Connect Uganda: Ebyafaayo By’Entanda Diaspora

Zino z’empaka z’olulimi Oluganda mu diaspora. Eteekateeka eno emaze emyaka emyaka (6) mukaaka mu diaspora okuva mu 2013. Lino ttabi ly’entanda eya Buganda emaze emyaka 14 nga eri ku mpewo za CBS FM.

Empaka zino zibeerawo buli mwaka okumala sabiiti bbiri era omuwanguzi aweebwa ekirabo ekimukwasibwa Beene mu lubiri e Mengo ku mukolo gwa Kabaka ng’asisinkana abantu be mu Nkuuka. Connect Uganda wamu ne CBS beegatta ku mukutu gumu okuweereza empaka zino era eno ye program Omutteregga gy’asinga okuwuliriza ku mpewo.