyindi tayinza wadde obwo obujoozi okubulowoozaako . Kati bannaffe bakiri maanyi ffe twagala batulage amaanyi gaabwe nga babikola abantu baabwe ewaabwe, awo tujja batenda obusajja . ekitali ekyo katwogere kimu nti

EVERY DOG HAS ITS DAY
omumbejja
Gold Forum Member (Kaasangwaawo!!!)
Posts: 1834
graph
User Offline Click here to see the profile of this user
You need to be a member of Connect Uganda to contribute.
I AIM TO PLEASE SOME TIMES
 
#13025
Re:Kyannaku ensonga z’ettaka okubaamu obukyayi n’e 2 Years, 5 Months ago Karma: 6
OFIISI ya Pulezidenti eyingidde mu nsonga za Patrick Zizinga 45, eyasalirwa ogw’okufa ng’asingisiddwa ogw’okutta Annet Nakiwala ow’e Katwe mu kiro kya October 19, 2001.
Kyokka ebyakazuulibwa biraga nti bandiba nga baamupangira okumusibisa basobole okwezza ettaka erya yiika 351 eryali erya jjajjaawe Mika Mulyankota e Makandwa - Kitende .

Kalondoozi akulaze ekiriwo.
WIIKI ssatu eziyise, nnalaga ebituli 30 mu bujulizi obwasingisa Zizinga (eyali abeera e Wakaliga – Nateete kyokka olumu ng’asula Makandwa) omusango gw’okutemula Nakiwala gwe baayogerako ng’eyali muganzi we ekitaali kituufu!

Agnes Nalutaaya mukulu w’omugenzi e Katwe okumpi ne yunivaasite ya Musa Body eyasuzanga Nakiwala nga yaakanoba ewa bba Ibrahim Ssekate naye yayasizza nti waaliwo abasajja babiri abaamuyigganya ennyo oluvannyuma lw’okugaana okugulirirwa obukadde 5 ave mu by’okuwa obujulizi obwali buyinza okwejjeereza Zizinga.

Olw’okutya nti naye ayinza okuttibwa, yadduka ne yeekweka n’alekera awo okugenda mu kkooti ng’omusango bwe gugenda mu maaso.

Ettaka ye kanaaluzaala?
Emboozi ya Bukedde yagenze okufuluma, nga ofiisi ya Pulezidenti ekola ku by’ettaka efunye okwemulugunya okuva mu batuuze b’e Makandwa abalumiriza nti Edward Zzimula yabatundira mu ttaka.

Abatuuze bagamba nti Zizinga gwe baali bamanyi nga nnyini ttaka omutuufu bwe yamala okusalirwa ogw’okufa, Zzimula yatandika okutunda ebitundu ku ttaka lino ebimu n’akiguza omugagga Jomo Kasaija eyaleeta ttulakita n’esenda agamu ku maka gaabwe nga tamaze na kubaliyirira.

Ensonga zino zaakwasibwa Sarah Nkonge ne Mariam Namayanja abakungu mu ofiisi ya Pulezidenti ey’ebyettaka.

Baakizuula nti Zizinga bwe yategeezebwa nti ettaka litundiddwaako ekitundu yasinziira e Luzira gye baamusibira n’awaaba omusango mu kkooti enkulu oguli ku fayiro nnamba 085/2005 ng’ayagala kkooti eyimirize mangu Zzimula okusaalimbira ku ttaka lino n’okwewa obuyinza obulitunda.
Zizinga yateeka envumbo ku kyapa ky’ettaka lino okuziyiza abalitunda okutuusa nga kkooti esazeewo nnyini lyo omutuufu.

Mu bbaluwa Zizinga gye yawandiikira ofiisi ekola ku kuwandiisa ebyapa by’ettaka nga March 21, 2005 yannyonnyola nti Zzimula yasooka kugezaako kuyita mu ofiisi ekola ku by’abafu mu May wa 2001 ng’ayagala esazeemu obuyinza bwe yawa Zizinga ku ttaka lino nti kyokka bwe yalemererwa kwe kuyita mu ofiisi ekola ku kuwandiisa ebyapa ne bakutula poloti mu ttaka lino ne balifunirako ebyapa ebisukka mu 90 ne batandika okulitunda.

Mu musango guno oguwulirwa Omulamuzi Remmy Kasule owa kkooti enkulu, Jonathan Tibisasa eyali kaminsona avunaanyizibwa ku kuwandiisa ebyapa mu 2005 yawa obujulizi ng’alumiriza Zzimula nti yamupeekanga okumwanguyiza ku by’okukutula mu kyapa ky’ettaka lino.

Kyokka Tibisasa bwe yeerema ng’ayagala okumala okukola okunoonyereza okumala ku nnyini ttaka omutuufu, yalumbibwa omuvubuka Julius Arinaitwe eyali azze ne Zzimula mu ofiisi ya Tibisasa nga March 3, 2005 era Arinaitwe n’amulabula nti bw’anaagenda mu maaso n’okwekiika mu ‘ddiiru’ y’ettaka lino, ajja kumukuba amasasi aveewo n’olwo luggwe.

Tibisasa yawandiikira eyali Dayirekita w’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango Elizabeth Kuteesa nga March 7, 2005 ng’amutegeeza ku kutiisibwa kuno era n’amusaba anoonyereze lwaki omuntu yandyagadde okukozesa ‘amasasi’ mu kifo ky’okweyambisa kkooti!

Zzimula mu bigambo bye
Nze ne Zizinga twawula bakitaffe kyokka tuli baaluganda. Kitange ye Erick Nkalubo ate kitaawe ye Sserwano Zizinga wabula waliwo ne kitaffe omuto Eria Kaliba nga bakitaffe abo bonsatule batabani ba Mika Mulyankota.
Kaliba ye yasikira Mulyankota kyokka yazaala omwana omu nga muwala ate n’afa.

