This is Connect Uganda. We are your number one stop for Ugandan music, news and culture. We are also home to Uganda's leading internet radio station that plays the best Ugandan and African music of the 70's, 80's, 90's and today. We hope you enjoy your stay.

Happy Holidays from Connect Uganda Radio

Listen to Connect Uganda Radio

Welcome, Guest
Please Login or Register.    Lost Password?

‘Ddipo’ lunfuukidde ekizibu- Bobi Wine
(1 viewing) (1) Guest
Go to bottomPage: 1
TOPIC: ‘Ddipo’ lunfuukidde ekizibu- Bobi Wine
#13929
‘Ddipo’ lunfuukidde ekizibu- Bobi Wine 1 Year, 5 Months ago Karma: 4
OMUGAGGA eyagula oluyimba lwa ‘Ddipo Nnaziggala’ ku mugenzi Paul Job Kafeero avuddeyo n’ategeeza nti balooya be baamaze dda okubaga empapula ezikuba Bobi Wine mu mbuga olw’okudda mu luyimba luno lw’agamba nti yalugula obukadde 54 ku Kafeero.
Edward Mutyaba nga ye nnannyini kkampuni ya Afrinet Ltd. kyokka nga kati alina kkampuni endala eyitibwa 3D Trucking, e Muyenga agamba nti, yawulira dda nga Bobi Wine azzeemu oluyimba lwe yagula ku Kafeero wabula n’asooka amuleka ng’alowooza nti (Bobi Wine) anaakitegeera n’amweyanjulira.
“Wabula ng’enze okulaba nga takifuddeeko ate nga nze siyinza kumunoonya. Nnasazeewo ne balooya bange tumutwale mu kkooti ategeere nti naffe ssente ze twagula oluyimba olwo zaali nnyingi era ffe tululinako obuyinza.
Wabula bw’aba ayagala okundaba gyendi naye bw’aba ambuliddwa ayinza okulaba Bisirikirwa .” Mutyaba eyasangiddwa mu ofiisi ye e Muyenga bwe yategeezezza.
Wabula yalabudde abantu omuli ne kitaawe wa Kafeero, Wasswa Nanganga nti tebalina buyinza ku luyimba luno olwa Ddipo kuba Kafeero yafa amaze okuteeka omukono ku kiwandiiko ekigaana omuntu yenna okuddamu oluyimba
luno wadde okulugeegeenya, okukozesa ebidongo oba okwefaanaanyiriza eddoboozi ly’oluyimba luno, oba okulutunda okuggyako ng’amuwadde olukusa.
Yategeezezza nti yawandiisa kkampuni ya Afrinet Ltd. mu 2003 nga yaakukwatanga vidiyo, okutumbula abayimbi n’ebirala, era omwaka ogwo we yagulira oluyimba lwa ‘Ddipo nnaziggala’ nga ensonga eno emukwatako ne Fred Mukasa bwe bagenda okuwaabira Bobi Wine.
Agamba nti yassa ssente nyingi mu alubaamu ya Ddipo era yagikwatira mu South Afrika. Ennyimba endala kuliko, ‘Bulandina, Galenzi mmwe ne Tusuza myoyo’ .

Bisirikirwa ng’alaga endagaano Kafeero gye yakola ne Afrinet Ltd mu 2003.
Agamba nti ekyamutwaza Kafeero mu South Afrika kwewala bayimbi bawano kukoppa nnyimba zino nga tezinnafuluma ssaako okwagala okuzikwatira ku mutindo.
Alina ne alubaamu ya Kafeero eya ‘Nsonda nnya’ gye yali asasuddeko 2,000,000/- kyokka bwe yafa n’atayagala kugirondoola.
Agamba nti yali amaze n’okukola entegeka z’okukwata vidiyo z’ennyimba ennya eziri ku alubaamu ya Dipo, wabula Kafeero n’afa nga tannakola vidiyo zino.
Bisirikirwa by’agamba:
Robinah Bisirikirwa omu ku bannamwandu ba Kafeero aleese bwiino ku luyimba lwa ‘Ddipo’
bw’alaze endagaano Kafeero gye yakola ne kkampuni ya Afrinet Ltd, ng’abaguza olutambi luno ku bukadde 54.
Bisirikirwa aleese n’akatambi ka Dipo akaasooka okukwatibwa mu ntambi za kadongokamu nga kaliko ekifaananyi ky’omugenzi.
Mu birala by’aleese mulimu satifikeeti aba Afrinet ze baawa Kafeero ne Bisirikirwa nga babeebaza olw’okutuukiriza obweyamo bwe baakola mu kutongoza
‘Ddipo’ nga bwe bakkaanya nga bagula olutambi luno. Bisirikirwa agamba nti aba Afrinet bwe baamuwa olukusa okutunda olutambi lwa Dipo era yafuna akafo ku Cooper Complex we yazitundiranga era yalaze n’ekitabo ekikadde mwe yawandiikanga bye yatundanga.
Yatangaazizza nti ye olukusa alulina ku nnyimba za Kafeero endala kyokka Dipo Kafeero yafa amuguzizza Afrinet era be balina obuyinza.
Okudda mu Ddipo kintadde mu buzibu bwe sirabanga- Bobi Wine
Kafeero

Bobi Wine bwe yabuuziddwa lwaki teyasooka kutuukirira Mutyaba owa Afrinet eyagula olutambi lwa Dipo yazzeemu nti; Nsobeddwa kuba abantu abanneekiisemu olw’oluyimba luno basusse obungi.
Okuluddamu ssaakikola kwekkusa wabula kuyamba baana b’omugenzi naye kati we bituuse bintabudde. Buli lukya wavaayo akaayana ku buvunaanyizibwa bw’oluyimba luno.
“Ogenda okuwulira nti Bisirikirwa y’avunaanyizibwa, nti ate Nanganga, ye bannange nkole ki?” Bobi Wine bwe yeebuuzizza ku ssimu.
Yagasseeko nti, bwe yazzeemu oluyimba luno, n’olukadde olwa Dipo Nnaziggala nalwo lweyongedde okutunda ekitegeeza nti n’abaalugula nabo bafunyeemu.
Yategeezezza nti mwetegefu okwogera ne Mutyaba basobole okukkaanya ku luyimba luno.
‘Ddipo Nnaziggala’ ye alubaamu ya kadongokamu eyasooka okukwatibwa n’ekifaananyi ky’omuyimbi ne kiteekebwa ku CD.
Ye alubaamu ya kadongokamu eyasooka okugula obukadde 54 era nga ye yasooka okukola ‘lonki’ ey’amaanyi e Ggaba mu 2003.
Mu kukkaanya obukadde 54 Mutyaba agamba nti yamugulizaako ne lonki.
cassim
Techinical support analyst
Junior Forum Memberr
Posts: 145
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Gender: Male sisk002 Location: Toronto
You need to be a member of Connect Uganda to contribute.
SSALI
 

Join Connect Uganda on.......

Facebook: connectuganda MySpace: connectuganda YouTube: connectuganda
 
Go to topPage: 1
Please wait while JT SlideShow is loading images...
Photo Title 1Photo Title 2Photo Title 3Photo Title 4Photo Title 5

Listen to Connect Uganda Radio


Listen to CBS, Simba, Kaboozi etc.

Banner

To access your Connect Uganda account please enter your username and password below.



Banner
Banner
Banner
Connect RSS feed
(C) 2004 - 2012 Connect Uganda Music Radio