Kaliba bwe yatandika okugonda n’atuyita nze ne Zizinga n’atuwa obuvunaanyizibwa bw’okulabirira Omutuba gwa Kaliba mu Kika ky’Omusu gwe yali akulira. Nze yampa ogw’obuwanika ate Zizinga n’amuwa obuvunaanyizibwa obw’okumukiikiriranga mu nnyimbe.

Mu 1994 ng’anaatera okufa yampita era n’atumya ne Zizinga ku Bayitababiri gye yali abeera, wabula omusajja Matugambuzi gwe yali atumye okunona Zizinga yakomawo n’atutegeeza nti Zizinga amusanze ategeka kugenda Rwanda kukanika mmotoka z’amagye ga RPF.

Kaliba yayita ne muganda waffe omulala Josposius Tomusange n’atutegeeza nti abadde atuyise tumulondere omusika. Nze namwetegula mangu ne mmubuuza nti, “Ggwe kitaawo bwe yali akuwa obusika, yamala kukwebuuzaako?”

Yasanyuka olw’engeri gye namwanukulamu, n’ampa eggaali era ne twabuka. Twamuleka ali n’omu ku baali banywanyi be Ashe Ddamulira era tetwakimanyirawo nti bwe twavaawo, Kaliba n’akola ekiraamo.
Bwe yafa, Ddamulira n’ayanjula ekiraamo Kaliba kye yamulekera n’akikwasa omukulu w’ekika Yoasi Muyingo kyokka tekyasomwa.

Kaliba yali alaamye nti nze mba mmusikira era n’ettaka lye yasikira ku jjajjaffe Mulyankota lyonna n’alindekera. Zizinga yamulaamira ennyumba (Kaliba) mwe yali asula n’ebyalimu byonna okuggyako entebe Kaliba gye yatuulangako nayo yaleka aginnaamidde.

Zizinga yatabuka nga takkiriziganya na kiraamo kyokka ate oluvannyuma n’antegeeza nti andekedde n’ennyumba ngirabirire nti ye addayo e Rwanda. Zizinga yakomawo mu 1999 n’anfuumuula mu nnyumba n’omukazi gwe nnali mpasirizzaamu. Yayagala ateese nange ampeeko yiika 50 kyokka ne nneerema. Zizinga yantumira omubaka (amannya galekeddwa) eyajja n’andaga ekyapa ekyali kimaze okukyusibwa ne kizzibwa mu mannya ga Zizinga.

Omubaka oyo yang’amba nti: “Akugambye nti bw’oba weeremye, ekkerenda liri limu. Alina emmundu era essasi libeera limu ly’erijja okukunnyula!”

Zizinga yakozesa ekyapa kye yali afunye n’atunda ekitundu ku ttaka eryo nga sitegedde era nteebereza nti ssente ezo ze yakozesa okuluka olukwe lw’okunsibako ogw’obutemu.

Ofiisi ya Pulezidenti:
Ofiisi ya Pulezidenti ey’ebyettaka ewandiikidde RDC atwala ekitundu ky’e Ntebe, Sarah Bananuka ng’emulagira okuziyiza abantu bonna abagezaako okusengula abeebibanja abali e Makandwa kubanga enkaayana zino zaatwalibwa mu kkooti enkulu nga Zizinga awawaabira Zzimula okugezaako okunyaga ettaka lye .

Abatuuze b’e Makandwa abasoba mu 10 nabo baatwala emisango mu kkooti y’e Ntebe nga bavunaana Zzimula okubatundira mu ttaka .

Ku by’okutta omuntu:
Muky. Nkonge yantegeezezza nti bagenda kukola okunoonyereza okutaliimu kyekubiira era beeyambise n’abakugu mu by’amateeka okuzuula oba waaliwo ekkobaane mu kusingisa Zizinga omusango basobole okumunyagako ettaka.Yagasseeko nti bwe banaazuula nti Zizinga yasingisibwa omusango gw’atazza, bagenda kuwandiikira Pulezidenti Museveni nga bamutegeeza bye bazudde era bamusabe awe Zizinga ekisonyiwo ayimbulwe.

Ekimu ku binoonyerezebwako y’engeri Omulamuzi Caroline Akello gye yasituka n’agenda e Makandwa awaali ennyumba Zizinga gye yasikira okwetegereza oba obujulizi obwaweebwa bukwatagana n’ekifo ekyogerwako, kyokka ate n’atagenda Kawotto sso nga lipoota ya poliisi n’empaaba eyasooka biraga nti we waakolerwa ettemu.

“Omu ku baawa obujulizi aludde ng’ayogera nti yejjusa kubanga yalumiriza Zizinga nga bamusuubizza okumuwa ekyapa ku kibanja kwe yali kyokka ne kitamuweebwa,” omu ku batuuze b’e Makandwa bwe yagambye.
JeenaJulia
Gold Forum Member (Kaasangwaawo!!!)
Posts: 1759
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
You need to be a member of Connect Uganda to contribute.
I AGREE TO DISAGREE...FEEL FREE TO DISAGREE.
 
 
Go to topPage: 1
Please wait while JT SlideShow is loading images...
Photo Title 1Photo Title 2Photo Title 3Photo Title 4Photo Title 5

Listen to Connect Uganda Radio


Listen to CBS, Simba, Kaboozi etc.

Banner

To access your Connect Uganda account please enter your username and password below.



Banner
Banner
Banner
Connect RSS feed
(C) 2004 - 2012 Connect Uganda Music Radio